TOP

Paapa avumiridde olutalo oluli e Syria

Added 12th October 2015

PAAPA Francis yennyamidde olw’okuyiwa omusaayi okweyongedde mu mawanga ag’omu kyondo kya Buwarabu awali entalo n’obusambattuko obwakafi irawamu abantu abangi naddala abakazi n’abaana.

VATICAN, SSANDE
PAAPA Francis yennyamidde olw’okuyiwa omusaayi okweyongedde mu mawanga ag’omu kyondo kya Buwarabu awali entalo n’obusambattuko obwakafi irawamu abantu abangi naddala abakazi n’abaana.

Omutukuvu Paapa yagambye nti entalo n’obugulumbo obuli mu kyondo kya Buwarabu businga kukosa bantu abatalina musango, abafiira obwereere n’abalala abadduka amawanga gaabwe ne babundabundira mu Bulaaya.

Bino Papa Francis yabitegeezezza Abasumba ba Eklezia abasoba mu 270 abali e Vatican mu lusirika olwa wiiki essatu nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga z’amaka.

Okuyiwa omusaayi Paapa Francis kwe yayogeddeko lwe lutalo oluyinda mu Syria, Russia gy’efunvubidde okuwandagaza bbomu ku nfo z’abatujju ba ISIL abalwanyisa gavumenti ya Pulezidenti Bashar al Assad wamu ne mu kitundu kya West Bank mu Palestine, amagye ga Yisirayiri gye gatirimbula Abapalastina omuli abaana n’abakazi buli olukya.

Paapa yategeezezza Abasumba nti ye yasazeewo okusabira abantu abanyigirizibwa mu ngeri zonna olw’entalo n’obusambattuko obuli mu kyondo kya Buwarabu, Omukama asse okusaasira kwe eri famire zaabwe.

“Entalo zireeta okubonaabona, okutaagulataagula famire, okuyiwa omusaayi, nsaba ekiro n’emisana okulaba nti ekisa ky’Omukama kikka eri abantu abatalina musango ababonaabona olw’entalo”, Paapa Francis bwe yategeezezza.

Gye buvuddeko, Paapa Francis yalagidde abasosodooti n’abakulira ebigo n’ebisomesa mu mawanga g’omu Bulaaya okubudamya famire emu ey’abantu ababundabunda olw’entalo ez’omu Syria, Iraq, ne Afghanistan.

Paapa yagambye nti Vatican egoberera n’eriiso ejjogi ebigenda mu maaso e Syria, Iraq, Yerusalemi ne West Bank n’agamba nti kyennyamiza okulaba ng’okuyiwa omusaayi n’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bantu abatalina musango kweyongera buli olukya mu mawanga ago.

Wano Paapa Francis kwe kusaba amawanga gonna okusalira awamu amagezi ku mbeera eri mu Syria, Iraq, ne Palestine okulaba nti wabaawo okuteesa n’okukkaanya.

Paapa avumiridde olutalo oluli e Syria

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?