TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MANIFESITO Y'ABALONZI; 'Mulongoose ebyenjigiriza tubayiire obululu'

MANIFESITO Y'ABALONZI; 'Mulongoose ebyenjigiriza tubayiire obululu'

Added 14th October 2015

Abalonzi bagamba nti omuntu anaalaga entekateeka z’okwongera ku bungi bw’abasomesa n’okusitula omutindo gwabwe, oyo kwe bafi ira. Kino abantu 26 ku 100 bakikkiriza.

 

Bya EDWARD SSERINNYA

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde akoze okunoonyereza ku biki abalonzi bye baagala abakulembeze baabwe babakolereko.  

Bino omukulembeze anaasuubiza okubikola n’okulambika obulungi bw’agenda okubikola abalonzi ne bakkiriza nti ajja kubituukiriza baakubyesigamako nnyo okumulonda. 

Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu bitundu eby’enjawulo okuli Kampala, Kayunga, Mpigi, Nakaseke, Luweero, Masaka, Lwengo, Ssembabule, Mukono, Mubende, Wakiso ne Nakaseke.  

Baabuuza abantu 6,335 ku biki bye balowooza abakulembeze bye balina okussa mu nkola ku byenjigiriza okusobola okubayiira obululu. 

OMUTINDO GW’ABAMOMESA

Abalonzi bagamba nti omuntu anaalaga entekateeka z’okwongera ku bungi bw’abasomesa n’okusitula omutindo gwabwe, oyo kwe bafi ira. Kino abantu 26 ku 100 bakikkiriza. 

Wabula Moses Kasibante, omubaka wa Lubaga North ate nga mmemba ku kakiiko k’ebyenjigiriza mu Palamenti agamba: Abasomesa batono ate bafuna omusaala mutono.  

Kati ekizzeewo bangi ku basomesa obusomesa beeyambisa obukugu bwe bafunye mu matendekero ne bagenda bakola emirimu emirala. 

Abatono abakyali mu busomesa nabo babeerayo nga bwe banoonya emirimu emirala. Gavumenti erina okuteekawo embeera okwagazisa abantu okuyingira obusomesa ng’ekimu ku byo y’ensasula ennungi. 

OBUTAKOPPERA BAYIZI

Ensoma eteyamba baana, gattako abasomesa okulowoolereza mu kubakoppera 13 ku 100, bakikakasa nti amasomero gakikola. 

Mary Josephine Nabuyungu, akulira SACCO y’abasomesa eya Mukono- Kayunga agamba, kikyamu okuyamba ku baana kubanga kitta ebiseera by’omwana eby’omu maaso ne kitta n’erinnya ly’omusomesa. 

Ekigendererwa ky’ebibuuzo si mwana kuyita kyokka, okumuwa ekigezo ekimutwala mu bulamu obw’okwetengerera kale talina kuyambibwa. 

Abakulembeze baffe basobola okuyambako mu kukoma okukoppa, kasita bateekawo enkola ennungi mu byenjigiriza, okutumbula omutindo gw’abasomesa, okuweereza ebikozesebwa ku masomero naddala ago aga Gavumenti. 

OMUSAALA GW’ABASOMESA

Emisaala gy’abasomesa emitono abalonzi 9 ku 100 bakisimbako amannyo nti ye kanaaluzaala w’okuseraba kw’omutindo gw’ebyenjigiriza.  

Era omukulembeze anaakakasa nti waakuteerayo abasomesa akabega bafune ku musaala ogw’egasa obululu waakubuyooza bisero. 

James Tweheyo, Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya UNATU agamba nti, emisaala gy’abasomesa emitono kimu ku bireetawo ensoma embi kubanga abasomesa batandika okwagala okwongerako emirimu emirala ku mulimu

gw’obusomesa n’ekigendererwa ky’okuwatanya okwongera ku nnyingiza ne baba ng’obudde bawaayo butono mu kibiina. 

OKULWANYISA OBWAVU N’OKUKENDEEZA KU BISALE BY’AMASOMERO

Abalonzi 22 ku buli 100, bagamba nti ebisale by’amasomero bisusse ate abazadde ababisasula baavu, wasaana wabeewo enkola okukoma ku masomero. 

Kasibante agamba nti, Gavumenti yalemwa okuteekawo ekkomo ku bisale by’essomero sso nga kino yandibadde ekikolera mu kugaba layisinsi.  

“Wadde amasomero gaafuuka bizinensi naye waliwo ekiyita we kyandikomye. Kati osanga essomero mu kitundu nga abalisemberedde tebalifunamu kubanga ensimbi ze lisaba nnyingi,” bwe yagambye. 

EBIKOZESEBWA KU MASSOMERO

Amasomero obutaba na bikozesebwa, abalonzi 9 ku 100 balaga nti kino kikyali kizibu mu byenjigiriza. Wabula waliwo abazadde abamu abalowooza nti n’ebikozesebwa ku baana baabwe nabyo Gavumenti n’abakulembeze be balina okubibawa! 

Amyuka omukulu w’essomero lya Kirowooza P/S mu ggobolola y’e Kakooge e Nakasongola, Fridah Mukaluberwa agamba nti, kisoboka okuba nga kino si kizibu mu kibuga kubanga amasomero gali kumukumu naddala ag’obwannannyini.

Naye mu byalo, amasomero geesudde eηηendo empanvu ate abazadde banoonyaamu ga UPE gokka kubanga tebaagala kusasula fiizi.  

Gye biggweera ng’omwana atambudde kiromita nnya oba ttaano okugenda okusoma. Abamu batuuka kikeerezi ku ssomero ng’omusomesa yatandise dda okusomesa, oyo omusuubira otya okukwatagana ne banne.  

Kisaanye okulaba nga waakiri buli muluka mubaamu amasomero ga pulayimale abiri kikendeeze ku ηηendo abayizi ze batambula. 

ENDYA Y’ABAYIZI

Ensula n’endya y’abaana, 2 ku buli 100 balowooza nti esobola okukonya omwana.

Kino kiwagirwa Dr. Steven Mukasa owa St. Vincent Hospital e  Mengo bw’agamba: Okusula n’okulya kw’omwana biyamba nnyo, kubanga omwana asula obulungi obwongo buba wamu ate kimwanguyira okuzuukuka ku makya n’agenda mu kibiina nga talina situleesi. 

Omwana asoma alina okulya emmere ezimba omubiri n’obwongo. Waliwo okulya ate n’abataliira ddala, abaana basaanye okufuna ekyenkya, ekyemisana, caayi akawungeezi n’ekyeggullo lwe bajja okusobola okukwata mu kibiina nga bakuffu. 

ABAANA ABAVA MU SSOMERO

Abalonzi 3 ku buli 100 bagamba nti omukulembeze anaalaga engeri gy’agenda okukendeeza ky’abaana okudduka mu maasomero baakumuwa obululu. 

 

Ronald Ssemugabi, omusomesa ku Kakooge C/U agamba: Wadde ng’omuwendo gw’abayizi abava mu masomero weeguli naddala abo abavaamu nga bafunye embuto n’abalenzi abagenda okukola emirimu emirala naye si munene nnyo naddala wano mu Kakooge. 

Naye kino kiyinza okuba ekizibu omukulembeze okukirwanako, wabula buvunaanyizibwa bwa mukulembeze okulaba nga bateekawo embeera eyeegombesa abaana okuba ku masomero ne basoma. 

Gavumenti ya NRM essira eritadde nnyo mu kutumbula ensoma y’ebyemikono nga baagala waakiri buli disitulikiti ebeemu ettendekero ly’ebyemikono nga kino kitandise mu disitulikiti ezitali zimu. 

Okulongoosa embeera z’abasomesa nga babateerawo ensimbi ze basobola okwewola ku magoba amatonotono nakyo kyatandikibwako dda, okwongera amaanyi mu bonnabasome, okuwola abayizi nakwo kwatandika n’ebirala bingi. 

 

Omwogezi wa FDC ate omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda: Ekimu ku by’endowooza ebirina okuteekebwako essira kwekusitula omutindo gw’eby’enjigiriza nga tuyita mu kusitula embeera z’abasomesa.  

Okuzimba ebizimbe eby’omulembe ebitagwa mu wiiki emu, ate bibeere nga bizimbibwa ku mutindo gwegumu okwetoloola eggwanga lyonna.

MANIFESITO Y''ABALONZI; ‘Mulongoose ebyenjigiriza tubayiire obululu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...