TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mathew Bukenya annyuse: "Mbadde mu mitambo gy'ekitongole kino emyaka 20, mpulira nkooye era omubiri ogulaba"

Mathew Bukenya annyuse: "Mbadde mu mitambo gy'ekitongole kino emyaka 20, mpulira nkooye era omubiri ogulaba"

Added 13th January 2016

Bakama bange nabagamba okunoonya ananzirira mu bigere era enteekateeka eno egenda mu maaso.” Eggulo Bukenya yayanjulidde Minisita w’ebyenjigiriza Capt. Jesca Alupo ebyava mu bigezo bya P7. Bukenya yalaze okwenyumiriza nti, “Obubbi bw’ebigezo bukendedde nnyo.

 Mathew Bukenya

Mathew Bukenya

OMUWANDIISI w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga (UNEB), Mathew Bukenya alangiridde nti ebigezo by’omwaka guno by’asemba okufulumya.

Bukenya yagambye nti ekiseera kituuse asiibule n’abalala batandikire awo w’akomye. Bukenya yategezezza nti, “Mbadde mu mitambo gy’ekitongole kino emyaka 20, mpulira nkooye era omubiri ogulaba.

Bakama bange nabagamba okunoonya ananzirira mu bigere era enteekateeka eno egenda mu maaso.” Eggulo Bukenya yayanjulidde Minisita w’ebyenjigiriza Capt. Jesca Alupo ebyava mu bigezo bya P7. Bukenya yalaze okwenyumiriza nti, “Obubbi bw’ebigezo bukendedde nnyo.

Ku luno twasigazza ebigezo bya bayizi 909 bokka sso ng’emabega embeera yali mbi. Nnina essuubi nti ekiseera kyakutuuka nga tetukyalina kizibu kya bubbi bya bigezo.” Bukenya abadde akulira UNEB okuva mu 1996 ng’adda mu bigere bya Livingstone Ongom.

Ensonda zaategeezezza nti ekifo kya Bukenya kiyinza okusikirwa Dan Odong, omumyuka wa Bukenya mu kiseera kino era nga y’akulira ensonga z’ebigezo ebya Siniya.

Okutuuka ku ssa lino kkampuni ekola ku gw’okwekenneenya abakozi eyitibwa Dama Consultancy yapatanibwa okusunsulamu abanadda mu kifo kino bwatyo Odongo n’alondebwa.

Omuntu waffe ono yategezezza Olupapula luno nti “ Ekisanja kya Bukenya kyasaliddwawo kikomekerezebwe n’omwaka guno.

Yalekeddwa amalirize okufulumya ebigezo by’omwaka oguwedde byonna olwo agenda okumuddira mu bigere atandike okukola emirimu gye nga April1, 2016.” Ebibuuzo by’omulundi guno byayanguyiziddwa okukomezebwawo bw’ogeraageranya n’ebibadde bifulumizibwa emabega era Bukenya yategezezza nti byali bisobola n’okufulumizibwa nga Ssekukulu tennatuuka ng’enkola eno ekitongole bwe kinaagikakatako, esobola okuteekebwa mu nkola.

Dan Nokrach Odong, asuubirwa okusikira Bukenya.

 

Afugidde ku bugubi Mu December wa 2012, kyategeezebwa nga kontulakita ya Bukenya bwe yali eweddeko, ne wabaawo n’akayisanyo k’okulonda omuwandiisi omuggya naye byonna ne bigwa butaka oluvannyuma lwa Bukenya okwongezebwa ekiseera abeeko emirimu gy’amaliriza.

Kino kyaleetawo akagugulano mu UNEB, wakati wa Bukenya n’eyali Ssentebe wa UNEB Fagil Mandy era ensonga zaatuuka n’ewa Pulezidenti ne Kaliisoliiso wa Gavumenti oluvannyuma Mandy n’alekulira emirimu gye.

Okuggyako okulwanyisa abakoppa n’okubba ebigezo, Bukenya aleese tekinologiya abayizi kwe bayinza okufunira ebivudde mu bigezo nga bakozesa ssimu ez’omu ngalo n’ebirala.

Abagoberera b’ebyenjigiriza bagamba nti waliwo okusoomoozebwa okukyaliwo era nga ssinga Bukenya avaawo, omuwandiisi wa UNEB addako by’alina okussaako omulaka.

Polof. Masagazi Masaazi owa Yunivasite y’e Makerere yagambye nti wadde nga UNEB esobodde okulwana okulaba nga baziba amakubo agayitwamu okubba ebigezo, naye era bikyasomolebwa.

Kino kitegeeza nti wakyaliwo omulimu munene okulaba ng’omuze guno gukomezebwa. “Omuwandiisi omuggya asaanye okwongera okunyweza ebibonerezo eri ababba ebigezo, si mwana, si muzadde oba ssomero oba omusomesa.

Ate abasomesa basaana okwongerwa okukangavvulwa ennyo kubanga bbo bamanyi obulabe obuli mu kuyamba omwana,” bwe yagambye.

Okwongera okunoonyereza n’okwekeneenya ebisaanyizo by’amasomero agakolerwamu ebigezo, kubanga waliwo amasomero agakkirizibwa okutuuza ebigezo naye nga tegatuukirizza bisaanyizo bya UNEB.

Tekinologiya, asaanye okwongerwamu amaanyi ng’omuyizi oba omuzadde bwe bakozesa ssimu okumanya ebyavudde mu bigezo kisaanye okutuuka ne ku kwewandiisa era omuzadde ng’asobola okukozesa ssimu n’amanya oba omwana we yawandiisibwa.

Okukozesa yintanenti okwewandiisa kyali kitandise okugezesebwa naye kisaanye okwongerwamu amaanyi.

Omuwandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU, James Tweheyo agamba nti, UNEB esaana okwongera amaanyi mu mbuuza y’ebibuuzo eyongera obukugu mu bayizi n’ekendeeza kw’ebyo eby’okuwandiika kwokka.

Yagambye nti enguzi mu UNEB tesaana kuweebwa mwagaanya, nga ne mu 2002 Bukenya yagyogerako nga bwe waliwo amasomero agaali gagezaako okumugulirira okuyisa abayizi baabwe.

EBIKWATA KU BUKENYA

  • Azaalibwa Buddu, ku kyalo Kaamugombwa e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu.
  • Kitaawe ye mugenzi Yozefu Mukasa. Siniya yagisomera Kitovu n’e Kisubi.
  • Bakadde be baazaala abaana musanvu. Amaze ebbanga mu kitongole ky’ebigezo nga yaliko mu kitongole kino eky’ebigezo ng’omubalirizi w’ensimbi ( accountant).
  • Alina abaana bataano, abalenzi bana n’omuwala omu.
  • Agamba nti musajja atya Katonda era ekirooto kye eky’obuto kyali kya kubeera Faaza kyokka tekyatuukirira naye tagwa Keleziya ng’asinga kusabira ku Christ The King mu Kampala.
  • Mukugu mu nsonga z’ebigezo nga yakolerako mu kitongole ky’ebigezo eky’obuvanjuba bwa Afrika saako okukola emirimu egy’enjawulo mu kitongole ky’ebigezo mu Uganda.
  • Obutendeke bwe bwa busomesa obw’amatendekero aga waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....