TOP

Temutya nkyaliwo nnyoooo,,,,,,-Museveni

Added 17th January 2016

Museveni agumiza abawagizi be mu bitundu by'e Bushenyi

 Pulezidenti Museveni mu lukung’aana lwe yakubye ku kyalo Kazinda Ward eky’omu Munisipaali y’e Ishaka mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Pulezidenti Museveni mu lukung’aana lwe yakubye ku kyalo Kazinda Ward eky’omu Munisipaali y’e Ishaka mu disitulikiti y’e Bushenyi.

PULEZIDENTI Museveni, mu nkung’aana ze yasembyeyo okukuba mu disitulikiti y’e Rubirizi ne Bushenyi, ab’e Rubiriizi baamusabye abanaazeeko ennaku nga bamuzzizza mu ntebe.

Baamutegeezezza nti amakubo gaabwe tegayitikamu, amalwaliro gali mu mbeera mbi, amasomero tegalina bizimbe na ntebe n’ebizibu ebirala.

Mu lukuhhaana lwa kampeyini lwe yakubye ku kyalo Katerera mu disitulikiti ye Rubirizi ku Lwokutaano, ebizibu bino abatuuze baabiyisizza mu mubaka waabwe mu Palamenti, Twibu Katoto. “Ssebo Pulezidenti, ekitundu kya Rubirizi naddala mu ssaza Katerera, amakubo gasibye ku balimi obwavu kuba tebasobola kutunda birime byabwe ku bbeeyi esanyusa.

N’ebyobulamu bikaabya kubanga mu disitulikiti ya Rubirizi yonna temuli ddwaaliro liri ku ddaala lya Health Centre IV,” Katoto ali azzeemu okuvuganya ku tikiti ya NRM bwe yasomedde Museveni ebizibu by’abatuuze.

Yagasseeko nti amagombolola asatu ku ataano (5) agali mu disitulikiti temuli basawo batendeke ng’abantu abasinga okufuna obujjanjabi obulungi baddukira Bushenyi ne Kyamuhunga. Yasabye Museveni okubayamba ku bisolo naddala envubu n’enjovu eziva mu kkuumiro lya Queen Elizabeth ne zibaliira ebirime.

Museveni ng’atikkula abakyala ebirabo bye baamutonedde mu Kazinda Ward e Ishaka, Bushenyi.

 

Yagambye nti amakubo nago galinga bisinde bya nte nga basaba agabakolere. “Tugenda kukuzzaako era ggwe ojja okutuusa ekitundu kyaffe ku ntikko kuba tukumanyi ng’oli musajja mukozi ate otulumirwa,” bwe yawunzise. TEMUTYA WENDI - MUSEVENI Museveni naye ali ku tikiti ya NRM ku bavuganya ku Bwapulezidenti, yasuubizza okussa abakozi 19 mu buli ddwaaliro eriri ku ddaala lya Health Centre IV nga basasulwa omusaala omusava.

Yaweze nga bw’agenda okukola ku babba eddagala mu mawaliro ga Gavumenti nti tagenda kukkiriza Bannayuganda kufa mu ngeri ey’ekigayaavu. Ku byenjigiriza, Museveni yagambye nti olunadda mu buyinza agenda kulaba nga buli Konsitityuwense ebaamu ettendekero ly’ebyemikono.

Yasuubizza n’okukola oluguudo oluva e Kyambura lugguke e Nsiika ne Bwizibwera ate olulugatta ku Kamwenge nti lwakukubwa koolansi. Ku bisolo ebiboonoonera ebirime, Museveni yagambye nti waakukwatagana n’abakulira ekkuumiro ly’ebisolo lya Queen Elizabeth bamalewo ekizibu ekyo.

Yabakunze okwongera amaanyi mu kulima emmwaanyi kubanga ya ttunzi okusinga ebirime ebirala mu katale k’ensi yonna. Museveni ng’akyali mu disitulikiti y’e Rubirizi, yakubye olukuhhaana olulala ku ssometo lya Rubirizi era wano baamutonedde ekkanzu.

Oluvannyuma yakubye olukuhhaana olulala mu kisaawe ky’e Kizinda n’e Ishaka mu Bushenyi ng’eno, minisita w’Obutebenkevu, Mary Karoro Okurut n’omusubuzi Haji Hassan Basajjabalaba be bamu ku baamwanirizza. Abantu baayongedde okumutonera ebirabo omwabadde engabo, effumu n’ebirabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...