TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Manifesito y'abantu b'e Rakai: 'Mwongere amaanyi mu byobulimi'

Manifesito y'abantu b'e Rakai: 'Mwongere amaanyi mu byobulimi'

Added 26th January 2016

Baasinzidde mu kibuga Kaliisizo mu ssaza ly’e Kyotera mu disitulikiti y’e Rakai mu kukubaganya ebirowoozo n’abo abeesimbyewo ku mitendera egy’enjawulo mu pulogulaamu ya Bukedde TV, leediyo ne Bukedde olupapula eya MANIFESTO Y’ABANTU ekubirizibwa Ssaalongo Richard Kayiira.

 Abamu ku bantu abeetabye mu kukubaganya ebirowoozo mu Manifesito y’Abantu.

Abamu ku bantu abeetabye mu kukubaganya ebirowoozo mu Manifesito y’Abantu.

ABATUUZE mu disitulikiti y’e Rakai basonze ku bintu ebibaluma bye baagala abeesimbyewo ku mitendera egy’enjawulo bakoleko ekitundu kigende mu maaso n’abantu beeyagalire mu bukulembeze obunaaba bulondeddwa.

Baasinzidde mu kibuga Kaliisizo mu ssaza ly’e Kyotera mu disitulikiti y’e Rakai mu kukubaganya ebirowoozo n’abo abeesimbyewo ku mitendera egy’enjawulo mu pulogulaamu ya Bukedde TV, leediyo ne Bukedde olupapula eya MANIFESTO Y’ABANTU ekubirizibwa Ssaalongo Richard Kayiira.

Baasonze ku bibaluma omuli enteekateeka embi ey’obutale mu bibuga nga Kaliisizo, Kyotera n’ewalala, ebibuga ebiri ku ddaala lya Town Council ebitakulaakulana, ebbula ly’amazzi mu magombolola g’ebyalo ate n’ago agavaavaako mu bibuga, omusolo ku basuubuzi ogususse, enguudo embi, ebyenjigiriza ebikyawenyera omuli n’amasomero ga Gavumenti abaana gye bakyatuula wansi ku ttaka nga basoma n’ebirala bingi.

Baatadde abakulembeze abeesimbyewo ku nninga okubakakasa mu ndagaano gye baba bakolera mu maaso ga kkamera za Bukedde nti baakukola ku bizibu ebibaluma nabo ne beeyama eri abalonzi mu lukuhhaana olwajjumbiddwa nga lukwatibwa butereeva ku Bukedde Ttiivi ne leediyo.

 

 

BANNABYABUFUZI BOOGEDDE

Olukung'aana luno lwajjumbiddwa bannabyabufuzi abaagasimbaganye n’abantu be bagenda okuweereza omuli abo abali mu buyinza n’abeegwanyiza ebifo byabwe ku mitendera egyenjawulo.

1 MARK KITONE NKAMBWE ayagala kifo kya Mubaka wa Kyotera mu Palamenti. “Abantu baffe balina ebizibu bingi ebibaluma kyokka bibadde bibuusibwa abakulembeze amaaso, nze hhenda kukola ku nsonga z’okulwaanirira abasuubuzi, ebbeeyi y’ebirime eri omuntu waffe alima eri wansi, obukulembeze ebuwa bannange ekitiibwa, era obufaayo ennyo ku nkulaakulana y’ebitundu byaffe, amazzi amayonjo mu bitundu n’ebintu ebirala bye ntadde mu Manifesito yange.

2 SSANDE RICHARD NTAMBAAZI Meeya wa Kaliisizo aliko era akutte bendera ya NRM okudda mu kifo kye kimu, ‘Tulina enteekateeka gye tukolerako emirimu mu kibuga kyaffe ey’emyaka etaano. Nkakasa bingi ku bizibu ebyogeddwaako wano ng’okuyoola kasasiro, eby’obutale, ebiluma abasuubuzi naddala ku musolo n’ebirala bingi tujja kubitereeza.

Ku nsonga y’amazzi tegakyavaako nnyo kuba twaleeta National Water okugaddukanya, ebyenjigiriza twaleeta n’essomero lya siniya erya Gavumenti mu kibuga n’enguudo zaffe tugezezzaako nnyo okuzikola era ebinaalebwa twabitadde dda mu nteekateeka ey’emyaka etaano egiddako.

3 JOSEPH NYANZI yeesimbyewo ku bwakansala Kaliisizo Town Council; Ngenda kulwanirira ebyemizannyo n’eby’enkulaakulana y’abavubuka baffe mu Kaliisizo. Nalwanirira nnyo ekisaawe kyaffe obutatundibwa ng’enteekateeka eyali ereeteddwa n’okuteeseza abantu baffe mu Council ku nsonga eziyamba Bannakaliisizo era ezijja okubagasa.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....