TOP

Baze adda n'ansaba laavu

Added 14th February 2016

Abantu bangi bafiirwa abaagalwa baabwe naye muntu ki akuvuddeko era biki ebikutadde ku bunkenke ebimukujjukiza? Baze si bbanga ddene ng’ayabulidde obulamu bw’ensi.” Bwatyo

 Nnamwandu wa Ssekajja ng’anyumya ku bba. Omugenzi Ssekajja.

Nnamwandu wa Ssekajja ng’anyumya ku bba. Omugenzi Ssekajja.

“Haa, olunaku lutuuse olunteeka ku bunkenke. Buli lwe lutuuka amameeme gankuba ne nnyongobera ne mba ng’akubiddwa. Omwezi gwa February we gutuukira mba saagala ngutegeere nti ddala gutuuse kuba gwandekera birooto na bifaananyi by’omwagalwa bwe twacakalanga. 

Abantu bangi bafiirwa abaagalwa baabwe naye muntu ki akuvuddeko era biki ebikutadde ku bunkenke ebimukujjukiza? Baze si bbanga ddene ng’ayabulidde obulamu bw’ensi.” Bwatyo

Alice Kisitu ow’e Maganjo mu ggombolola y’e Nabweru, bw’atandika emboozi ye ku mwagalwa we omugenzi Micheal Ssekajja bwe baacakalanga ng’ono baamuttira mu mmotoka ye gye yali akuuma okwerinda ababbi.

“Twalabagana ne baze mu 2000 nga nkola mu saluuni era nga kyamutwalira ebbanga lya mwaka okumukkiriza era awo we namutwalira mu bakadde kuba nali mmaze okumulabamu omulamwa. Okutandika obufumbo twali tubeera Kazo Central gye twasondera obusete bwaffe ne tugula e Maganjo gye twazimba. W’afiiridde ng’ava eno okugenda okukola egy’obwamakanika e Bwaise.

Valentayini mba mu kiyongobero

Ndidde valentayini 13 n’omugenzi Ssekajja era nga z’ezimu ku bijjukizo bye yandekera, wadde lwo olunaku sikyayagala kumanya birukwatako era naluggalawo mu birowoozo byange kuba mba mu kiyongobero.

Valentayini ya 2007 sigenda kugyerabira, yagula akamuli n’akassa mu buliri nga simanyi.

Twava awaka ne tugenda mu midigido nga bulijjo, olwadda n’obukoowu bwange nabikkula obuliri mpummule ekyannyaniriza kaali kamuli kano. Kino olwakikola n’ampita ne tugenda tucakale.

Olwadda olwabikkula obuliri nga ngwa ku kamuli ka looza ne nneebaza Mukama eyampa omusajja omuyiiya bwatyo.

ENFA YE

June 6, 2013 twakeera nga bwe twateranga okukola ne tugenda mu kyalo gye bamuzaala e Kakubo gye twalimiranga. We twakomerawo obudde bwali bugenze nga twasooka kwewaamu nga bwe yali enkola yaffe.

Awaka twatuuka bugenze n’agamba talina gatwala mmotoka mu paaking. Namubuuza ky’agenda okugikolera n’anziramu nti agenda kusula mu mmotoka ng’agikuuma kuba yali teyeeteekera babbi ate ng’okugitwala mu paakingi ayinza okusanga abazigu ne bagibba oba naye okumutta.

Ffembi kyetutaamanya nti kye yali atya mu kutwala mmotoka mu paakigi ate kyali kigenda kumusanga mu luggya awaka ewuwe.

Namusiibula ne mmwagaliza okusula obulungi olwo nze ne nnyingira mu nju ne nsibawo. Bwe bwakya naggulawo nga mmanyi munnange agenda kuyingira ne nzira mu byange wabula hhenda okulaba nga tayingira kwe kufuluma ndabe omwagalwa kyabadde. hhenda okulaba nga Sekajja ali ku lubalaza ataawa nga yakubiddwa mizibu.

Nneekanga ne nkuba enduulu baliraanwa ne badduukirira. Bannyambako ne tumuteeka mu mmotoka wabula nalemererwa mmotoka okugivuga ng’amagulu ganfamba.

Nneekakaba ne nvuga kyokka mba mpeta ensonda nzire ku kkubo bwatyo valentayini wange n’agenda nga tansiibudde wadde okumbuulira ekyamutuukako.

Ekyewuunyisa oba abaamukuba emiggo baali baagala bulamu bwe kuba tebalina kye baatwala ggwe ate nandirowoozezza nti mmotoka gye baali bajjiridde kyokka tebaagitwala era gye nali nkozesa okumuddusa mu ddwaaliro. Mukwano wummula mirembe.

Andoosa

Omwami wange okufa mmotoka eyamussa ng’agikuuma yasigalawo mu luggya, abatemu tebagikwatako.

Nalina omulimu okusooka okugivuga ngitwale ku poliisi ng’obujulizi bwe yeetaaga. Olwagituulamu ne nfuna ekitengo, omusujja gwangwiira ne mpulira nga nzenna omubiri gukankana.

Okukwata obukwasi ku siteeringi nga buli lwe ngezaako okukuba ekisumuluzo ng’ekifaananyi ky’omwami wange kinzijira nga mmulaba ansaba obutamutomera.

Nagezaako enfunda eziwera nga mmulaba ne nsalawo okugyesonyiwa era nagikwasa muntu mulala ye yagitwalayo. Naye ne bwe yakomezebwawo nalemwa okugituulamu okugivuga okutuusa lwe nagitunda.

Nga twakava e magombe yajja nga mmulaba ayambadde essaati ye gye yayagalanga ennyo eya bbulu. Olwantuukako ku buliri n’ankwatako n’anzukusa mmuwe omukwano nga gwe mbadde mmuwa bulijjo.

Okunkwatako ng’alinnye ekitanda yeebikka mu buliri, olwalaba kino ne ndeekaana nga bwe nkuba enduulu. Ng'enda okuwulira nga baliraanwa bali ku luggi bankonkona nga bwe bambuuza ogubadde awo we nzirira engulu. Nabategeeza nga bwe mbadde mu kirooto ne banzikakkanya.

Anzijukiza okukozesa akatimba k’ensiri

Olulala namuloota nga mmulaba ali walako ne we nnali wabula ku luno yajja asitudde omwana omuto omulwadde. Saamusemberera kwekkaanya mwana gwe yali asitudde. Talina kye yannyega n’abula. Nawawamuka ne ntandika okwebuuza eby’omwana kye bitegeeza nga sirina kyakuddamu.

Waayita omwezi gumu omwana w’omukozi wange awaka n’alwala n’afa kwe kujjukira ekirooto mwe nalabira munnange ng’asitudde omwana.

Ssekajja waliwo lwe yataama nga kumpi buli kiro anzijira ate nga musunguwavu kuba buli kye yali akola ng’akikozesa busungu bwe saamanya gye bwava. Kino kyanneewuunyisa kuba ennaku ze yasooka okudda yali wa mirembe wadde yali talina ky’anyega.

Embeera eno yampalirizza okwongera mu ssaala buli kiro nga hhenda okwebaka nga nsaba munnange awummule mirembe. Wano yakyusaamu n’addamu okujja mu mirembe.

Lumu nali nneerabidde okussa akatimba k’ensiri kuba nakomawo ndi mukoowu era ku kitanda nagwako bugwi ne nneebaka.

Mba nneebase empewo empitirivu n’ejja era ye yanzuukusa. Empewo eno yassa akatimba k’ensiri muli mu nze ne mpulira eddoboozi lya munnange nga lihhamba okukassa ensiri zireme kunnuma era hhenda okwetegereza ng’ekitundu kiri waggulu kwe kukassa.

Ekirala kye nazuula ku valentayini wange buli lwe mbeera nga nneetaaga ssente ne njogera ku linnya lye nga nzifuna. Lumu saalina mmere ate nga ndi mwavu, nakwata ku ttama nga bwe mmujulira nti, “Kale nali sijula nga Ssekajja w’ali” waayita eddakiika ntono be nnali mmanja ne bandeetera ssente zange.

Okuva Ssekajja lwe yafa valentayini mbeera ku mirimu gyange, bwe mpulira ng’ebirowoozo bimpitiriddeko nga hhenda ewa mmange ng’ambudaabuda.

Oluusi mmanyi okukwata ekifaananyi kya Ssekajja ne hhenda nakyo ku bbiici ne nkyakalamu nga bwe twakolanga. Kino bwe nkitunulako kihhumya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.