TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Muwala wange yadda n'aloosa jjajjaawe engeri bba gye yamutemulamu'

'Muwala wange yadda n'aloosa jjajjaawe engeri bba gye yamutemulamu'

Added 28th February 2016

MARGARET Nannyonjo talyerabira mukoddomi we Semu Nsereko eyawasa muwala we omugenzi Nasitaziya Nantaba 22, eyali yaakatikkirwa dipulooma mu byemikono gwe yakuba emiggo n’amutta.

 Omugenzi Nantaba yaloosa jjajjaawe ng’omutemu yeekwese. Wakati, Nannyonjo n’omuzzukulu muwala we gwe yaleka. Ku ddyo, ye Nsereko ali mu kkomera e Luzira.

Omugenzi Nantaba yaloosa jjajjaawe ng’omutemu yeekwese. Wakati, Nannyonjo n’omuzzukulu muwala we gwe yaleka. Ku ddyo, ye Nsereko ali mu kkomera e Luzira.

MARGARET Nannyonjo talyerabira mukoddomi we Semu Nsereko eyawasa muwala we omugenzi Nasitaziya Nantaba 22, eyali yaakatikkirwa dipulooma mu byemikono gwe yakuba emiggo n’amutta.

Mukoddomi we Semu Nsereko yali ddereeva wa takisi ng’avugira ku lw’e Kayunga -Mukono. Yali adduse nga yeekukumye, omugenzi n’amukomyawo nga talaba maaso na mabega era n’akwatibwa.

ENFA YA MUWALA WANGE

Bannange nafuna ebbwa ku mutima eritagenda kunvaako. Nnannyini mayumba muwala wange kwe baali bapangisa mu Ggulu e Mukono, yantegeeza nti nga March 3 omwaka oguwedde, abafumbo baafuna obutakkaanya.

Ku ssaawa 4:00 ez’ekiro, Semu yakomawo awaka n’atandika okuyomba n’ekyava mu luyombo luno kukuba mukyala (muwala wange).

Omukyala yalaajana nga bw’ayita landiroodi amuyambe omutaase ku bba. Landiroodi yafuluma n’akwata ku luggi nga balusibidde munda.

Yakanda kukonkona nga bw’ayita kyokka ng’omusajja bw’ayongera okukuba munne era emiggo yagikomya ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.

Yalaba bagaaanyi okuggula, oluggi kwe kukubira poliisi essimu, ebyembi bagenda okutuuka nga Nsereko adduse.

Bagenda okutuuka mu nju nga muwala wange ali mu kitaba ky’omusaayi awuuna buwuunyi, mu bwangu Poliisi n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago.

E Mulago muwala wange yamalayo ennaku ssatu zokka n’afa n’aleka omwana wa myaka ebiri.

Lipoota gye twafuna okuva mu ddwaaliro yali eraga nti muwala wange mu kulwanagana, bba yamukasuka ku kitanda n’akubako omutwe omusaayi ne guyiika mu bwongo nga kino kye kyamutta.

MUWALA WANGE ADDA N’AZUULA OMUTEMU

Mw. Moses Bbosa ng’ono omugenzi yali muzzukulu we ye yakulembera okuzuula omutemu.

Jjajja yafunanga ebirooto nga muwala wange amuloosa ng’amulaga wa Nsereko gy’ali naye mu kusooka teyakitegeeranga.

Waliwo lwe yaloota ng’omugenzi ali ne bba kyokka nga bombi bakambwe bazibu naye ate ng’omugenzi yali akaaba ng’alaajana olw’omwana we.

Buli lwe yafunanga ekirooto ku mugenzi ng’atubuulira naye nga muli twebuuza kiki ky’agezaaako okutugamba!

Ekirooto kino kyayongera okutweyoleka era waayita omwezi gumu ne bakwata omutemu ng’ono poliisi yamusanga Kitgum ku nsalo ya Uganda ne South Sudan era kati awerennemba na gwa butemu mu kkomera e Luzira”.

OMUZIMU GUKAKA NSEREKO OKWETONDA

Okusinziira ku Nannyonga maama w’omugenzi, Semu Nsereko olwakwatibwa ku by’okutta mukazi we ng’ali ku poliisi, yeewozaako nti bamusonyiwe kuba teyamutta mu bugenderevu.

“Ebizibu by’obufumbo bye byavaako obuzibu nnakwatibwa obusungu ne tulwana era mu kulwana nneekanga mmusindise eri n’akuba omutwe ku kitanda naye nga saakigenderera.

Kino bwe kyabaawo ne mmulaba ng’avaamu omusaayi, natya nnyo kwe kumuleka mu nju naye gye mbadde emirembe mbadde sirina.

Buli kadde mbadde ndaba mukyala wange gwe nali njagala ennyo era nga twali tutegeka na kwanjula ng’anzijira.

Omukyala mmulaba ng’ali n’omwana waffe kale bino tebimpadde mirembe nsaba bansonyiwe nsobole okukuza omwana waffe.

Wadde mbadde nneekukuma okuva mu March, we bankwatidde mu December nga nange sikyetegeera kuba ekifaananyi kya mukyala wange kigaanyi okunva ku maaso ne bwe ngezaako okuzibiriza bwenti mmulaba ate nga mukambwe nnyo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.