
Nalubega anyumya ku nnyina. Omugenzi Sitefaniya ku kkono bwe yali ku mukolo ogumu.
YANKUBIRA essimu n’ang'amba nkeere ewuwe alina by’ayagala okumbuulira. Saamanya nti ate lwe ng'endayo nja kusanga mulambo mu ddiiro!
Yafa sitegedde bye yali ayogerako n’okutuusa leero sibimanyanga,” Nalubega Mukasa ow’e Kimaanya- Masaka bw’atandika emboozi ye ku nnyina omugenzi Sitefaniya Mukasa, n’emmere ekulema okulya.
“Maama yali mutuuze e Budondo- Namizi mu disitulikiti y’e Jinja. Yali mukyala mulimi, omulunzi ate nga musuubuzi. Wadde yabanga n’ebyokukola bingi naye ng’afaayo eri abaana be n’abazzukulu.
Yatukubirizanga okufaayo ku misomo gyaffe ng’atugamba nti ssinga tetusoma ensi yanditufuukira ensi. Ebyembi Mukama yamuyita mu kiseera mwe twali tusinga okumwetaagira ng’abaana.
MAAMA ALWALA
2014 nga gutandika maama yatandika okukaaba olubuto. Bwe yagenda mu ddwaaliro ne bamutegeeza nti alina alusa.
Zino zaatandika okumuyisiza ddala obubi nga buli kadde aba yeenyoola ng’olubuto lumuluma. Yafuna obujjanjabi mu ddwaaliro lya Budondo Health Center IV e Jinja nga waliwo lwe zaamukuba wansi n’aweebwa ekitanda wiiki nnamba.
Omwaka oguwedde nga gutandika, alusa zaamukuba wansi n’addusibwa mu ddwaaliro e Budondo.
Eno yamalayo ebbanga ku kitanda. Bwe yadda yali mukovvu ate ng’alaga nti mweraliikirivu. Nalaba embeera eno sikyasobola kugigumiikiriza kwe kusalawo mmubuuze kiki ekimweraliikiriza, bwe kiba kisoboka tukisalire wamu amagezi.
Lumu mba hhenzeeyo okumulabako mba mmutabulira caayi kwe kumubuuza nti, ‘Maama kiki, nga buli kaseera oba mu birowoozo, wenna okozze?’
Yanziramu nti, ‘Mwana wange nnyinza obutasobola kubategekera bye nali nasuubizza mu mutima gwange, kuba ng’oggyeeko alusa ze mubadde mumanyi, abasawo baakantemye nti nnina kookolo era essaawa yonna nfa’.
Olwayogera bino n’atandika okukaaba ng’agamba nti, ‘Mwana wange okimanyi nti kookolo tawona? Naye bwe nva mu nsi ng'enda kubalekera ani? Awo ffembi ne tukaaba. Olwo n’agamba nti, ‘bangi abawangaala era nange nja kuwangaala.’ Nakimanya nti kino akyogedde kunzizaamu ssuubi.
Ng’atereddemu nga n’eddagala lye baamuwa liweddewo yaddamu okukola emirimu emitonotono naye nga yeepimira by’akola n’obudde bw’amala.
Mu January w’omwaka guno, nali wange e Masaka, maama n’ankubira ng’antegeeza nga bw’ayagala okwogeramu nange nti alina by’ayagala okung'amba. Yang'amba nti, ‘Enkya ku ssaawa 8:00 ez’emisana jjangu waliwo bye njagala okukugamba maaso ku maaso kuba tewali waaluganda lwange oba mu baana yenna abimanyi.’
Namuddamu nti kale maama era n’antegeeza nga bw’ali obulungiko kuba yali tawulira bubi. Lw’ahhamba okugenda nakeera kwoza ngoye nsobole okwetegekera olugendo naye munnange engoye zaali tezigenda kuba nakunyanga naye nga muli mpulira sirina maanyi. Nasalawo kuzivaako nsooke nfumbe caayi nnywe olwo nziddire.
Mba nnaakamala okunywa caayi gye nali ne mpulira omu ku baana ng’akaaba mu ddiiro, hhenda okumutuukako ng’agamba nti jjajjaawe afudde! Nakwatirawo essimu ne nkuba ewa maama ne bantegeeza nga bw’afudde. Kino kyankuba wala ne nzijukira ebigambo bye yasemba okung'amba.
Saafuna mukisa kumanya maama bye yali ampitidde, n’engeri gye natuuka mu kyalo e Namizi ssaagitegeera nneesanga mu ddiiro nga maama mugenzi. Natuula wansi ne nkaaba naye nga muli ndowooza ne bye yali ampitidde nti sigenda kubimanya ne gye buli eno sibimanyanga.
MAAMA ANZIJIRA
Nga waakayita wiiki emu yokka nga tuvudde mu masanja nadda e Masaka, wabula kw’olwo lwennyini lwe ntuuka eka, ekiro mba nneebase ne ndoota mmange ng’ahhamba nti, ‘Obulwadde