TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Amazaalibwa ga Kabaka: Omulangira Mutebi we yazaalirwa e Mulago ng'eriyo buli kimu

Amazaalibwa ga Kabaka: Omulangira Mutebi we yazaalirwa e Mulago ng'eriyo buli kimu

Added 8th April 2016

ENJOGERA egamba nti eby’obwereere byasigala Mulago egenze ediba, eno yacaaka mu myaka gya 1940 okutuuka awo nga mu gye 80 Mulago bwe yali nga buli bujjanjabi bwa bwereere.

 Ssekabaka Muteesa ng’asitudde Mutebi omuto. Ku ddyo, Kabaka Mutebi

Ssekabaka Muteesa ng’asitudde Mutebi omuto. Ku ddyo, Kabaka Mutebi

ENJOGERA egamba nti eby’obwereere byasigala Mulago egenze ediba, eno yacaaka mu myaka gya 1940 okutuuka awo nga mu gye 80 Mulago bwe yali nga buli bujjanjabi bwa bwereere.

Wabula wadde ne mu kiseera kino bwe guli, naye ebintu bikyuse. kati bw’oba tolinaamu ku nsimbi e Mulago ebintu tebikwanguyira.

Abamu batandise n’okukyusa enjogera ‘Olaba n’e Mulago ebyobwereere byaggwaayo’ ekiraga nti tokyamala gagenda ngalo nsa n’oyangunyirwa okufuna obujjanjabi obw’obwereere. Nga tujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 61, toyinza kulemwa kujjukira nti April 13, 1955 Ssaabasajja yazaalirwa mu ddwaaliro e Mulago.

Naye weebuuze mu kiseera kino mukungu ki akyayinza okutwala mukazi we okuzaalira e Mulago naddala ku wingi ey’olukale awali eby’obwereere? N’oyo awalirizza ennyo amutwala gye basasula awali empeereza naye nno eno nayo okuzaalirayo omwana omugula busanga!

                                                  KABAKA NG'ATUDDE KU NNAMULONDO 

Omuntu bwe yazaaliranga e Mulago, azadde obulungi ng’abeera mu ddwaaliro okumala wiiki nnamba, ate azaalidde ku kiso ng’oyo amalayo wiiki bbiri nga bamujjanjaba. Mwattu n’omukyala ne bwe yabanga taliiko muntu yenna ng’abasawo bamulabirira, ekitakyaliwo mu kiseera kino.

Omutaka w’e Kyaggwe Kavuma Kaggwa agamba nti, “Omukyala bwe yamalanga okuzaala, ng’eka addayo n’ebintu ebisinga ebyetaagibwa nnakawere naddala ebiyamba omwana ng’obuugi, ebizigo, sabbuuni, bulangiti, obusuuka n’ebirala.”

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuzaalibwa e Mulago, mu 1955 mu kiseera ekyo nga likyali ku Mulago omukadde.

Wabula oluvannyuma ng’abazungu bagenda okuva kuno baazimba eddwaaliro erya Mulago omupya nga kino kye kirabo kye baasalawo okutonera Uganda ng’akabonero akagisiibula.

Omutaka Kaggwa ayongerako nti, mu 1948 enkola y’obujjanjabi obwobwereere yasalibwawo okutandika mu mawanga gonna agaali amatwale ga Bungereza ne Uganda nga mwogitwalidde.

Era wano we waava enjogera egamba nti, ‘Eby’obwereere byasigala Mulago’ nga bw’ogenda e Mulago buli kimu kiba kya bwereere, ne bw’oba ng’ogenda kulongoosebwa ate nga’ofiibwako n’okusinga bwe kiri kati. Leero bwe gwatuukanga ku mukyala azadde, ng’ono buli kyetaago kya mwana ng’ava nakyo e Mulago.

Mu mbeera eno ne Kabaka Mutebi mwe baamuzaalira ng’ebintu byonna e Mulago bya bwereere. Wabula Mulago atandise okwonooneka mu biseera bw’avudde mu mikono gy’Abazungu okudda mu baddugavu naddala.

 

Kati ate mu kiseera kino omutawaana oguzze kwe kuba ng’omujjuzo guyitiridde kuba eddwaaliro lye baazimba nga lirina ebitanda 1,790, kyokka kati mulimu abalwadde abasoba mu 3000.

Mulago mu kiseera kino bali mu kumuddaabiriza okumuzza obuggya, okwo gattako okuzimba amalwaliro ag’enjawulo mu munisipaali za Kampala okusobola okuyambako okumalawo omujjuzo e Mulago.

Wabula abantu abamu mu kiseera kino okufuna eddagala ery’enjawulo, ebyuma ebikebera emitima ebiseera ebimu biba bifu ng’olina kugenda bweru ekisaana okwongera okutereezebwa abantu baddemu okweyagalira e Mulago.

Wingi ey’olukale nayo ejjuza n’eyitawo, kyokka ng’empeereza n’abasawo baabulumi okwo gattako abantu okutandika okuferera e Mulago ekitaaliwo edda, kale byonna bisaana okutunulwamu.

 

Mu ngeri y’emu BUKEDDE wakufulumya akatabo ak’enjawulo ku MAZAALIBWA GA KABAKA nga April 13, 2016 omugenda okubeera esonga ez’enjawulo ezikwata ku bulamu bw’Omutanda.

Mu katabo kano Amakampuni n’abantu Ssekinnoomu baakuweebwa omukisa okuweereza Kabaka obubaka obumuyozaayoza.

Ayagala okuweereza obubaka ng’Olanga mu katabo kano akenjawulo kuba ku simu 0772490642 osobole okumanyisibwa ebisingawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu