TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Gwe baggyeemu ensigo atutte ab'ekkanisa ya Watoto mu kkooti

Gwe baggyeemu ensigo atutte ab'ekkanisa ya Watoto mu kkooti

Added 17th April 2016

OMUSAJJA eyasendebwa ab’e kkanisa ya Watoto ne bamuggyamu ensigo nga bamusuubizza okumulabirira, okulabirira nnyina wamu n’okumuwa ssente za fiizi amalirize diguli ye kyokka ne bamenya endagaano abatutte mu kkooti.

  Katamba ng’alaga we baamusala okuggyamu ensigo.

Katamba ng’alaga we baamusala okuggyamu ensigo.

OMUSAJJA eyasendebwa ab’e kkanisa ya Watoto ne bamuggyamu ensigo nga bamusuubizza okumulabirira, okulabirira nnyina wamu n’okumuwa ssente za fiizi amalirize diguli ye kyokka ne bamenya endagaano abatutte mu kkooti.

John Katamba 24, agamba nti abakulu mu kkanisa ya Watoto baamutuukirira ne bamusaba abayambe aweeyo ensigo ye eri omuvubuka William Kabuye 17, eyali alwadde ensigo.

Kyokka olwamala okumuggyamu ensigo ne bamwerabira era mu kiseera kino yasannyalala ate aba Watoto tebakyayagala kumanya bimufaako.

KATAMBA ANYONNYODDE

"Mu 2013 nga mmaze okutuuka S.6 mu Seroma High School e Seeta, mwannyinaze Tabitha Nakitende yalwala ensigo era nze namuwerekeranga mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujanjabi.

Dr. Robert Kalyesubula ow’e Mulago ye yamujjanjaba era nga waliwo n’omulwadde omulala William Kabuye 17, naye eyali atawaanyizibwa ensigo.

Oluvannyuma omusawo yatutegeeza ng’ensigo za mwannyinaze bwe zaali zinafuye nga yeetaaga endala. Nneewaayo mmuwe emu ku nsigo zange mwannyinaze awone.

Kyokka tuba tukyanoonya ssente z'okugenda e Buyindi, obulwadde ne bunyiikira n'afa nga tetugenze Buyindi.

Mu July wa 2014 nga wayise emyezi esatu nga tumaze okuziika, Dr. Kalyesubula yankubira essimu n'antegeeza nti, nga bwe nnali nsazeewo okuyamba mwannyinaze okumuwa ensigo, nzikirize nnyambe omuvubuka Willy Kabuye kuba naye ensigo ze zaali zinafuye.

Yantegeeza nti, ennamba yange ey’essimu yali agiwadde aba Watoto nga bagenda kunkubirako.

 

Enkeera Dr. Chris Kagenda yankubira essimu ne mmusisinkana ng’ali ne Gladys Kasirye ne Fred Niyonzima aba Watoto.

Bansaba nnyambe Kabuye mmuwe ensigo nga bwe nali nsazeewo okukola ku mwannyinaze. Nabategeeza nti, nnina obuvunaanyizibwa omuli okunoonya ssente z'okumpeerera ku yunivasite n'okulabirira baganda bange.

Abakungu ba Watoto bahhumya nga bwe baali bagenda okunsasulira ssente za yunivasite, okulabirira maama ne bato bange.

Bankakasa nga bwe baali bagenda okunzijanjaba okumala emyaka n’okunzijanjaba obulwadde bwonna obunaava ku kunzigyamu ensi yange.

Nakkiriza okubawa ensigo era eby'okugenda kwange e Buyindi okunongoosa nabikuuma nga bya kyama.

TUSITULA OKUGENDA E BUYINDI:

Nga December 26, 2014 twasitula okugenda e Buyindi era twatuukira mu ddwaaliro lya Apollo Hospital gye baali ab'okutulongooseza ne Kabuye.

Nga tetunnasitula nasooka kubasaba bansasuleko ku ssente nzirekere maama ne bantegeeza nga bwe zaali zikolwako era nga zonna ndi wa kuzifuna omulundi gumu.

E Buyindi, Polof. Sandeep Guleira eyali agenda okutulongoosa yatukebera n'agaana okutulongoosa nti tetuli baaluganda.

Grace Nabirye, omukozi wa Watoto gwe twali tutambudde naye yakubira bakama be essimu mu Uganda n'abategeeza ku byali biguddewo.

Baagezaako okufuna abasawo abalala okutulongoosa, kyokka nga bonna bagaana kasita baatukeberanga nga tetuli baaluganda.

Twamala emyezi esatu nga bakyanoonya omusawo w'okutulongoosa nga tusula ku katanda kamu.

Bwe nalaba nga tebikyategeerekeka, nasalawo okubategeeza nga bwe nali mbivuddemu eby'okunongoosa.

Dr. Kagenda yasisnziira mu Uganda n'akuba essimu n'antegeeza nga bwe batali ba kuzannyirwako nga yatuuka n'okung'amba nga bwe baali bajja okundeka ku mawanga singa ng'ana.

Lumu waliwo omusajja ayitibwa Amjad Syed yajja n'atutegeeza nga Polof. Sandeep bwe yali akkirizza okutulongoosa.

Baatutwala mu ssaza ly’e Kanatarka e Bangalore mu kalwaliro ka Lalitha Health Cares. Bwe twatuuka eno Polofeesa gwe baatugamba nga taliiwo ne mbigaana.

Omuwala yanva emabega n'ankuba empiso ku mugongo era waayita akaseera katono ne nneebaka.

Nagenda okudda engulu nga bamaze okunnongoosa era nga ndi mu bulumi buyitirivu.

Oluvannyuma lwe nnaku ssatu baatugoba mu ddwaliro ne batutegeeza nti, ssente za Watoto ze baali basasudde zaali ziweddeyo.

Mu kiseera ekyo nali mmaze emyezi ena e Buyindi.

NKOMAWO MU UGANDA

Nakomezebwawo mu Uganda nga April 9, 2015 era nga ku kisaawe Ntebe nasanga abakungu ba Watoto bannindiridde.

Bannyaniriza ne tujja e Kampala ne bampa entambula entuusa ewa kojja Vicent Kigozi e Nangabo.

Oluvannyuma lwa wiiki emu, aba Watoto bankima e Nangabo nebantwala ku kabaga okunneebaza okubawa ensigo. Baatukwata ku butambi ne Kabuye eyali omulwadde.

 

Kyokka ne ku luno nnali nsuubira okumpa ssente zange naye tebampa. Kyokka waliwo bapaasita abampa obukadde munaana ku lwabwe okunneebaza.

Wabula obulumi bwagaana okuwona ne hhenda mu Case Hosipital Dr. Nyanzi n’ankebera n'azuula nga bandekamu ppamba ne wuzi munda.

Yantegeeza nti, bannongoosa bubi nga balina okunziramu. Nategeeza aba Watoto ne banseza luti tebannyamba.

Natandika okusannyalala mu ku ludda we baggya ensigo. Dr. Kagenda owa Watoto yantegeeza nti tebaalina ssente za kunzijanjaba, kuba okutulongoosa kyali kibatutteko ssente nnyingi.

Yantegeeza nti okuwaayo ensigo nkitwale nti nali nnyamba buyambi Kabuye. Njagala waakiri aba Watoto banfunire ekyokukola, kuba nsula ne maama omuto naye ndaba muzimbiridde." Katamba bwe yanyonnyodde.

MAAMA AYAGALA BAMUJJANJABE

Sylvia Nalubombe nnyina wa Katamba omuto amulabirira agamba nti, mutabani we akyalemeddwa okufuna obujjanjabi obutuufu.

Yagambye nti waliwo omuntu eyamukubirako essimu n'amutegeeza nti wa Watoto, kyokka olunaku lwe yamusuubiza okujja teyalabikako.

OMUSAWO ANYONYODDE

Dr. Vianney Kweyamba owa Case Hospital mu Kampala eyaddamu okulongoosa Katamba yategeezezza nti, Katamba yagenda mu ddwaaliro ng'alina obulumi oluvannyuma lw’okulongoosebwa e Buyindi.

Yamulongoosa mu nkovu obulumi ne bukendeera, kyokka n'amuwa amagezi okufuna obujjanjabi obulala.

Yagambye nti obulumi bwe kika kino busobola okutwala ekiseera ekiwerako kyokka ng'omulwadde abeera alina okumira eddagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...