TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Ekkanisa ye yatereka Nnamulondo nga Muteesa awaηηangusiddwa'

'Ekkanisa ye yatereka Nnamulondo nga Muteesa awaηηangusiddwa'

Added 26th April 2016

Rev. Can. Musiwuufu agamba nti Kabaka bwe yagenda mu buwaηηangusse, ekkanisa ye yakuuma Nnamulondo, entebe y’Obwakabaka.

 Canon Musiwuufu

Canon Musiwuufu

 

REV. Can. Augustine Musiwuufu Magala yaliko Ssaabadinkoni w’e Kazo. Bw’ati bw’ajjukira ebyaliwo mu kulumba Olubiri mu 1966:

Obote we yalumbira Olubiri nali nsoma P.5 ewaffe e Nsangi. We twakulira ng’okwagala Kabaka kutuli mu musaayi. Twakula tukimanyi nti Kabaka takwatwako naye bwe twawulira nti amagye galumbye Olubiri ffenna twafuna ekikangabwa, Obuganda bwannyogoga nga buli muntu ali mu nnyiike etelojjeka.

Okumanya Abaganda baakyawa Obote olw’okulumbagana Obwakabaka, n’enkuba y’enviiri ze twagikyawa. Abaganda bangi abaali mu Lubiri battibwa n’abaana baabwe era kino kyakosa nnyo Obuganda.

Twamala ebbanga nga tuli mu kiyongobero, Kabaka nga tetumanyi bimukwatako abamu nga batugamba nti yattibwa naye era nga tetukikkiriza bulungi.

Tugenda okuddamu okulaba ku mawulire nti ali Bungereza nga n’ebifaananyi tubiraba, kino kyatuzzaamu amaanyi n’okutugumya.

Twatandika okufuna amawulire agakwata ku Mutanda nti alina emirimu gy’akola e Bungereza egy’okulabirira abakadde, na kino kyatuwa amaanyi n’essuubi kuba yali atulaze n’ekyokukola nti Abaganda tulina okukola ennyo yadde yali ku mawanga.

Abantu abaagenda okumulabako mu buwaηηanguse yali Kalidinaali Emmanuel Nsubuga, Misaeri Kawuma ne mukyala we wabula Bakawuma baali babeera Bungereza ebiseera ebyo.

Obote we yalumbira Olubiri, Ssaabalabirizi yali Eric Saabiti. Ono yajja e Namirembe okusaba, abakebezi b’ekkanisa ne bamuggalira wabweru, ne bamugaana okuyingira ekkanisa okusaba kubanga yali talina ky’akozeewo ng’omukulembeze w’Abakulisitaayo ku kulumbibwa Olubiri era yakoma awo n’adda ewuwe mu maka g’Obwassaabalabirizi.

OKUKUUMA KWA NNAMULONDO

Rev. Can. Musiwuufu agamba nti Kabaka bwe yagenda mu buwaηηangusse, ekkanisa ye yakuuma Nnamulondo, entebe y’Obwakabaka. Omulabirizi Misaeri Kawuma ye yakuuma Nnamulondo eyo.

Kabaka bwe yawaηηangusibwa yali akyali Bungereza ng’asoma. Bwe yakomawo wano, Nnamulondo n’agiggya gye yali ekwekweddwa n’agitereka mu nnyumba y’omulabirizi.

Ekyewuunyisa naffe abaali babeera awaka tewali yali amanyi nti Nnamulondo eri awo! Yakola bookisi n’atuuzaamu Nnamulondo, kale ffe twagiyitangako nga tetumanyi kirimu!

Twakimanya jjuuzi ng’Omulangira Mutebi agenda okutuuzibwa mu 1993. Ekyamukozesa ekyo basajja ba Obote baaginoonya nnyo nga baagala okugyokya, kale nga talina muntu gw’ayinza kwesiga kubbirako kyama kino.

Naye ekirungi mu byonna Abaganda baasigaza essuubi wadde Kabaka yali mu buwaηηanguse, ne bwe yazaama mu 1969.

Kuba enjole ya Muteesa bwe yakomezebwawo mu 1972, wadde nnali Kenya nalaba ku mawulire ennyiriri z’abantu abaasimba okumukubako eriiso evvannyuma nnene bulala.

Essuubi lya Kabaka lyeyoleka ne bwe baatambuzanga Omulangira Mutebi mu masinzizo ag’enjawulo nga tannatikkirwa. Ng’olaba abantu bamuyaayaanira, bamwagala, bamulinamu essuubi.

Eyaliyo mu Lubiri nga lulumbibwa oba eyali mu Kampala kuba 0752628931 otuwe emboozi yo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...