
Dan Kamaanyi ng’anyumya ebyaliwo mu Lubiri mu 1966.
DANIEL Kamaanyi yali muvubuka wa myaka 29 mu 1966. Ye yavuga Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu mmotoka ye okuva mu Ndeeba okumutuusa e Lubaga ng’atolose mu Lubiri.
Mutabani w’eyali minisita w’eby’obugagga eby’omu ttaka mu Gavumenti ya Buganda ku mulembe gwa Ssekabbaka Muteesa, Ephraim Kamaanyi.
Mutuuze w’e Lungujja mu Makamba Zooni era emboozi y’okulumba Olubiri aginyumya bwati:
We baalumbira Olubiri nalina emyaka 29, nga nkola mu kkampuni ensunsuzi y’emmwaanyi eya Shlutr eyali esangibwa mu Industrial Area.
Okuva edda Obuganda bwabanga bumu mu buli kye bwakolanga, era ekibiina kya UNC ekyatandikibwawo Ignatius Kangavve Musaazi kyali mabega w’okulwanirira obwetwaze bwa Buganda okuva ku bafuzi b’amatwale.
Obubonero bw’okulumba Olubiri bwali buludde nga bweyoleka naye olunaku olwo olwa May 24, Obote lwe yalumbira ddala tewali yali akisuubira.
Mba ndi eka eyo nga bukya ne mpulira amasasi, ne nzuukusa maama ne nkwata emmundu yange ne nfulumya emmotoka yange ne mmugamba nti njolekedde.
Mu kiseera kino taata yali mu Amerika era nasibira ku Lubiri oludda lw’omu Ndeeba nga nneegattiddwaako omuvubuka omulala Augustine Mukasa.
Eηηoma Buganda Bumu, Ssaabasajja gye yatongoza okuzza omwoyo gw’obwasseruganda.
Muteesa yali n’abakuumi be George Maalo ne Katende, era we twabagwirako ne tubatwala okutuuka e Lubaga ku kigo gye twatuuka ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi.
Ewa Kalidinali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga gye yava enkeera n’adda mu maka ga nnyina eyali afumbiddwa Rev. Kigozi.
Emmere n’eddagala ery’okutambula nalyo ffe twaligula era nga ndi ne Mukasa twasala amagezi okufuna emmotoka etemanyiddwa nnyo era ye kwe kuηηamba tugendeko ewa Walusimbi Mpanga.
Wabula bwe twatuukayo yatusaasira naye tetwamubuulira gye tutwala mmotoka era naye teyatubuuza n’agituwa buwi.
Eno gye twatwaliramu Muteesa okuva ewa Rev. Kigozi ne twolekera Ssentema, naye n’avaamu n’abakuumi be nga tetunnatuuka Ssentema ne bayitira mu bukubo obw’obuwunjuwunju.”
‘Nagezaako okubonereza Obote okulumba Olubiri’
Kamaanyi agamba nti ng’Olubiri terunnalumbibwa ekintu ekyavaako ebizibu ebingi mu Buganda ne Uganda, Abaganda baalina obumu obutagambika.
“Naye Obote bwe yalumba Olubiri lwe namanya nti twalina abantu bangi abalinga emisege mu ddiba ly’endiga.
Mu nnaku ntono baali bazzeeyo dda ku mirimu mu Kampala. Wadde Buganda yali federo, nga yeemalira ensonga zaayo naye era mwabangamu ab’enkwe nga bwe kiri ne kati.
Bano baakola kinene okulaba nga Buganda esaanawo. Abaganda edda baafangayo nnyo ku mpisa z’abaana ng’omwana wa buli omu era nga bw’asobya abonerezebwa omuntu omukulu abaawo, kyokka bino byonna tebikyaliwo.
Abaganda abali mu Bungereza baakuηηaaniranga ku Muteesa House mu kibuga London buli mwaka okulaga obumu bwabwe, byonna byasaanawo.
Luli ng’okudduukirira enduulu ku kyalo kyabanga kya tteeka, bwe wasigalanga mu buliri ng’enduulu evuze ng’ekyalo kikucoomera nnyo, era oluusi ng’ofuna n’ekibonerezo.
Naye kati omuntu akuyitako ng’ababbi bakukuba akatayimbwa oba n’okuba enduulu n’ayongera kunyweza luggi lwe!
Bingi ebikyuse ebiraga obumu bw’Abaganda obwasereba.
Lwaki bakujjukiza bujjukiza okugogola oluzzi oba okulima ekituli ku luguudo oluyita ewuwo?
Luli ng’omuntu omuwa ebbaluwa n’agituusa bulungi ewa nnyiniyo nga tagisumuludde, kati tomanya oba eneetuuka!
Ku nnaku enkulu, abatuuze ku kyalo nga bayinza okwesonda ne bagula ente ne bagitta ne bagabana ennyama buli omu n’afuna; naye olaba bameka ennaku zino afuna ekintu n’awaako muliraanwa we?
Nga Ssaabasajja amaze okutoloka, twagezaako okubonereza Obote nga tumukuba amasasi e Bugoloobi okumpi ne wooteeri ya Silver Springs, kyokka gaakwatamu mulala!
Nakwatibwa ne bansiba mayisa, Idi Amin ye yamponya bwe yansumulula mu 1972 ng’agenda okuzza enjole ya Ssekabaka Muteesa nange ne nsobola okumukungubagirako!”
Emu ku ngeri abalabe ba Buganda gye baakozesanga okwawulayawula mu Baganda kwe kusaasaanya amawulire nti ‘Abaganda ba nkwe!’.
“Kino kyakolebwanga okutemaatema mu Baganda, okubakyayisa n’okulaga nti bw’onookolagana ne Muganda munno waliwo ekijja okukutuukako.
Edward Lwanyaaga, 75, ow’e Kammengo mu Mawokota agamba nti yali muzimbi ku kasozi Bukoto we baalumbira Olubiri mu 1966:
Nnasulanga wa Paulo Kayi naye ekiro ky’olunaku olwo tetwebaka, anti emmundu yasula etokota. Enkeera ng’olengera omukka e Kampala, ffenna twali mu kutya n’okwennyamira.
Bingi bye twafiirwa, naye ekirungi nti Abaganda bategedde era bagezaako okwezimba mu ngeri yaabwe.”
Ssaabagabo w’eggombolola y’e Nsangi, Vincent Kayongo agamba nti obumu n’obwasseruganda edda bwatandikiranga mu maka, mu kika, ku kyalo ng’abantu babeera n’enkolagana ennungi.
“Abakyala baabanga n’ebibiina bya Munno mu kabi nga bidduukirira abantu ku mikolo egy’essanyu ne mu nnaku mu bintu ebikozesebwa ng’emmere, enku n’okubakwatizaako emirimu era nga tewali yeeganya.
Omuntu bwe yakyazanga abagenyi nga talina mmere banne baamudduukiriranga, oluusi ng’ayinza n’okubayita ne bamwaniririzaako ku bagenyi be.
Ng’omuntu bw’atta enkoko n’agirya ku muliraanwa we oyinza okumwewuunya kubanga enkoko eno yatakuliranga ku muliraano ekitegeeza nti buli omu yalina okugirabirira.
Bino byonna byakuumanga obumu mu bantu baffe. Luli ng’oyinza okulambula munno n’omalayo omwezi; kale emmere yabangawo nga n’eby’okukola si bingi nnyo, naye lwaki ne kaakati omuntu akulabako essaawa ebbiri omwekaanya!
Omuganda bwe yayiisanga omwenge yagabulanga ekyalo, ne bwe gwabanga gwa kutunda ng’aggyako ekidomola ky’abantu abaamuyambangako, kati ne muliraanwa omuyitako kkuutwe.”
Omumbejja Nnaalongo Grace Nnaabakaabya ow’e Kyengera agamba nti ebibiina byobufuzi bikoze kinene okwawula abantu.
“Abaana tebaayenjeeranga nnyo, ate nga buli w’agenda waliwo ‘muzadde we’ amulondoola. Nga basomera mu masomero ga ddiini, kati n’omusomesa tekimukwasa nsonyi kukabawaza mwana gw’omuwadde. Kale obumu bunaabaawo butya?,” bw’abuuza.
Hannington Kyobe ow’e Buddo agamba nti okukuza ennaku enkulu mu Buganda yabanga emu ku ngeri y’okukuuma obumu n’obwasseruganda. “Abantu baakuηηaananga ne bafumba ekijjulo eky’awamu.
Okulimira awamu nakyo kyakolebwanga, ng’amaka ng’asatu geegatta ne gasooka galima ewa gundi, ne gadda ew’omulala. Bino byonna byakuumanga obumu. OMWAMI W’OMULUKA Ono ye yabeeranga omukulembeze w’oku ntikko mu kitundu, nga y’abeera n’ennyumba esinga obunene.
Ekyabazimbisanga ennyumba ennene kyali nti edda abantu abaatambulanga eηηendo empanvu baawummuliranga wa mwami wa kyalo. Akantu ako okalaba ng’akatono naye kaakuumanga obumu, omanya nti gy’ogenze tojja kufa njala.
Ekitawuluzi
Ekitawuluzi kye kifo ekyabeeranga ku buli muluka omwami w’ekyalo we yatuuzanga enkiiko ez’okutawulula enkaayana ku kyalo. Okwawukanako n’omulembe guno, mu biseera ebyo ekitawuluzi kyabeeranga kizimbe bulungi naye abantu bwe bajja beesenza mu Buganda, ebitawuluzi byamenyebwa ate ebimu byagwa olw’obutafiibwako.
Amakulu agaabanga mu kuzimba ekitawuluzi gaali ga kyalo kumala nsonga zaakyo naye ennaku zino ogwo omukisa teguliiwo, gwe basobezza addukira ku poliisi, gye biggweera nga bali mu kkooti.
EKIKOLEBWA OKUZZA OBUMU
Minisita omubeezi owa gavumenti ezeebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki agamba nti ebika byakuumanga obumu bw’Abaganda. “Enkiiko z’ebika zaafangayo okukumaakuma abazzukulu. Kati tukubiriza ebika okuzza obumu obwo nga biyita enkiiko mu biseera ebigere. Bwe zinaafuulibwa ez’enkulaakulana obumu mu byo bujja kudda mangu.
Ebyemizannyo okuviira ddala ku mipiira gy’ebika n’egy’amasaza tebitandiise kati, byaliwo kuva dda lwa kukuuma bumu n’okugatta abantu ba Ssaabasajja.
Kye twagala kati be baamasaza n’abakulu b’ebika okutwala ebyemizannyo ng’ekikulu kuba birina omulimu gwe bitukolamu. Ssaabasajja olw’okuba alaba nti obumu mu bantu ba Buganda bwetaagisa ye mulokozi waffe, kye kyamuteesaawo eηηoma Buganda Bumu, okujjukizanga abantu ba Buganda nti obumu bwe bujja okutukulaakulanya,” bwe yagambye.