TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Nakweka Ssekabaka Muteesa ennaku 21 be ddu'

'Nakweka Ssekabaka Muteesa ennaku 21 be ddu'

Added 2nd May 2016

Emmotoka eyaleeta Muteesa yaayimirira ku mulyango gw'ennyumba yange emmanju, Kitayimbwa n’avaamu n’antegeeza nti abantu be yali ambuuliddeko okukweka ewange bazze nti wabula si mulala naye Kabaka Muteesa.

 Angelina Nabakooza

Angelina Nabakooza

OKULUMBA olubiri lwa Kabaka mu May wa 1966 kyazza nnyo Buganda mu byenfuna. Wabula gavumenti ya Ssaabasajja ebakanye ne kaweefube w’okutumbula ebyobulimi mu maka nga HERBERT MUSOKE ne VIVIEN NAKITENDE bwe bannyonnyola ANGELINA Nabakooza ye mukyala eyamira ppini ng'enjogera y'ennaku zino bw’eri n’akweka Ssekaba Sir. Edward Muteesa e Lugusuulu ng’ayiggibwa basajja ba Obote mu 1966 okumumiza omusu.

Agamba okukweka Muteesa yaalina essanyu eritagambika era yakiraba ng'omukisa okukweka omuntu ow'ekitiibwa.

Abinyumya bwati: Muteesa we yaleeterwa mu maka gange nzijukira kaali kawungeezi. Eyali Muteesa (ow'essaza ly'e Mawogola) Mw. Kitayimbwa ye yamuleeta ng'antegeezezza nti ayagala kukwekawo muganda we era ssaasooka kutegeera nti aleeta Muteesa kuba nnali mmanyi nti yali attiddwa mu Lubiri.

Bwe nalaba emmotoka nga zikyamye ewange nasooka kutya kuba obudde bwali bwa bwerende ne ndowooza oba nziruke nga mmanyi bazze kututta naye nasalawo ne nguma.

Emmotoka eyaleeta Muteesa yaayimirira ku mulyango gw'ennyumba yange emmanju, Kitayimbwa n’avaamu n’antegeeza nti abantu be yali ambuuliddeko okukweka ewange bazze nti wabula si mulala naye Kabaka Muteesa.

Ssaabasajja lwe yaggulawo kaweefube w’okusimba ebibala mu maka e Butambala gye buvuddeko. Ggwe osimbyeyo emiti gy’ebibala emeka?

 

Nasooka kukaaba olw’essanyu kuba nnali ndowooza nti Omutanda yali attiddwa. Muteesa yava mu mmotoka ne tumuyingiza mu nnyumba munda, ennyumba yange kwaliko akaduuka ng'abantu bajja okugulawo ebintu, twasalawo mutabani wange ave mu nnyumba ye ey'ebisenge ebibiri mwe tuba tusuza Muteesa kubanga mu nnyumba yange abantu baalinga bajjawo nnyo okugula ebintu.

Nnali nfumbye ebbinika ya caayi w’amata ya bikopo 22 ng'ejjudde, nayanguwa ne ntabulira Omutanda caayi ne be yali nabo ne banywa naye yalabika nga mukoowu.

Ennaku 21 Omutanda ze yamala ewange teyanywako ku caayi mukalu, namufumbiranga mata ate nga mulimu ne ssukaali .

Olw'okutya okwaliwo, nalina akabira wansi ku kibanja kyange twakasaawa ne twaliirayo essubi ne tuteekayo emifaliso, eyo gye yasiibanga okwewala abantu okumulaba, ng'awaka akomawo buwungedde kwebaka.

MUTEESA AMPA ERINNYA LYA NNAALONGO

Wadde sizaalanga ku balongo naye Muteesa yampa ekitiibwa kya Nnaalongo olw'okumulabirira obulungi .

Olumu yaηηamba nti nfuuse Nnaalongo wa Buganda era ndyenyumirizaamu nnyo era bwe yali addusibwa mu Uganda yantegeeza nti, "Maama nsaasira, bwe ndiba nkomyewo nga nkyali mulamu nga naawe w’oli ndikomawo wano ne nsimba omuti Omuvule!"

Naye kyannaku kawenkene Obote yamulumba e Bungereza gye yali ate n’amuttirayo ng'omuvule takomyewo kugusimba!

BANSIBA

Nga Muteesa bamaze okumutolosa okugenda e Bungereza waliwo abaatuloopa nti twamukweka.

Nnali waka abaserikale ne bajja ne bankwata ne bantulugunya nnyo, ne bantwala e Kampala eyo gye ssaategeera nga banvunaana okukweka Muteesa naye nabyegaana era bansibayo ebbanga ttono ne banta.

Baze omugenzi Simon Muliisamaanyi yali wa muluka gw’e Ssaabawaabi kale Muteesa buli bwe yajjanga eno okuyigga ng'abeera ne baze nga bayigga bonna era ng'ensolo ze battanga nga nze mbafumbira.

Baali ba mukwano ne baze, kale twali twalabaganako dda naye baze yafa mu 1957. Neebaza nnyo Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II obutanneerabira, yanzijukira olw'okukweka kitaawe n’anzimbira ennyumba ey'omulembe mu 2009 mwe nsula kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.