TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Nnakuba amayinja abajaasi ba Obote abaalumba Olubiri'

'Nnakuba amayinja abajaasi ba Obote abaalumba Olubiri'

Added 9th May 2016

Wakati wa Ssaawa 8:00 ne 9:00 ebibinja by’abaserikale byeyongera okujja nga bava ku ludda lw’e Lubaga ne bayitira ku Kabakanjagala nga boolekera Wankaaki.

 Can. Kasujja yakasukira basajja ba Obote amayinja.

Can. Kasujja yakasukira basajja ba Obote amayinja.

OBOTE okulumba Olubiri mu May wa 1966 kyakosa ebintu bingi mu Buganda. Leero nga tutandise wiiki eraga engeri okulumba Olubiri gye kwakosaamu ebyobuwangwa mu Buganda, ROGERS KIBIRIGE ne BENJAMIN SSEBAGGALA batuukiridde Can. Samuel Kasujja n’ayogera bye yalaba mu 1966.

 “Ebyaliwo nga May 23 ne May 24, 1966 bingi abaabiraba tebaafuna mwagaanya kubinyumya ne bafa nga balina amabwa ku mitima gyabwe.” Bwatyo Rev. Can. Samuel Kasujja, bwe yannyanirizza mu maka ge e Kazo ng’atandika okutunyumiza bye yalaba ku lunaku lwa May 23, 1966 ng’abajaasi ba Obote n’aba Special Forces batugumbula abantu abaali bagenze okulwanirira Kabaka mu Lubiri e Mmengo.

“Olunaku olwo lwakya tuli waffe mu kyalo Namutuya, owetera Nakirebe ku mayiro 16 ku luguudo lw’e Masaka n’okwata eridda e Nsujjumpolwe.

Jjajjange Yeremiah Serunkuuma yalina loole, ku makya yategeeza taata nti omulenzi oyo amperekereko. Bwe tutyo ne tulinnya loole okwolekera Kampala, twasibira Kibuli ne tusanga abantu nga bali mu bukuukuulu.

jajja kwe kugendayo n’ababuuza ogubadde ne bamutegeeza nti Olubiri balulumbye. Bwe yakomawo mu mmotoka n’antegeeza nti: Muganda wange tetuyinza kweyongerayo kugenda ku mirimu nga Kabaka bamulumbye, tugende ku Lubiri tulabe ogubadde.

Jjajja yali muserikale, bano abaazirwanako era yavuga mmotoka ne twolekera Olubiri. Twatuuka abantu waliwo batono naye waayitawo akaseera katono ne ndaba emmotoka nga zireeta abasajja abambadde ebyambalo by’abaserikale abaazirwanako nga basibye ne Patirisi.

Wakati wa Ssaawa 8:00 ne 9:00 ebibinja by’abaserikale byeyongera okujja nga bava ku ludda lw’e Lubaga ne bayitira ku Kabakanjagala nga boolekera Wankaaki.

Jajja yayongera okuwera nti yali tayinza kudda waka nga balumbye Kabaka. Byansobera ne ntunuulira Jjajja nga bagenda okumutta! Nali mulenzi ng’ebigenda mu maaso mbiraba, abaserikale baakuba amasasi mu bbanga abantu ne bongera okwegugunga.

Ku Lubiri waaliwo entuumu z’amayinja abantu ne batandika okugakasuukirira abajaasi. Baagakasukanga bawera nti oba olutalo lutandika lutandike, baali badduka Jjajja n’ababoggolera nti: Mudduka buddusi nga Kabaka bamulumbye? Buli muntu akwate ejjinja.

Neegatta ku bakasuka amayinja ne tufukirira abaserikale amayinja nga gagendera kumukumu. Nali sirabanga ku muntu akubiddwa ssasi, naye bw’obala abantu babiri okuva we nnali nnyimiridde, omusajja owookusatu baamukuba essasi mu mukono waggulu w’ekiseke eggumba ne libetenteka!

Twagwa wansi ne tutandika okwevulungula, bwe nasituka okudduka okudda gye twalese emmotoka ne ndaba omusajja agudde wansi ng’aba Special Forces bamusottasotta wabula ssaamanya oba yali afudde ne neeyongerayo ku mmotoka.

Oluggi bwe lwannema okuggula ne nnyingira wansi mu mipiira! Nga neekukumye nalengera Jjajja ng’ali mu kibinja ekyali kyolekera aba Special Forces, emmotoka Combi yajja ng’eva wansi ku Kabakanjagala.

Yayimirira mu maaso g’Olubiri ng’erimu Katikkiro Mayanja Nkangi, abantu ne bamuvuma nga bamulagiriza ebigambo nti, ‘Mutuliddemu olukwe, mutuwe emmundu tukube omusajja!’ Nkangi yakubiriza abantu babeere bakkakkamu, yeeyongerayo n’ayingira Olubiri ng’ayitira ku mulyango oguli ku ludda lw’essomero ng’eno ebweru mmotoka zireeta abantu naddala abaazirwanako.

Nkangi olwakomawo n’ategeeza abantu mu bukkakkamu nti Ssaabasajja agambye buli muntu adde ewuwe, muleme kufi ira bwereere.

Abaserikale baali tebakyakuba masasi, Jjajja yali yamboggoledde dda nga sikyamunyega wabula yakomawo ku mmotoka n’aηηamba nti, ‘Muganda wange yingira mmotoka tuve wano, ono omusajja azze kutujooga ne Nkangi atuliddemu olukwe!’

Yansanga nkankana n’abuuza nti, ‘Mugandawange bw’otyo bw’onoolwanirira ensi?’ Yali asimbula ne bamuyimiriza nga bamugamba okugenda anone abalwanyi n’abaanukula nti ssinga sibadde na mwana ono sandizzeeyo naye bakadde be ssaababuulidde, bo tebamanyi bimuliko.

Yagenda atolotooma naye nga buli gwe tuyitako amutegeeza nti Obote atulumbye naye bw’ogoba musajja munno olekamu ezinaakuzzaayo.

Twatuuka eka ng’abantu bajjudde awaka, nga taata amanyi nti ffe batusse ne Kabaka ne ntandika okubanyumiza.

Kw’olwo tetwalya kyaggulo n’enkeera tewaali kyamisana kyokka nga tuwulira emmundu evuga.

Olunaku lwali luzibu kyokka ku ssaawa nga 8:00 enkuba yatonnya nnyingi ne Kabaka Muteesa yagyogerako mu kitabo kye ng’agamba nti yasabanga Mukama amutaase aleme kufi ira awo era agamba nti mu nkuba we yafulumira Olubiri.

Nsaba Bukedde agende mu maaso Buganda etunule gy’evudde tumanye gye tugenda. Abaana ba Yisirayiri basoosowaza nnyo eky’okutendeka abaana baabwe buli azaalibwa amanye omuwendo gw’eggwanga lye.

Naffe ekyo tulina okukitwala mu maaso Katikkiro Mayiga nga bw’atugamba okuzza Buganda ku ntikko nsaba tusokooleyo omuwendo gwaffe gwe twalina, omwana akule ng’akimanyi nti Muganda. Abakyala nga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu