
Nakitto yasazeeko enviiri ze ezibadde zifuuse ekitalo.
Safiya Nakitto Kiweweesi, omutuuze w’e Katooke mu Nabweru yazaalibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa.
Ebyaliwo ku kulumba Olubiri n’ebyaddako abinyumya bwati: Obote bwe yali tannalumba Lubiri, lwalina amateeka gaalwo ng’omukazi abeera mu Lubiri bw’atuuka okugenda mu nsonga yawalirizibwanga okusooka okulufuluma n’adda wabweru.
Obote we yalumbira Olubiri nali nnaakamala okusiba enviiri zange ebituttwa era olwafuna amawulire ag’ennaku nga Kabaka Muteesa II bw’awahhanguse, okuva olwo saddamu kusalako nviiri zange.
Wadde nali muwala mu kiseera ekyo kyokka ntuuse kukaddiwa nga nnina enviiri zange nninda Muteesa akomewo ndyoke nzisaleko.
Ekyennaku enviiri zange sisobodde kuweza nazo myaka 50 nga Buganda ejjukira olunaku luno olw’ebyafaayo olw’abantu abaazinsalako obulwadde bwe bwannumba omwaka oguwedde!
Okumanya twekalakaasa n’abasajja okusala ebirevu baakuvaako ne bitandika okubasaakaatira nga kw’otadde n’obutasalako nviiri.
Ekyakkakkanya abamu ky’ekikolwa kya Amin eky’okuzza enjole ya Muteesa. Abamu ku Baganda abafaanana nga nze tetwakkiriza nti ddala y’enjole ye.
Obote yatwononera ensi yaffe, tunuulira abakazi ensangi zino bwe bambala ogeraageranya n’omulembe gwaffe we twayambaliranga ne tuggumira, ensi eyonooneka etya ng’abakulembeze balaba?
Abakazi abakulu n’abawala abavubuka tokyayawula kuba bonna bambala , obuwale obw’omunda bonna babuyisa wabweru, ebisambi n’amabeere tebakyabiwa kitiibwa!
Busuuti yaffe nayo ndaba batandise okugitungamu omusono ogutategeerekeka ogw’ekiteeteeyi kuba gomesi entuufu erina okubeerako omudalizo era ng’omukazi okugyambala alina okusooka okwambala engoye ez’omunda okuli akawale ak’omunda, akaleega amabeere, ppeti oba ekipumpuliya n’ekikooyi n’alyoka yeesiba n’ekitambaala n’aggumira.