TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okulumba Olubiri kwamala emyaka 2 nga kusuubirwa

Okulumba Olubiri kwamala emyaka 2 nga kusuubirwa

Added 17th May 2016

Amasaza bwe gaddayo e Bunyoro okukyawagana ne kujjawo wakati wa Kabaka Muteesa ne Milton Obote era tewali yaddamu kwogera na munne okutuusa bombi bwe baava mu bulamu bw’ensi eno.

 Muteesa II ng’assa omukono ku kiwandiiko ky’okufuuka Pulezidenti eyasooka.

Muteesa II ng’assa omukono ku kiwandiiko ky’okufuuka Pulezidenti eyasooka.

OBOTE okulumba Olubiri lw’e Mmengo nga May 24, 1966 kye kimu ku bintu ebyakosa Obuganda n’okutuusa kati. Nga wayise emyaka 50 bukya kikangabwa kino kigwawo, Bukedde azze akutuusaako emboozi eziraga engeri Buganda gye yakosebwamu.

Leero Omutaka w’e Kyaggwe, KAVUMA KAGGWA akulaga engeri kino bwe kyakyusa ebyobufuzi bya Uganda n’okutuusa kati:

Muteesa II n’omukulembeze wa Ethiopia Haile Selassie.

 

OKULUMBA Olubiri tekwakyusa byabufuzi bya Uganda budde obwo bwokka wabula kwaleeta embeera eriwo kati. Mu Bapulezidenti abakoledde Uganda, Ssekabaka Muteesa yali wa njawulo nnyo kuba nga Pulezidenti eyasookera ddala yakola byonna eggwanga kwe bitambulira anti yalwanirira obwetwaze bwa Uganda.

Yali Kabaka wa Buganda okuva mu 1939 okutuuka mu November 1969 bwe yakisa omukono ng’ali mu buwaηηanguse e Bungereza oluvannyuma lw’amagye ga Milton Obote okulumba Olubiri nga May 24, 1966 olw’obutategeeragana obwajjawo mu byobufuzi.

Obutategeeragana bwajja oluvannyuma lw’Amasaza Buyaga ne Bugangaizi okuddayo e Bunyoro mu 1964 nga kino kyaddirira akululu k’ekikungo akaakubwa.

Konstityusoni ya Uganda ey’okwefuga kwa Uganda eya 1962 bwe yakolebwa e London, kyakkirizibwa nti mu 1964 walibeerawo okukuba akalulu abantu b’omu Masaza ago basalewo oba basigala mu Buganda oba badda Bunyoro.

Akalulu bwe kaali kanaatera okutuuka, Kabaka Muteesa yakola ekisoboka Amasaza gasigale Buganda. Yatwala Abaganda abasukka mu kakadde, okukuba akalulu. Muteesa yateeka Olubiri mu kifo ekiyitibwa Ndayiga era kati ekifo ekyo kye kirimu amafuta ga Bunyoro agagenda okusimibwa.

Milton Obote, eyali Katikkiro bwe yakimanya, n’alangirira nti, “Abantu abo bokka amannya gaabwe agali ku lukalala lw’abalonzi be bokka abakkirizibwa okukuba akalulu k’ekikungo”. Olwokuba Mutesa teyalina buyinza ku Palamenti ya Uganda, teyasobola kumenyawo kiragiro kya Obote.

Kino kyafufuggaza pulaani ya Muteesa yonna era akalulu bwe kaakubwa Abanyoro abaali mu Masaza ago ne basalawo babeere kitundu kya Bunyoro Kitara. Kino kyalaga nti Milton Obote yava ku Baganda abaamuleeta mu buyinza mu 1962.

Amasaza bwe gaddayo e Bunyoro okukyawagana ne kujjawo wakati wa Kabaka Muteesa ne Milton Obote era tewali yaddamu kwogera na munne okutuusa bombi bwe baava mu bulamu bw’ensi eno.

Kavuma Kaggwa anyumya

 

AYINGIRA AMAGYE

Muteesa II ng’ali ku yunivasite ya Cambridge e London- Bungereza, yayingira mu magye ga Kkwiini wa Bungereza agayitibwa Grenadier Guards n’atendekebwa mu by’amagye era n’atuuka ku ddaala erya Colonel.

Okusoma eby’amagye kwamuyamba mu kulwanyisa amagye ga Obote bwe gaamulumba. Yalwanira essaawa musanvu mulamba era eggye eryayitibwanga, Special Force eryalimu abaserikale 2000 lyonna yalisesebbula n’alisaanyaawo.

Obukodyo bwe bafuna e Bungereza bwe bwamuyamba okuva mu Lubiri okutuuka e Bungereza.

EBYOBUFUZI BIKYUKA

Ssekabaka Muteesa bw’avaawo, Milton Obote yafuuka “nnyinimu w’atali ebikere bitemba enju” yeddiza obuyinza n’atwala Obwapulezidenti, n’aggyawo Obwakabaka ne Ssemateeka owa 1962 eyatuwa obwetwaze era eyali awadde Buganda enkola eya Federo.

Ababaka bapalamenti bangi aba Buganda, abaali ab’ekibiina kya Kabaka Yekka (KY) baasala eddiiro ne beegatta ku UPC. Obote yakakaatikawo Semateeka oyo asobole okweddiza obuyinza nga yeerangiridde nti ye Pulezidenti.

Ekiteeso bwe kyaleetebwa mu Palamenti buli mmemba okulayira n’okuyisa ekiteeso ekisemba Semateeka owa 1966 Obote gwe yali aleese.

Waaliwo Abasajja n’Abazaana ba Kabaka abaakigaana. Bano baakulemberwa Oweekitiibwa Amosi K. Sempa, Florence Lubega (Singo North West), W. Lukyamuzi (Masaka North), Y.K. Musiitwa (Central Mengo), P. Serumaga (Masaka South West) ne Mukyala Sugra Visram (Kampala City).

Buli eyayitibwanga okulayira ng’ayogerera waggulu nti, “Siyinza kusemba Ssemateeka oyo aggyawo Obwakabaka bwa Buganda era siyinza kwabulira Buganda ne Kabaka wange”. Bano baafuluma okuva mu Palamenti era olwali okutuuka ebweru ensi n’ensi ey’abantu n’ebawa emizira.

Muteesa bwe yaddukira e London Obote yalayira okumulondoola okumukolako obulabe amumalewo. Yateekawo ekitongole ekikessi ekyayitibwanga “General Service Unit” nga kikulirwa mugandawe Akena Adoko eyakyawa Abaganda n’akunakkuna.

Byali bibalemye naye ne bafuna omukisa nti omugenzi Oscar Kambona ow’e Tanzania yali naye addukidde e Bungereza, yakola akabaga k’amazaalibwa mu November wa 1969, n’ayita Muteesa II ne Banayuganda bangi abaabeeranga mu London. Mu bano mwe mwali n’omuwala Tatu Sekanyu eyali mmemba w’ekitongole ekikessi ekya GSU.

Omugenzi Paul Kavuma, eyali Katikkiro wa Buganda, bwe yakomawo okuva mu kuziika Ssekabaka okwasooka e London. Yantegeeza nti amawulire bwe gasaasaana mu Kampala nti Mutesa II akisizza omukono, yasalawo mangu nti ateekwa kuzikiibwa London okutuusa ensi lw’eritereera.

Yagamba nti yafuna amawulire agaamwesisiwaza ennyo nti Obote ne banne baali bategese enjole bagiyise mu ngeri embi ekyalinyiizizza ennyo Abaganda kiveemu n’okulwana n’abantu okuttibwa.

Muteesa mu biseera bye ebyeddembe

 

LWAKI YALUMBA OLUBIRI? 

Obote yalumba Olubiri olw’okuba ye yali kye tuyita Katikkiro wa Uganda asukkulumye era n’akozesa omukisa ogwo olw’okuba nti amagye mu biseera ebyo gaali gajjudde abantu abava mu bukiikakkono bwa Uganda. Obutategeeragana mu byobufuzi bwe bwajjawo Obote kwe kukuba Olubiri. 

Muteesa II yalondebwa Palamenti ku Bwapulezidenti eyasooka mu March wa 1963 nga kino kigoberera entegeeragana eyaliwo mu biseera ebyo ey’omukago wakati wa UPC ne Kabaka Yekka n’Olukiiko lwa Buganda. 

Ssekabaka Muteesa II yayagalibwa abantu bonna aba Uganda era yakola kinene okugatta Uganda. Bwe yali Pulezidenti yawaayo omusaala gwe eri abantu ba Karamoja era yabazimbira eddwaaliro e Moroto mu kibuga. 

Emabegako mu myaka egyasooka, Muteesa yalwanirira okwefuga kwa Uganda ne Kenya. Nzijukira okuva mu mwaka gwa 1956 okutuuka 1959, Kabaka Muteesa yatuwa obuwagizi bungi mu Uganda National Congress. 

Bwe twamalanga okukuba enkuηηaana z’ebyobufuzi mu Kampala mu “Muti gw’Eddembe”, kati awali ppaaka enkadde, ne tugenda mu Lubiri e Mmengo okumulaba. Yayogeranga gye tuli nga tukulembeddwa I.K. Musaazi eyali ssenkaggale wa UNC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....