TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nalaba akulira abakuumi ba Kabaka nga bamukuba essasi - Nagenda

Nalaba akulira abakuumi ba Kabaka nga bamukuba essasi - Nagenda

Added 20th May 2016

Wano ku Nnaalongo we nali ne wasigalawo abaserikale basatu. Katonda yambikkako obusubi, tebandaba. Bwe nva ku nfudu waliwo akagaali (wheel barrow) ke baali batadde ku kisenge, ne nninya ku bukono bwako ne nninnya ku kisenge ky’Olubiri.

 Omulangira Mutebi n’Omumbejja Kagere oluvannyuma lw’okulumba Olubiri.

Omulangira Mutebi n’Omumbejja Kagere oluvannyuma lw’okulumba Olubiri.

GIWEZE emyaka 50 bukya magye ga Obote galumba Olubiri lw’e Mmengo ekyataataaganya ebintu mu Buganda ne Uganda yonna. Kaawonawo w’olutalo lw’omu Lubiri, Eric Nagenda anyumya engeri gye yalusimattuka n’ebyaliwo byonna.

Eric Nagenda Ssenyambalambi (72) yayingira amagye ga Kabaka mu 1962 era mu kiseera kino akolera mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda ng’amyuka omukuumi we ow’oku lusegere ate avunaanyizibwa ku kutuula kwe.

Muzzukulu wa Gabunga ono y’omu ku bakaawonawo abakyasigaddewo abeenyigira mu lutalo lw’okulumba Olubiri nga May 24, 1966.

Anyumya engeri gye yayingira amagye okukuuma Kabaka ate n’ensiitaano eyamwawukanya naye bombi ne bafuluma Olubiri mu ngeri etaali nneetegekere!

“Okukuuma Kabaka baatulondanga okuva ku muluka ne bakusunsulamu okutuukira ddala ku ggombolola n’essaza okwetegereza ddala ani asaanidde.

Obuyigirize baali batwala bwa P6. Nze mu Lubiri najjamu mu 1962 era mu 1964 naliko ne Kabaka nga tusenza Abaganda e Ndaiga.

Ku olwo lwe baalumba Olubiri, abajaasi ba Obote baasooka kulumba Butikkiro ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo ne bakuba amasasi ne bagenda.

Nagenda ng’ali kumpi n’ezimu ku mmotoka z’omu Lubiri ezaakubibwa mu lutalo lwa 1966.

 

Akulira abaserikale ba Kabaka bwe yamala okutuwa ebifo byaffe nze ne nkwata ekibakuli mwe nateeka emmere ne ntambula nakyo okutuusa we nali ηηenda okukolera nga we nali ntegese okugiriira.

Mu lutalo luno twalina emmundu nnafu ddala ng’ate ennungi zaaliyo mu Twekobe mpozzi waaliwo ekigendererwa.

Zino zaali za bika bisatu; emu twali tugiyita Kyampaama- kaali katono nga kalimu amasasi 75.

Twalina ne 707, zino zaabeeranga za bakazi mu magye ga Buyindi, nga nnafu nnyo kuba yali terina ky’eyinza kukola ku mmundu nga AK47.

Waliwo emmundu gye baali bagamba nti yaliko amasannyalaze, nti osobola okugitega awantu n’ekuba ng’olowooza nti omulabe ali awo naye ng’ekyagiteekesaawo kwe kutaasa abo abaali bafuluma.

Emmundu eno yokka ey’omulembe eyali mu Lubiri naye nga tewali yali agikuba kyokka nga yasigalawo okukola omulimu ogwo.

Abajaasi bajja ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro ne bagwa kkava okwetooloola Olubiri.

Omuduumizi eyali aduumira ekibinja namulaba bulungi, bwe yatuukawo n’ayogera ekigambo kye saawulira, abajaasi bonna ne bagolokoka ne bawandagaza amasasi.

Awo omwoyo gwange ne guηηamba nti ‘Nagenda okola ki wano! Mbeera nkyalowooza, munnange Musoke (abeera Nakiragala- Buddo) n’aηηamba nti okola ki awo, abasajja tobawulira?

Nakwata emmundu yange kyokka ne nsooka nneekubira ku kisenge ky’Olubiri ku mulyango Nnaalongo we nali kubanga waaliwo enju y’essubi ng’okuliraana waliwo ekidiba ky’enfudu-oluvannyuma Mukama we yankuumira!

Bwe ntuuka waggulu, Patirisi yange n’esumulukuka, waliwo akasajja ka Obote akampita nti, jjangu tulabe ng’akozesa Oluganda olumenyefumenyefu. Naye teyali mutendeke bulungi kubanga Mukama waabwe ng’amaze okulagira bye yabagamba, yalinnya ku kaswa- akaali wabweru wa Nnaalongo ke twalyangako ennaka n’afuuka tageti ate ekirala n’adda mu kumpita!

Okuliraana awo waaliwo kalittunsi ayawula ebizimbe bya minisitule, patirisi bwe yagwa, omwoyo ne guηηamba nti kutama wansi ogironde.

Mba nkyakutamye mpozzi musajja wa Obote akubye essasi. Olwaliwulira nagwa bugwi, ssaakikola lwa magezi gange wabula Katonda ye yakikola!

Oluvannyuma nawulira obubalagaze, okwetegereza nga buganga. Nali nkyali kw’ekyo ηηenda okuwulira essasi eddala erivudde ku luuyi lwe lumu ne mpulira emmundu ng’egudde, ne mmanya nti oyo bamusse.

Okugenda okwetegereza yali mukama waffe Kibirige nga y’attiddwa.

Mu kiseera ekyo nayolekera ekidiba ky’enfudu awatali kutya naye siyinza kukugamba oba zaavaamu zitya, yali Katonda kubanga natuula mu mazzi ago wakati mu mmundu okutokota.

Emmundu yayongera okunyooka ku ssaawa 11 ez’oku makya nga tesirise, bwe ziwera ssaawa nnya ne wabeerawo omuduumizi eyagamba abaserikale be mu Luswayiri banguwe bagende ku Wankaaki.

Wano ku Nnaalongo we nali ne wasigalawo abaserikale basatu. Katonda yambikkako obusubi, tebandaba. Bwe nva ku nfudu waliwo akagaali (wheel barrow) ke baali batadde ku kisenge, ne nninya ku bukono bwako ne nninnya ku kisenge ky’Olubiri.

Emmundu nagireka awo ku kagaali. Oluvannyuma lw’okwetugga ku kisenge ky’Olubiri, nabuuka ne ngwa wansi, ne nsegulira Olubiri. Ekyannyamba abaserikale abasatu bali, tebandaba wabula ate omu ku baateekebwa ku Wankaaki ye yannengera n’aweereza ku masasi, naye nga nze ηηenze.

Ssaagala kukulimba nti nnamanya Kabaka Muteesa II we yayita kyokka oluvannyuma nga ffenna bwe tumanyi, teyali wala nange we nafulumira Olubiri.”

Ennaku zino, Kabaka akuumibwa magye ga UPDF agamuweebwa gavumenti eya wakati. Kyokka bonna abaserikale ba UPDF abakuuma Kabaka balina ebika byabwe.

Poliisi ya Buganda eyaliwo okutuuka mu 1966 tekyaliwo, naye era Kabaka alina abambowa b’atambula nabo naye bano tebalina mmundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...