TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Amagye ga Tanzania gaayambako mu kulumba Olubiri lw'e Mmengo'

'Amagye ga Tanzania gaayambako mu kulumba Olubiri lw'e Mmengo'

Added 23rd May 2016

Kyali kizibu okumanya oba nga Kabaka Muteesa amagye gaali gamusanzeemu mu Lubiri oba nedda, ku lunaku luno olwa May 24, 1966 amagye ga Tanzania agajja okuyamba ku ga Obote nago nagalabako nga gatambulira mu mmotoka zaago bwe gaali galawuna oluguudo lwa Kabakanjagala.

 Idi Amin (ku kkono) ng’abuuza ku Obote.

Idi Amin (ku kkono) ng’abuuza ku Obote.

Bya ROGERS KIBIRIGE

JOHN Lubanga (60), omutuuze w’e Kikonge mu ggombolola y’e Namungo e Mityana yalina emyaka 11 Obote we yalumbira Olubiri.

Byonna ebyaliwo abinyumya bwati: Obote we yalumbira Olubiri nali mbeera ne maama Aidah Nabachwa (kati omugenzi) e Mmengo mu Kisingiri zooni era nga nsoma P.4 ku Nakivubo Settlement.

Kye siyinza kwerabira Obote yasooka kugoba Kabaka Muteesa ku bwapulezidenti era kino kye kyaleeta obuzibu. Obote yazzaako kugoba Brig. Shaban Opolot (yali mukwano gwa Muteesa) eyali aduumira amagye n’amusikiza Idi Amin era ono ye yaduumira amagye agaalumba Olubiri.

Yatandika okuta akaka era olumu yagamba nti, ‘Omuganda omulungi y’abeera afudde!’. Nga May 23, twakeera ne tugenda ku ssomero okusoma kyokka twali twakava mu biseera by’okuwummulamu okulya ekyenkya (Break time) nga tuyingidde mu bibiina okusoma ate ne bakuba akade ka paleedi era amangu ddala ne tukuηηaana.

Abasomesa baatulagira tudde eka mu bwangu kuba waali waguddewo obuzibu obw’amangu. Nga tuli awaka e Mmengo mu Kisingiri zooni twatandika okuwulira abantu abakulu nga boogera nti eggwanga lyali lyolekedde akaseera akazibu kuba Obote yali agenda kulumba Olubiri. Ku ssaawa 9:00 ez’emisana, mukulu waffe Sam Kibaya (omugenzi) mu kiseera ekyo yalina emyaka 14 yebba awaka n’agenda okulaba ekiri ku Wankaaki w’Olubiri.

Bwe yakomawo yatunyumiza nga bw’alabye abaserikale b’amagye abalina n’emmundu nga bali wabweru w’Olubiri ekikolwa ekitaali kyabulijjo.

Olwa May 24, 1966 awo ng’emmambya esala, twawulira omusinde gw’emmundu ng’evuga, mu kutya okw’amaanyi maama yatuyita ne tumwekwatako, nga buli w’alaga we tudda.

Nafuna omukisa okutunula wabweru ne nnengera ebintu ebyaka ng’amanda g’omuliro nga byesooza mu bbanga nga bwe biyita waggulu w’akasolya k’enju yaffe. Obudde nga bukeeredde ddala, amasasi gaasirikira okutuusa ku ssaawa nga 2:00 nga naffe Maama akyatusibidde mu nju.

Waaliwo emmundu ennene eyavuganga pikipiki ennene eziwuluguma nga bwe zibwatuka. Kwolwo ekyatuwa obuweerero ky’ekire ky’enkuba eyatonnya, mu kiseera ekyo tewaawulirwayo masasi gavuga.

Lubanga yalina emyaka 11 we baalumbira Olubiri.

 

Enkuba olwakya embeera yasigala ya kimpoowooze okutuusa ku ssaawa nga 11:00 amagye ga Obote lwe gaakuba emizinga ebiri ku kisenge ky’Olubiri.

Kyali kizibu okumanya oba nga Kabaka Muteesa amagye gaali gamusanzeemu mu Lubiri oba nedda, ku lunaku luno olwa May 24, 1966 amagye ga Tanzania agajja okuyamba ku ga Obote nago nagalabako nga gatambulira mu mmotoka zaago bwe gaali galawuna oluguudo lwa Kabakanjagala.

Obudde we bwawungeerera nga tulaba omuliro gutandise okutuntumuka mu Lubiri. Ekiro twakiyitamu bulungi, enkeera nga May 25 maama yatugolokosa ne tusibamu ebyanguwa, twatambuza bigere okutuuka ewa Bakuli we twalinnyira bbaasi za UTC eyatutwala e Jinja- Kawempe, maama gye yafuna omuzigo n’agupangisa ku mwami Apollo Kironde olwo ne tutandika okubeera eyo.

E Jinja- Kawempe twabeerayo okumala wiiki bbiri zokka ne tudda e Mmengo, twasanga abantu bamaze okudda ku mirimu okwali n’Abayindi.

Buli lwe twava nga ku ssomero nga tusanga mmotoka z’amagye ga Tanzania zirawuna oluguudo lwa Kabakanjagala.

Obote yalangirira ebiseera eby’akabenje mu Buganda nga gavumenti ye tekkiriza bantu bawera babiri kukuηηaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laura Kanushu.

Abaliko obulemu ku mibiri b...

ABANTU abalina obulemu ku mibiri gyabwe beetabye mu kulonda kw'ababaka baabwe abanaabakiikirira mu Palamenti. Okulonda...

Ab'eddembe ly'obuntu bayise...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti babesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda...

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'alonda akalulu ka Mmeeya ne ba kansala

Ebyavudde mu kalulu ka Buga...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye balonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti...

Paasipoti enkadde bw’efaanana.

Gavt. eyongezzaayo ekkomo k...

PAASIPOOTI ez'obutabo enkola enkadde zaayimirizibwa okugabibwa mu 2018 wabula ng'abazirina zaasigala zikyakolera...

Poliisi nga yekebejja omulambo ogw'asangiddwa mu kibira

Eyattiddwa omulambo ne bagu...

ABATEMU bwe baakwata Rogers Ssemakula, baamuwalawala ne bamuggya okumpi awali abantu ne bamutambuza mayiro nga...