TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekitongole ekisanyusa ekyaleetanga essanyu mu Lubiri kyadda wa!

Ekitongole ekisanyusa ekyaleetanga essanyu mu Lubiri kyadda wa!

Added 14th July 2016

Olubiri kyabanga kiwummuliro, nga buli awulira nti awuubadde ng'awuubayo ku lubu lw'ekigere n’anywamu ku twenge n'okuzina.

 Amadinda ne mu Lubiri gaabangayo

Amadinda ne mu Lubiri gaabangayo

NGA tujjukira Amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 23, Bukedde buli lunaku afulumya emboozi ku matikkira gano.

Leero VIVIEN NAKITENDE alaze essanyu eryabanga mu Lubiri ne kaweefube akolebwa okulizzaawo. MU Lubiri lwa Kabaka edda lyabanga ssanyu jjereere!

Ng’ebyokunywa n'okulya ttomooni, ebivuga byavuganga okukeesa obudde awatali kusalako ng’eno abazinyi bwe banyeenya ku galibenjole.

Omutaka Lawrence Kyoloobi, Ssaabagabo w'omuluka gw'e Kabowa agamba; Kitange omugenzi Gabriel Kizito yali muyimbi mu Lubiri.

Ye yayimbanga, "Mu ntuuti mw’alamulira" lwe yayimba nga bamaze okuzimba Bulange eya kalina ng'ategeeza nti Muteesa alamulira waggulu mu kalina!

Amazina bwegati leero ge gazinibwa mu Lubiri.

 

Olubiri kyabanga kiwummuliro, nga buli awulira nti awuubadde ng'awuubayo ku lubu lw'ekigere n’anywamu ku twenge n'okuzina.

Amasaza gaakiikanga Embuga okuleeta amakula, ebikozesebwa omuli emmere, ennyama, omwenge era baabireetanga mu mpalo era nga tebiggwa mbuga.

Mu Lubiri waabangayo ebitongole ebisanyusa Kabaka, bino byabanga bya bagoma, abadingidi, abalere, abakondeere. Abantu abaasinganga okuba mu bitongole bino beebo abaayitibwa abasiige ba Kabaka era ebivuga bino byalaganga essanyu ekitegeeza nti Kabaka mw’ali mulamu.

Bano baabeeranga mu Lubiri nga tebavaamu, ng'omulimu gwabwe gwa kusanyusa Kabaka n’abagenyi be.

Olw'okuba ebivuga tebyasirikanga kwe kwava n'enjogera egamba nti; "Ofuuwa lumoonyere ng'olwa Ssuuna" Waabangawo amazina Amaggunju agazinibwa Aboobutiko, gano gaazinibwanga nga Kabaka anaatambula nga ge gamukulembera era Omuggunju yabanga wa ku Kiwu.

Ebitongole bino ebisanyusa baayimbanga ennyimba ezirimu obubaka obuwaana n'okulabula Kabaka ssaako okumutegeeza ebigenda mu maaso mu baami be n’ennyimba ez'abalongo. Ebivuga ebirala kuliko enseege n’entongooli.

Abadongo bano babeeranga balanzi mu nnyimba zaabwe, nga bwe wabaawo ensobi yonna eyakoleddwa ebweru, obubaka nga babuyisa mu luyimba. Omutaka Abubakar Kamukamu Kiryowa Mpiima ow'e Kitebi eyali mukwnao gwa Sir Edward Muteesa agamba: Abaamasaza baagabulanga Embuga n'okuleeta amakula naye ssinga waabangawo essaza erigabudde obubi ng'abadongo baliyimbamu oluyimba.

 

Era Ssaabasajja bwe yalambulanga awantu ne bamusibirira ebintu ne wabaawo ababibulankanya era ng'abadongo bwe bakiraba nga bayimba nti; "Ayi Beene, basajja bo ab'e gindi… baakuwadde ebbuzi ezzito walirabye? ate ente nayo wagirabye ate enseera n'empanga?" nga bagenda bakoona ku buli kimu ekyamuweereddwa. Waaliwo abayimbi nga Zakaliya Kasasa eyali omudingidi.

Ono yayimbanga nnyo ku makula g’omu Lubiri mpozzi n'ennyimba eziwaana Omutanda. Ye yayimba, "Gwe njagala owange alina amaaso, alina enviiri nviiri Bulange" , n’ayimba "Omulungi kulabako" nga zonna ziwaana Ssekabaka Muteesa II.

Victoria Nassuuna agamba nti wa myaka112, mutuuze w’e Kabowa mu Ssembule A; Ebiseera byange eby’obuwala nakulira mu Lubiri lwa Ssekabaka Daudi Chwa e Munyonyo era nze omu ku baakola emirimu ku mikolo gy’amazaalibwa ge aga 1938.

Edda Olubiri lwalimu essanyu lingi, nga waliwo okunywa, okulya okusanyuka, okuzina amazina anti eηηoma zaasiibanga zivuga ate ne zisula nga zivuga ng’abazinyi n’abayimbi babeerawo obudde bwonna.

Kitange omugenzi Stephen Ssozi yali mupunta wa Ssekabaka Daudi Chwa II ate mmange Zabeth Nanyonga Kateeteeyi yali muzinyi mu Lubiri era y’omu ku baasanyusanga Ssekabaka Daudi Chwa II.

Ebiseera ebyo nzijukira mu Lubiri waaliwo omuyimbi ow’erinnya Juma Nattyole eyateranga okuyimba ennyimba nga waliwo n’abazinyi bangi ddala omwali ne mmange Kateeteeyi. Abazinyi n’abadongo abaabeeranga mu Lubiri baayitibwnaga “Abasiige”. Nattyole nga tayimba aweneenya mbwa!

Olumu yawaana Omutanda n’ayimba ne ku mmange nti, “Kateeteeyi agenda kunzisa omwoyo!” okulaga nti Kabaka Daudi Chwa ne Kateeteeyi gubasaza mu kabu!

Polof. John Ssempeke, asomesa ebivuga by’ekinnansi ku ttendekero e Kyambogo anyumya; Kitange omugenzi Dr. Albert Ssempeke yali mulere mu Lubiri lwa Ssekabaka Miteesa II ne kitange omuto ayitibwa Ludoriko Sserwanga, wadde nze ku mirembe gya Muteesa saasobola kukuba bivuga naye nabangayo nga ndaba taata abikuba era Olubiri lwanyumanga nnyo.

Kitange yaleka atandiseewo ekibiina ky'ebivuga by'ekinnansi ekiyitibwa "Abooluganda Kwagalana" kye yatandikawo mu 1955 nga kya bivuga bya kinnansi ekyasanyusanga Kabaka era kati nze nkiddukanya ne muto wange Albert Bisaso.

Beene bwe yabanga anaalabika nga bakuba emigudo mu kifo ky'enduulu nga gwe gumwaniriza nga gino gye giraga nti Kabaka mu Lubiri mw’ali.

Omugudo ziba hhoma ssatu ezikubibwa ennyo omulundi ogumu okulanga nti Kabaka atuuse. Ekitongole kino ekisanyusa kyakulirwanga Omutaka Kawuula akuuma Mujaguzo.

Ensanyusa ya Ssaabasajja ennaku zino ebulamu obuwangwa kuba ebivuga ebyakozesebwanga luli byonna byali bya buwangwa era nga binyuma. Dennis Walusimbi, minisita w’ebyobuwangwa, ennono n'obulambuzi mu gavumenti y'e Mmengo agamba; Ebitongole ebisanyusa byasaanawo mu 1966 nga Obote aggyeewo Obwakabaka naye obuganda bugenda bukula n'okulongooka, waliwo ebimu ebigenda bikyukamu naye tusaanye tumanye nti ennono yo tekyuka.

Omugoma ng’asanyusa Ssaabasajja.

 

Obuzibu tuyingiddemu okukopperera kw'eddiini n'awamanga amalala nabyo bikyusizza ennono yaffe ne bitutabula okutuggya ku mulamwa naye tukola ekisoboka okubizza.

Buli kitiibwa kyabanga mu Lubiri, ng’ehhoma emirere n'ebivuga byonna ebiganda bisula bivugira mu Lubiri.

Bino byonna tugenda kubizzaawo era Obuganda bubeere bugumu tuli mu nteekateeka ekungaanya ebivuga bino nga bwe byabanga era ku Matikkira g'omulundi guno Abaganda bagenda kulaba ebimu ku bintu bino.

Amatikkira gano y’egenda okuba entandikwa y'okuzzaawo byonna ebyali bizaaye mu 1966 lwakuba bitwala akaseera naye nga byonna bigenda kuddawo.

Tunoonya abantu abamu ku baakubanga ebivuga bino babeeko abalala be batendeka olwo Embiri zonna ziddemu okunyuma nga bwe kyalinga edda.” Olina ky’okoze okukulaakulanya Obuganda? Oyagala okuyozaayoza Ssaabasajja n’okulaga eggwanga by’okola? Kuba essimu 0772490642

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...