TOP

Engeri supamaketi gye zinyagamu bakasitoma

Added 27th September 2016

MIRUNDI emeka gy'ogenda okugula ebintu mu supamaketi ne bakuwa lisiiti? Ate mu zimu gye bagaba lisiiti, tesukka mulyango, omuserikale agikuggyako n’agiyuza ,oluusi nga tomaze na kwetegereza oba ebintu by’osasulidde bye biri ku lisiiti eyo!

 Ebintu bingi ebiri mu supamaketi byayitako ennaku.

Ebintu bingi ebiri mu supamaketi byayitako ennaku.

MIRUNDI emeka gy'ogenda okugula ebintu mu supamaketi ne bakuwa lisiiti? Ate mu zimu gye bagaba lisiiti, tesukka mulyango, omuserikale agikuggyako n’agiyuza ,oluusi nga tomaze na kwetegereza oba ebintu by’osasulidde bye biri ku lisiiti eyo!

Omusomi wange, obadde okimanyi nti supamaketi ezisinga zibba bakasitoma baazo mu ngeri nnyingi? Be basinga okubba be bagula ebintu ne bawaayo ssente ennene, bangi babawa bbaalansi atawera, ate naawe n’otokifaako oluusi nga weewala kulabika ng’omusajja oba omukazi akaayanira mu dduuka, oba nga toyagala kusiba layini ennene ekuli emabega.

Waliwo supamaketi e Bweyogerere, yo bw’ogulayo ebintu, akaveera oba akasawo ke bakuteeramu ebintu ebyo okasasulira 200/-.

Ogenda okugattagatta ebibiri ebyo bye baggya ku bantu olunaku olulamba nga supamaketi ebbye nnyingi, naye nga weebuuze nti lwaki oleeta ebintu nga toli mwetegefu kuyamba kasitoma kubituuka waka?

Ekimu ku bizibu ebiri mu supamaketi ezisinga mu Uganda kya kutunda bintu ebiyiseeko ennaku.

Osanga emigaati egiriko ‘enviiri’ nga giragira vddala nti kyakukula, emyenge nga gukaatuuse tegukyawooma; ebintu nga juyisi, ebizigo oluusi ne kalifuwa ng’aluddemu nnyo naye nga tebamutuula. Waliwo n’abalina omuze gw’okukyusa ennaku z’omwezi ku bintu bino waakiri ye n’atafiirwa naye ng’alwaza bantu.

Emirundi mingi ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi (UNBS) kikola ebikwekweto mu Kampala onufuuza amaduuka agatunda ebintu ebitatuukanye na mutindo n'ebiyiseeko ennaku era abamu bakwatibwa nga baggyako ennaku z'omwezi eziyiseeko ate ne bateekako ez'omu maaso.

Naye ekizibu kikula bukuzi, supamaketi nnyingi zitunda ebiyiseeko ennaku. Thomson Lukyamuzi, omutuuze w’e Bweyogerere agamba: Olumu nali hhenda okukyalira abaana ku ssomero e Naggalama, supamaketi gye nagulamu juyisi e Mukono yampa ayiseeko ennaku.

Ate bino bisinga mu supamaketi z’Abayindi n’Abachina, omuze be baguyigirizza n’abasuubuzi ba wano okucupula omutindo n’ennaku z’omwezi ku byamaguzi. Kyokka ate waliwo ebiseera ebimu, bw’oyinza okulonda ekintu mu masa ng’olabyeko ssente ezimu z’olowooza nti ozisobola, kyokka bw’otuuka we basasulira ne bakugamba ndala nnyo.

Bangi olw’okutya okuswala asasula busasuzi naye nga supamaketi eyingidde mu nsawo ye. Mirundi emeka gy’ogula amata nga gaayitako ennaku? Ye okimanyi nti awamu bangeramu nga 200/- oba okusingawo ku bbeeyi eya bulijjo? Dorah Nansamba ow’e Nansana ku masitoowa agamba, “Nagenda mu supamaketi okugula ppaadi za Always ne ngulayo n’enkoko.

Ekyasinga okunnuma, enkoko yali nvundu ate nga ne lisiiti omuserikale ku mulyango yali aginsabye n’agiyuzaamu n’agisuula mu kasero nga nfuluma.

Kati eyo supamaketi yanziba, naye obuzibu nali sirina gye ngiroopa kuba lisiiti baali bagiyuzizzaamu.”

Ate weegendereze lisiiti yo, waliwo supamaketi nga ssente eziri ku lisiiti zaawukana n’eziri ku kisaawa ekiraga omugatte gw’osasudde! Mary Nantongo ow'e Kisaasi agamba nti ye yali agula nnyo mu supamaketi emu eri okumpi ne ppaaka mu Kampala nti naye buli lw’asasula ssente n’aba ng’alina okuddizibwa 50/- oba 100/- tebazimuwa.

“Ne bw’ozibanja era tebazikuwa. Ate abantu abakwata ssente bw’oba osasula azikwata bulungi naye bw’abeera akuddiza bbaalansi akasuka nkasule.

Ayinza n’okukucanga n’afuna engeri gy’akwongezaako olukumi oba enkiumi bbiri, okizuula luvannyuma nti ssente ze baakuwadde teziwera,” bw’agamba.

Ate ye Ivan Kakembo ow’e Najjanankumbi agamba nti mu supamaketi emu abantu we basinga okusisinkanira mu Kampala abakozi bamanyi okugoba aba ssente entono oba abalwawo nga bakyetegereza bye banaagula.

Ye Samuel Kikonyogo ow’e Bwayise agamba ekisinga okumunyiga kumuguza bicupuli. “Nagula leediyo naye mu nnaku bbiri ng’ekaddiye eringa emazeewo emyaka ebiri ekitegeeza nti baali basiize nsiige,” bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...