TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Obukadde 15 ze nnaggya mu NSSF zingaggawazza

'Obukadde 15 ze nnaggya mu NSSF zingaggawazza

Added 8th October 2016

Nze bwe natandika okulima, ab’omu kyalo baalowooza nti nnemeddwa ekibuga.

 Dr. Lukula ne mukyala we ng’annyonnyola by’afunye mu ssente za NSSF.

Dr. Lukula ne mukyala we ng’annyonnyola by’afunye mu ssente za NSSF.

Bya LAWRENCE KITATTA

DR. PATRICK Lukula avuddeyo avuganye mu nteetateeka ya NSSF eya ‘Friends with Benefits’, omuwanguzi mw’agenda okuwangulira obukadde 30.

Empaka zino zeetabiddwaamu abantu ab’enjawulo abeetegekera obukadde bwabwe nga batereka ssente mu NSSF ne baziggyayo ne bazikolamu ebintu ebikulaakulanya obulamu bwabwe oba okuyamba abalala.

Okwetabamu, omuntu yalina okuwandiika ebbaluwa etasussa bigambo 100 ng’annyonnyola by’akoze mu ssente ze yafuna olwo abakugu ne basunsulamu abasaanidde okuvuganya ku bukadde 30. Owookubiri ajja kufuna obukadde 15 oate owookusatu aweebwe obukadde 10.

Dr. Lukula ow’e Seeta - Lumuli mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono, eyali akolera mu kitongole kya ADRA Uganda y’omu ku baganyuddwa mu ssente zino.

Ebibye abinyumya bwati: Natandika okukola mu 2003 ng’omusawo omutendeke mu kitongole kya ADRA mu ttabi erikola ku balwadde abalina akawuka akaleeta siriimu.

Abakozi ba NSSF bajja ne batusomesa emigaso egiri mu kutegekera obukadde bwaffe nga tutereka ku ssente ze tufuna.

Kino kye kiseera we nnatandikira okutereka ssente mu NSSF, olwava mu ADRA ne ntandika okukola ku Bugema University nayo olwatuukayo ne bansaba ennamba ya NSSF.

Nakolerayo emyaka ebiri nga bwe nnyambako n’ekitundu. Nayagala nnyo okukolera gavumenti nga nkyegomba, natandika okusoma olupapula lwa New Vision mwe balangira emirimu.

Mu 2010, nafuna omulimu mu minisitule y’Ebyobulamu ne bansindika okukulira eddwaaliro ly’e Pallisa. Nali mpulira nga nkooye obupangisa kyokka nga ssente ze nfuna ntono, sisobola kugulako ttaka n’okuzimba ennyumba.

Nagenda ku NSSF ne mbuuza ssente ze nninayo n’okumanya oba nsobola okuzifuna. Nalinayo ssente ezisoba mu bukadde 15 ne ntandika okukola ku mpapula n’emitendera gy’okuzifuna ne bazimpa.

Natwala ekiseera nga nneebuuza eky’okuzikolamu. Olw’okubeera nti nali njagala nnyo okuzimba, twasalawo okunoonya poloti ne mukyala wange kwe kufuna e Seeta Lumuli we tubeera.

Twagula ffuuti 50 ku 100 mu 2011 ku 5,800,000/-. Ssente ezaasigalawo zaali tezisobola kuzimba nnyumba ya kirooto kyaffe.

Twatuula ne tukkaanya tuzisse mu kulima zisobole okuzaala amagoba kubanga mu kyalo kyaffe e Busoga tulina ettaka ddene tusobola okulimako ebikajjo n’okukola ebirala.

Ezaasigalawo twalimako kasooli yiika bbiri ne tukungula ensawo 48, omu ne tumukozesa ng’emmere y’enkoko kubanga zaali zibiika.

Twatandika okukuηηaanya ssente mu magi. Twagenda okumalako omwaka nga tulina 1,700,000/-. Nasalawo amaanyi okugassa mu kulima kubanga nali ndabye nga ssente mwe ziri.

Ennyumba gy’azimbye e Seeta - Lumuli.

 

Ebikajjo bye nalima nabifunamu 6,000,000/-. Twagenda tukuηηaanya nga tutereka ne tuweza obukadde 17.

Nakomawo ne twongera okugula ettaka ne tugaziya poloti yaffe ne tutandika n’okuzimba mu 2013.

Mu 2014 twatunda ebikajjo bya 8,000,000/- ne twongera okulongoosa ennyumba yaffe.

Bw’obeera n’ekirooto kyo towuliriza bigambo bikutiisa. Nze bwe natandika okulima, ab’omu kyalo baalowooza nti nnemeddwa ekibuga. Naddayo ne nnyongera okusoma kati nnaatera okumaliriza nfuuke dokita alongoosa.

Ssente ze nnafuna mu NSSF y’eyali entandikwa y’okukyusa obulamu era kati sidda mabega. Twayongera okugula ettaka yiika nnya. Omwaka oguwedde twatunze ebikajjo bya bukadde 16.

Nsimbye kalittunsi yiika bbiri, ntegeka kulima gonja. Abakolera ebitongole nga temutereka mu NSSF musabe bakama bammwe babaterekereyo ssente kubanga mufiirwa. Nze zinfudde mugagga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...