TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abantu batemye ebibira ne beereetera enjala!

Abantu batemye ebibira ne beereetera enjala!

Added 25th November 2016

Entobazzi ze zimu zisengejja amazzi, zisalawo entambula yaago ate zitereka amazzi ne ziryoka zigabirira ennyaanja Nalubaale, ekiriwo kati amazzi mu ntobazi gayitamu buyisi ne gagenda mu nnyaanja ekivuddeko okugikosa.

 Mabira bamutemyemu enku n'okwokyamy amanda

Mabira bamutemyemu enku n'okwokyamy amanda

EBIKWEKWETO ebigezaako okukuuma ebibira, entobazzi n’obutonde bw’ensi bibadde bigenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu omwezi guno.

Wabula Edward Sserinnya alaze ensibuko y’okutema ebibira n’okusaanyaawo entobazzi mu Uganda n’ekiyinza okukolebwa.  

ABAKUGU mu byobulimi balina obubaka obutiisa bwe bawa ensangi zino: we tunaatuukira mu January ng’emmere efuuse akamere, olw’enjala ggw’omuwadde akatebe ebindabinda!

Kino kivudde ku kyeya ekimaze emyezi, enkuba n’etetonnya mu biseera mwe yali esuubirwa, abaasimba kasooli n’ebijanjaalo amakungula gabafudde.

Wadde ng’ensonga ziyinza okuba ennyingi ezivuddeko ekyeya kino ekitukubye enjala, ensonga y’okusaanyaawo ebibira y’esinze mu byonna.

Mabira mu 1997

 

Lipoota ku bibira eya 2015 eya National Forestry Authority (NFA), eraga nti Uganda buli mwaka efiirwa yiika z’ebibira emitwalo 50 okuva ku bisolo ebyonoona emiti nga gyakasimbibwa, omuliro, okwokya amanda, enku, embaawo, okulima n’ebirala.

Wakati wa 1990 okutuuka mu 2010 okutwalira awamu Uganda yafiirwa yiika z’ebibira 394,758.

Okusaanyaawo ebibira Gilbert Kadilo ow’ekitongole ky’ebibira, (NFA) agamba: Twatandika okukuuma ebiwandiiko ebikwata ku bibira mu 1900.

Mu kiseera ekyo Uganda yalina ebibira nga bikola ebitundu 54 ku 100, ekitegeeza nti ku bugazi bwa Uganda obwa mayiro 93,263, kuno ng’obaliddeko ettaka n’olukalu kitegeeza makkati gaazo byali bibira.

Ebintu byagenda bikyuka mpola, mu myaka gya 1970, Pulezidenti Idi Amin bwe yayisa ekiragiro nti abantu ba ddembe okwefunira ku ttaka lya Gavumenti mu bibira kyasanyaawo bingi.

Okutuuka ku 1990 nga tusigazzaawo ebitundu 24 ku 100 eby’ebibira. Kati we twogerera tuli ku bitundu 11 ku 100, ekiraga nti buli olukya ebibira byeyongera kukendeera era ssinga tugendera wano, kiwa ekifaananyi nti mu 2040 we tusuubirira Uganda okugifuula ensi ensuubize tuyinza okuba nga tetulina kibira kyonna!

Disitulikiti ezisinze okusaanyaawo ebibira Lipoota y’ebibira okuva mu 1990 okutuuka leero era nti mu Buganda, Kiboga ye disitulikiti esinze okusaanyaawo ebibira nga buli mwaka batema yiika 10,765, Nakasongola 7,799, Masaka 1,154, Kayunga 1,548 zonna ziri mu yiika.

Mu Busoga disitulikiti y’e Bugiri batema yiika 2,507 buli mwaka, Kamuli 23,721, Mbale 77 ne Budaka yiika 16. E Bugwanjuba bwa Uganda e Kibale batema yiika 80,714 buli mwaka, Hoima 7,705, Bushenyi 1,387 ne Kiruhura 4,305 buli mwaka emiwendo gyonna giri mu yiika.

Mu bibira ebisaayiddwa kwe kuli Mabira nga munda baamusaawa, Navugulu e Mpigi wadde nga bamuzizzaawo kati, Kampiringisa, ekibira ky’e Bujuuko n’ebirala.

Ekibira ky’e Kampiringisa bakitemye bakimazeewo.

 

Okwo gattako entobazzi okuli Lubigi, Namanve, Kinawattaka baaluzimbamu n’entobazzi endala zisaanyiziddwaawo.

Kadilo agamba: Uganda erina ebibira bya mirundi ebiri, ebya Gavumenti n’ebyobwannanyini wabula ebya Gavumenti mulimu ebisangibwa mu makuumiro g’ebisolo era bino ekitongole kya Uganda Wild Life Authority kye kibivunaanyizibwako.

Ekitongole ky’ebibira kirina okukuuma ebibira 506 mu ggwanga lyonna naye bingi byasigaza linnya, abakungu ba Gavumenti be basinze okubitema ne babisaanyaawo. Waliwo obukiiko bwa disitulikiti obukuuma ebibira obulina n’okubirabirira naye awasinga tebulina makulu.

Ebyobulambuzi ebisinga mu Uganda bya butonde, amazike n’ebirala bibeera mu bibira, kati ssinga byongerwa okusaanyizibwawo, ebyobulambuzi nabyo bijja kukka ate n’ebisolo ebimu bijja kufa olw’embeera okutaataaganyizibwa.

Obuzibu obuliwo, etteeka tewali we likwatira ku muntu alina kibira kya bwannannyini eriyinza okumukugira okukitema oba okusimba emiti emirala Ekimalawo ebibira Ng’oggyeeko ebibira Idi Amin bye yagaba, olutalo lw’e Luweero nalwo lwakosa ebibira bingi.

Gavumenti amaanyi bwe yagassa ku kulwanyisa abayeekera n’abatema amanda ne beeyongera; NRM bwe yajja mu buyinza ate yo omulaka n’egussa ku kuzimba nguudo na kuddaabulula ensi, kyokka obutonde teyatunulayo mangu.

Ekirungi kati mu kisanja kino ekya ‘Hakuna Muchezo’, okukuuma obutonde kimu ku Pulezidenti bye yayogeddeko by’agenda okuteekako amaanyi. Abantu batema emiti naye tebaagala kusimba mirala, enkola ya ‘tema gumu simba ebiri’ bangi baagidibyara.

Ebyobufuzi nakyo kifuuse ekizibu eri obutonde, abantu bayingira ne batandika okutema ebibira bya Gavumenti kyokka olubakwatako nga bannabyabufuzi babiyingiramu.

Hajji Saddam Lukwago, atunda eddagala ly’obutonde mweraliikirivu nti ebibira bwe binaggwaawo, kijja kuba kizibu amagezi agali mu ddagala lino okugakuuma.

“Simanyi lwaki Gavumenti tesala bbeeyi ya masannyalaze. Kubanga kini ssinga kikolebwa, ensawo ny’amanda ejja kuva ku mitwalo 10 nedde ku mitwalo ebiri, olwo abagatema bajja kugavaako. Tewali nsonga lwaki yuniti egula 600/-.

Tusikirize abantu okukozesa amaanyi g’enjuba, okufumbisa ggaasi nga tussaawo enkola za Gavumenti eziwagira kino,” Hajji Lukwago bw’agamba. Okusala embaawo kizibu eri ebibira mu ggwanga, ekisaana okukolwako.

Abantu basaanye okujjumbira okuzimbisa ebyuma okusinga emiti. Mu Buganda, Masindi ne Hoima, ebibira bikoseddwa amakampuni agalima ebikajjo.

Olusenyi oluliikiriza omugga Ssezibwa ng’ogenda e Bugerere, Mehta yalusimbamu ebikajjo, naye byonna bijja kudda ku butonde bw’ensi.

Ebibira e Katugo ne Rwenzori bisaanawo lwa kubikumako muliro. Kuno bw’ossaako omuwendo gw’abantu ogweyongera mu ggwanga, nagwo gutaddewo embeera embi eri obutonde.

Lwaki ebibira birina okukuumwa?

Kadilo annyonnyola: Olw’okuba ebibira nga bikendeera abantu kivuddeko ebintu eby’enjawulo okubaawo nga obutonde okuva mu mbeera, emigga okukalira kuba jjukira nti ebibira bikwata amazzi ne gavaamu emigga eno y’ensonga lwaki ebibira ebisinga bibaamu emigga, ssinga ekibira kisaanawo kiba kitegeeza nti emigga egyo giba gigenda kukalira.

Eky’okulabirako e Tooro waaliyo ekibira ky’obuwangwa ekya payini nga kiruddewo era ne kikola emigga ena, okuva lwe baakisaanyaawo emigga ebiri gimaze okukalira ate nga n’emirala egisigaddewo nagyo giyinza okukalira.

Kino kibira kya Gavumenti e Mpigi kye bookyamu amanda.

 

Okuliikiriza ennyanja: Emigga n’ebiyiriro ebiriikiriza ennyaanya amazzi gava mu bibira n’entobazi. Amazzi gano ge gatuyamba okufuna amasannyalaze bizinensi eyo ey’okukuba kasooli, okwokya ebyuma oba saluuni yo n’esobola okutambula!

Wabula tekijja kukoma ku masannyalaze gokka, muganda wo, mwannyoko, kitaawo oba kojjawo ali ku nnyanja ng’akola ogw’obuvubi oba omulimu omulala ku mwalo ajja kuba takyalina mulimu ggwe ate gunaavaawa ng’ennyanja ekalidde n’okuvuba nga kuyimiridde?

Ebyenfuna bijja kugootaana n’oluguudo lw’otambulirako lujja kubeera lubi kuba gavumenti ejja kuba tefuna musolo gumala kusobola kulukola.

Wabula ekikukwatako obutereevu ggwe omulimi oba agula emmere bbeeyi y’emmere ejja kwongera okulinnya olw’ensonga nti, ebibira gye bikoma okutwala ekitundu ekinene n’enkuba yeeyongera okutonnya.

Ggwe atema omuti ogumu, oyinza okulowooza nti toyonoona butonde, kyokka kikubeere mu mwoyo nti kamukamu gwe muganda, era ogenda okumalako omwaka oba otemye emiti egiwera kyokka ekikwasa ennaku bangi ku batema emiti tebasimba mirala.

Entobazzi n’ennyanja

Entobazzi ze zimu zisengejja amazzi, zisalawo entambula yaago ate zitereka amazzi ne ziryoka zigabirira ennyaanja Nalubaale, ekiriwo kati amazzi mu ntobazi gayitamu buyisi ne gagenda mu nnyaanja ekivuddeko okugikosa.

Amazzi mu nnyanja gaddugadde okwo gattako okugendamu obucaafu obuvuddeko ebyennyanja okufa, okugeza omwala gw’e Nakivubo ng’enkuba bw’etonnya kitwala ennaku musanvu amazzi okutuuka mu nnyaanja, wabula kati ssaawa mbale ng’ekedde gaba mu nnyaanja olw’okuba entobazi mwe gaayitanga ne zisooka zigasengejja tezikyaliwo.

Ebyennyanja bwe bifa buli omu ekiddako akimanyi, amazzi amacaafu gano bwe gatuuka ku lubalama lw’ennyanja olwo ebyennyanja ebizaalira ku mbalama tebiddamu kuzaala ate n’ebirala ebitere okujja mu ntobazi eziriraanye olw’okwekweka okubirya nabyo bibulwa we bidda ekivaamu muwendo gw’ebyennyanja kukendeera embeera ebifuula okuba eby’ebbeeyi.

Ne tusigala kugamba tulina ennyanja, naye ekyennyanja nga tosobola kukirya si butayagala wabula ssente ze kigula nga tozisobola!

Ebyennyanja kale oyinza okubyewala, naye ate okukozesa amazzi! Kazambi ono bw’agenda obutereevu mu nnyanja, ssente ezikozesebwa okulongoosa amazzi gano zeeyongera, ekivaamu kitongole ky’amazzi nakyo okwongeza ensimbi ku mazzi ga taapu g’okozesa mu maka go, sso ssinga entobazzi zikuumwa ebyo bisobola okwewalibwa.

Robert Anguzo, omwogezi w’ekitongole ekifaayo okulaba ng’ennyaanja Nalubaale ekuumwa butiribiri ekya Lake Victoria Environment Management Project Phase II in Uganda,

Annyonnyola: Ebirala ebisse ennyanja Nalubaale be bantu okulimira ku mbalama zaayo, amakolero agayiwamu kazambi n’abalimirako ebimuli ne bayiwamu eddagala byonna bikyali bizibu eri ennyaanja, nga wadde tugezezzaako okugenda nga tubasomesa obukulu bw’ennyanja na lwaki ffena tulina okugikuuma.

Mu Namanve basendamu okuzimba amakolero.

 

Embeera y’entobazzi mu Uganda

Mafabi agamba: Entobazzi 30 ku 100 mu Uganda we twogerera wano zonna tewakyali, ggwe agula ekyokulya mu kaveera n’omaliriza okukirya n’osuula mu mwala ne gukuluggusa akaveera ako okutuuka mu lutobazzi oba anywa akacupa k’amazzi n’okasuula w’otosaanye kukasuula ggwe mulabe asooka ow’okusanyaawo entobazzi.

Abantu abazimbamu mukimanye nti ggwe oteekawo nnyumba yiyo ne famire yo, kyokka n’otta emigaso emirala mingi nga okukola enkuba egiyamba eggwanga lyonna! Lwaki mukubiramu amatoffaali nga temusoose kufuna lukusa na kuwabulwa? Entobazzi mwe mugakuba bwe ziggwaawo olwo munaagakuba wa?

Ekirala ekimazeewo entobazzi kwe kukulaakulana kw’ebibuga, okugeza e Ntungamo baalina entobazzi naye ekibuga kizimalawo, ne Kampala kumpi yenna atudde ku lutobazzi.

Okukuuma entobazzi Waliwo ebintu eby’enjawulo ebisobola okukolebwa mu lutobazzi ate nalwo ne lusigala nga lukyakola omulimu gwalwo, wabula kikulu okubikola ng'olina olukusa n’okuwabulwa kw’omukugu;

-Okulundiramu ebyennyanja.

-Okukubiramu amatoffaali.

-Okulufunamu amazzi agakuyamba okufukirira ebirime byo ebiba ku lukalu okumpi oba ebbali w’olutobazzi.

-Okukolerako obulambuzi,

-Entobazzi ezimu zisobola okufuuka ebifo eby’obulambuzi.

-Mubaamu ebimera n’emiti egisobola okuvaamu eddagala ly’ekinnansi ne lijjanjaba abantu. Buli omu ateekeddwa okukuuma entobazzi n’ebibira nga ne poliisi byweyambako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?