TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Etteeka eppya ku byobusika teriigaane abavubuka okuwasa!

Etteeka eppya ku byobusika teriigaane abavubuka okuwasa!

Added 25th November 2016

Takisi gy’olimu oba akatale k’okoleramu oyinza okusanga ng’abalina ebiraamo tebajjuza mukono!

 Abantu nga bakung’aanye ku kikomera kya Musasizi e Masajja ng’amaze okulwana n’omukyala.

Abantu nga bakung’aanye ku kikomera kya Musasizi e Masajja ng’amaze okulwana n’omukyala.

Bya EDWARD SSERINNYA NE HERBERT MUSOKE

OMUNTU bw’afa n’aleka ekiraamo, kyanguwa okugonza embeera n’okumalawo ebizibu ebiva mu ngabana y’emmaali y’omugenzi. Naye bantu bameka mu Uganda abakola ebiraamo nga tebannafa!

Takisi gy’olimu oba akatale k’okoleramu oyinza okusanga ng’abalina ebiraamo tebajjuza mukono! Kyokka ekiraamo oluusi tekiba kya nkomeredde.

Kiyinza okukyusibwamu ssinga omugenzi wabaawo abantu b’ataalaamira ku bintu kyokka ng’obulamu bwabwe ng’akyali mulamu bwali buyimirirawo ku ye, nga tebalina ssuubi ddala lyonna okuggyako mu mugenzi oyo.

Okugeza abaana abali wansi w’emyaka 21, wabula agisussa omugenzi waddembe obutamulaamira kintu kyonna kubanga aba muntu ayimirirawo ku lulwe kuba aba muntu mukulu.

Ate bw’otolaama, abaana bonna bavunaanyizibwa okufuna ku mugabo gwa kitaabwe era wano etteeka livaayo ne lirambika engabanya y’ebintu okusinziira ku kakwate buli omu k’alina ku mugenzi nga bwe lirambika n’ennongosereza ezateereddwaamu.

Kkooti etaputa Ssemateeka mu April wa 2007, yasaza mu buwaayiro n’obutundu obw’enjawulo mu tteeka erirambika engabana n’entambuza y’ebintu by’obusika oluvannyuma lw’okukikkiriza nti mwalimu okulinnyirira eddembe ly’abakyala n’okubalemesa okugabana ku by’obugagga bye bakoleredde.

Kino kyaleka etteeka nga lirimu ebituli awaavudde ababaka ba Palamenti okuleeta ennongoosereza mu tteeka lino omwaka guno n’obutundu obulambika engabana y’ebintu by’omugenzi.

EBYAWAKANYIZIBWA MU TTEEKA LYA 2007 

Akatundu 27, kaawakanyizibwa nga kano kigambibwa kaali katunuulira basajja bokka ng’abakyala tebatunuulirwa kye bagamba nti tekyali mu ssemateeka kubanga awa buli muntu eddembe lya kyenkanyi awatali kusosola mu kikula.

Akatundu 27 era kaawakanyizibwa olw’okuwa nnamwandu ebitundu 15 ku 100 ku bintu bya bba afudde ate omusajja afiiriddwa mukyala we n’asigaza ebintu byonna (100 ku 100) nga kiringa ekiraga nti omukyala ye tabaako na bantu b’alabirira era ababeerawo ku lulwe, kyokka nga ku ludda lw’omusajja abantu ababadde bayimirirawo ku ye bafunayo omugabo. 

Akatundu 8(a) kaali kalambika nti omukyala ssinga anoba ew’omusajja n’addamu okufumbirwa, omugabo gwe ku by’obugagga by’omusajja gy’anobye guba tegukyabalibwayo. 

Akatundu 43, akaali kaalambika nti omuntu alabirira bamulekwa alina kulondebwa kitaabwe yekka, kino kyawakanyizibwa nti kyali kirinnyirira eddembe lya nnyaabwe nga nabo abalina akakwate ak’amaanyi ku mwana. 

Akatundu 2(n) (i) mu katundu 44 kaali kawa amaanyi eri ab’oludda lw’omusajja olwo olw’omukazi ne luweebwa obuyinza butono ddala! 

Akatundu 15 nako kaawakanyizibwa, kaali kagamba nti, omukazi olufumbirwa abeera ayingidde butereevu mu nnyumba y’amaka ekitali ku basajja. 

N’akatundu 15 akaali kagamba nti omukyala ssinga ayawukana ne bba mu mateeka abeera takyalina lukusa kubeera mu nnyumba y’amaka.

EBIRI MU NNOONGOOSEREZA

1. Ssinga omugenzi aleka omukyala, abaana, n’abooluganda b’abadde alabirira, eno y’engabana y’ebintu byonna by’aba alese; Omukyala aweebwa ebitundu 20 ku 100, bamulekwa bafuna 71 ku 100 ate abeηηanda ne bafuna 9 ku 100. Kyokka ssinga afa nga tewali gw’alese asobola kutwala bintu bye, ebintu ebyo bitwalibwa abeηηanda ze.

2. Ssinga omugenzi aleka omukyala n’owooluganda oba omuntu yenna gw’abadde alabirira kyokka n’ataleka mwana yenna, omukyala afuna ebitundu 50 ku 100 ku byobugagga ate n’owooluganda gw’abadde alabirira naye n’afuna 50 ku 100.

3. Ssinga omugenzi aleka omukyala yekka oba n’aleka owooluganda gw’abadde alabirira naye nga si mwana we, mu mbeera yonna gye kibeeramu, omukyala oba owooluganda ono atwala ebyobugagga byonna.

4. Ssinga omugenzi taleka muntu yenna amuli ku lusegere asobola kutwala bintu bye, ebyobugagga ebyo bigabanyizibwa kyenkanyi mu booluganda abali okumpi naye. Katugambe nti oli afudde, talina mukyala oba mwami, talina mwana ate nga tewali muntu yenna gw’abadde alabirira.

5. Ssinga wabulawo omuntu asobola okutwala ebyobugagga by’okugenda mu ngeri erambikiddwa waggulu, ebyobugagga ebyo bitwalibwa omusika aba assiddwaawo mu mateeka.

Ebintu nga bimaze okugabanyizibwa, ne wabaawo owooluganda oba omuntu yenna atamatidde na ngabanya yaabyo, waddembe okuddukira mu kkooti n’alambika ensonga ze olwo kkooti n’eyisa ekiragiro.

Naye ssinga ogezaako okwezza mu bukyamu ebintu ebyagabanyizibwa edda oba okusengula abantu ababa baabifuna oba omenye etteeka, bwe gukusinga osibwa emyaka musanvu oba okusasula obukadde 10 oba byombi.

Omuntu mu kiraamo (omukyala oba omwami) waddembe okulaga omuntu yenna gw’ayagala okuba omukuza w’abaana be abato.

Wabula ekiraamo ssinga kiba tekirambika mukuza, bazadde b’omugenzi, bwe batabaawo baganda b’omugenzi oba bannyina bavunaanyizibwa.

Ssinga tewabaawo mukuza, omuntu yenna waddembe okusaba kkooti okumukkiriza okukuza abaana oba omwana oyo. Kino kikola ne ku baana oba abantu ababadde balabirirwa omugenzi nga balina obulemu ku bwongo nga tebasobola kwetegeerera bokka.

Okuddukanya ebintu by’omugenzi tekulina kuweebwa waaluganda yenna okuggyako ng’abantu abalina obuvunaanyizibwa obusookerwako okugabana ebintu by’omugenzi bawandiikidde kkooti n’ebakkiriza.

Naye mu mbeera nga waliwo abantu babiri abalina okufuna omugabo gwe gumu, bombi bavunaanyizibwa kyenkanyi ku kuddukanya ebintu by’omugenzi. Ebbaluwa z’okubiddukanya zisobola okuweebwako omu oba okubagatta bombi.

Ekirala, omuntu yenna ayagala okufuna ebbaluwa emmukiriza okuddukanya ebintu by’omugenzi luli abadde awandiika n’ategezaako abantu ababadde balabirirwa ebintu by’omugenzi ennaku 30 nga tannasaba.

Wabula kati ekyo tekimala, alina okusooka okulanga mu mawulire g’amanyi nti abantu abo bajja kugalaba ate nga bategeera olulimi mw’alangidde, nga wayise ennaku 14 olwo n’alyoka asaba. Kino ssinga takikola by’akola byonna biba bifu.

Omugagga Charles Kakumba owa Kakumba Motor Spares e Katwe agamba: Kituufu okulekera abaana ebitundu 71 ku 100 kubanga bano be tukolerera wabula omukyala okumuwa ebitundu 20 ezo nnyingi, kuba omugabo gwe gugendera mu baana be b’azaala ate baffe ffenna.

Era nze okugaba kwange kuba omukyala 17 ku 100, abaana 73 ate abalala be ndabirira ne bafuna 10 ku 100. Naye n’eky’amateeka nakyo si kibi okutwaliza awamu.

Godfrey Kirumira Ssentebe w’abagagga ba Kwagalana: Engabanya sigirabamu buzibu kubanga ebiseera ebisinga etambulira mu baaluganda, wabula ekikulu ekibaamu abooluganda bano basaanye okuba nga bakwatagana bulungi kuba baba beerinako akakwate.

Kyokka jjukira omuntu oba si wa waka oba wa waka naye nga mwasalawo okumulabirira kabi ki
bw’abaako ky’afuna kubanga naye muntu ng’abalala.

John Bosco Kalema ow’e Nabweru agamba nti ekiseera kituuse buli omu abeeko ky’akola okukulaakulanya amaka. “Omusajja akola misana na kiro n’alabirira omukyala oba omukyala okulabirira bba naddala eri abakazi abagagga, kyokka bw’afa olwo ebitundu 20 ku 100 ku byobugagga biba byaki eri omuntu atayagala kukola?,” bwe yabuuzizza.


Awagirwa Hamza Muleme ow’e Butabika, yabuuzizza: Abakazi abasinga emirimu gye yandikoze
awaka agirekera mukozi ate nga ggwe omusasula.

Ate ye bw’akolayo ssente ebintu ebibye abikweka waabwe, kati lwaki afuna ebitundu 20 nku buli 100 ku byobugagga byange? Lwaki simuwaako 1 ku 100 byonna ne mbigabira abaana, ndaba naye babe!

Jane Nakayiza ow’e Sseeta ekimweraliikiriza gwe mugigi omuggya ogw’abavubuka abamanyi okupanga ssente, abajja okufumbirwa abakazi abalinawo ng’ekigendererwa kya kweriira ku musimbi ogwo.

Ate Lubina Tumwesigye ow’e Bbira mweraliikirivu nti abavubuka eby’okuwasa bandibivaako kubanga etteeka litongozza eky’omukyala okunyuunyunta omusajja mu bulamu ne mu kufa!

Kubanga omukazi anobye n’addamu okufumbirwa ate agabana atya ku bintu byange! Ggwe olowooza otya?

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...