
Bakizito ne famire yaabwe ate
GEORGE William Kizito, 82 ne Maria Antonia Ndagire, 79 abatuuze b’e Luteete Gayaza mu Wakiso bawezezza emyaka 60 nga bali mu bufumbo era balaze ebintu bye bayiseemu nga bali bombi nebibayambye okutuuka ku buwanguzi buno. Bakizito emyaka gino bagyogerako bati:
NALEKAWO GWE BAALI BANDABIDDE
Mu 1956 e Luteete waaliwo omuwala gwe baali bandabidde nga gwe ηηenda okuwasa wabula twali tukyali mu kwogerezaganya, gye nalabira Maria eyankyusa omutima, oli gwe baali bandabidde ne mmuvaako.
Maria yali muwala wa mukwano gwange era gye namulabira ne mmufuula mukwano gwange, ekyava mu mukwano kukkiriziganya nkyaleko ewaabwe.
Nategeeza ku mukwano gwange ku nsonga enkulu eyaliwo ne tutegeka okugenda mu Busiro. Olunaku olulagaanye bwe lwatuuka, twakwata kagaali kaffe nga twolekera mu bazadde ate nno ngalo nsa anti tetwalina kantu konna ke twatwala.
Mu bakadde baatusalira ebintu n’okutukozesa endagaano nti omwana waabwe nnina kumuwasa mpeta mu bufumbo obutukuvu.
KADE KATA ENZIGYE MU DDYA- NDAGIRE
Bwe nali nva mu bazadde baηηamba nti omukyala yenna gy’afumbidwa we waba amaka ge era nange kino nakikwata nga ne bwe nfuna obuzibu butya nfuba okulaba nga tubumaliriza ne baze. Lumu kade yange yakaddiwa omwami n’atangulira ndala. ηηenda okulaba nga njula kuyita bute.
Ekirowoozo ky’okudda mu bakadde ne kijja kuba nali ndaba ng’atakyalina mugaso mu maka, ggwe ate ssebo okundeka mpite buswa.
Ekizibu kino nakiyitiramu maama n’aηηamba nti, ekyo tekinobya mukazi era eby’okunoba ne mbyesonyiwa.
Ate olunaku lwe nawulira nti omwami afunyeeyo omukyala omulala ate ku kyalo kwe twali kata nfe! Nasooka kubiwulira mu ηηambo nga bwe mbimubuuza abyegaana. Naye omukyala bwe yazaala yali takyayinza kwekweka.
Kyampisa bubi naye olw’okuba nali mmwagala nabyesonyiwa ate naye ne mmulaba nga yeenenyezza.
Embeera eno we yabeererawo William yali mukkakkamu ndowooza ng’amanyi nti nnyinza okumwabulira. Omwana bwe yagenda akula twateesa n’amuleeta akule ne banne nga bakwatagana bulungi.
SSEKUKKULU YAFFE EYASOOKA
Ssekukkulu yaffe eyasooka yaliwo mu 1956 era nagyesunga nnyo kuba saali na beewaffe. Omwami yaleeta kade nga taata bwe yakikoleranga maama ne ndaba nga ddala nange nkuze.
Wabula ku lunaku lwennyini nakeera ne nteekako emmere ne nsalawo okwebakamu otulo twantwala mmere n’esiriira entobo n’eva mu ntamu.
Napakuka esiridde ne ngisuula ne ntoolako eyali esigadde nga namu era gye twalya, wabula ekyewuunyisa bwe nagijjula, William teyawulira nti yawunye, simanyi oba yatya buti kunnenya olw’okuba nali nkyali mugole awo simanyi.
MUWALA WAABWE BY’AGAMBA
Justine Namukisa, 32 omuggalanda waabwe agamba: Bazadde baffe mbeenyumirizaamu kuba nkuze kutuuka wano sibalabangako nga batabuse, simanyi oba byabangawo naye nga tebatulaga.
Baatukuliza mu mpisa ey’eddiini era ng’ekikulembera awaka kusaba. Ekisinze okukuuma bazadde baffe n’okutuusa emyaka gino 60, gwe mukwano omungi gwe balina era buli lukya baba ng’abaakeeraba, era tewali akola kintu nga takigambye mune.
Naffe tusaba Katonda atuyambe atuwe abantu abatuufu be tusobola okukuumagana nabo okumala ebbanga eddene nga bazadde baffe lye bamaze.
EBIWANGAZA OBUFUMBO
Okwewala eηηambo.
Okuwaηηana ekitiibwa.
Okuyigaηηana.
Omukwano kikulu mu maka.
Buli omu amanyi obuvunaanyizibwa bwe.
Okukolera awamu emirimu.