TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abooluganda abaawasa olunaku olumu bajaguzza emyaka 25

Abooluganda abaawasa olunaku olumu bajaguzza emyaka 25

Added 18th December 2016

Naddayo kyokka olwo nga baaba amaze okuliisa baganda bange abalala bonna enjiri era nga buli kiseera baηηamba nti nkuze nfumbirwe ate nga baagala nfumbirwe mulamu Jimmy.

 Bakalungi ne Bakalule baakujaguza emyaka 25 mu bufumbo nga January 15,2017. Baaluganda era baagatibwa lumu.

Bakalungi ne Bakalule baakujaguza emyaka 25 mu bufumbo nga January 15,2017. Baaluganda era baagatibwa lumu.

Bya HERBERT MUSOKE

OKUVA obuto, kitaffe Paul Muwuluzi ow’e Lwankoni mu Rakai yatukuza atukubiriza okuba obumu omuli okwagalana, okukolera awamu ng’abooluganda kuba agali awamu ge galuma ennyama.

Mu kunoonya engeri y’okukuuma abaana be, bwe tukuze ne tutuuka okuwasa yasalawo kutukolera wamu embaga nga muli agamba nti kitangira abakyala abawasiddwa okwawula mu baana.

Yagambanga, “Abakyala abawasiddwa batera okwawula abooluganda ssinga mukola embaga olunaku lumu kiyamba okunyweeza omukwano gwammwe”.

Ba Kalungi ku mbaga yaabwe emyaka 25 emabega.

 

Bwe batyo abooluganda James Kalungi ne Peter Kalule abaakola embaga ku lunaku lumu emyaka 25 egiyise bwe batandika emboozi yaabwe ku ngeri kitaabwe gy’ataayagalanga baawukane nga n’embaga baakola emu.

“Mu luggya ewaffe, si ffe twasooka okukola embaga emu, waliwo bakulu baffe ba mirundi ebiri abaali bakikoze. Kuno kwaliko abaasooka nga bano baali basatu, meeya wa Mukono, Fred Kagimu, Salezio Mpoza ne George William Kito.

Awaka bwe waabangawo atuusizza okuwasa kyokka nga tewali mulala, waakiri ng’anoonya mu b’eηηanda.

Okugeza muganda waffe Bernard Kasujja yakola lumu ne J.B Kawooya ng’ono wa taata mulala.

Okukola byonna nga taata agamba nti, okukolera awamu embaga tuba tufunamu kuba abagenyi baba be bamu nga kino kitaasa obudde ng’obayita ennaku ez’enjawulo, kweggamba okekkereza.

TEMUWASA KU KYALO

Kitaffe buli lwe yayogeranga ku by’okuwasa ng’atugamba tulina okwetegereza be tugenda okuwasa era ng’atukuutira okunoonya abawala abali mu bugazi bwa mayiro bbiri okuva awaka okudda buli luuyi!

Kino twakituukiriza kuba twasukka obugazi obwo nga tuzze mu Kampala.

GWE NAWASA YALEMWA YINTAVIYU NE TUKOLA MPANDIIKE

“Bwe naweza ssente nga nkoze ebbajjiro nalowooza ku kuwasa. Mulamu wange Gaudensia Kalungi yaηηamba nti, “ggwe oli wange, nakwekwata! Saasooka kukitegeera okutuusa lwe yaηηamba nti ‘ηηenda kukuleetera muto wange omuwase’.

Namuddamu nti kinneetaagisa okusooka okwogerako naye era yamuleeta ne twogera kyokka ebibuuzo ebimu byamulema okuddamu kwe kumugamba abiwandiike era n’abiddiramu mu bbaluwa mu ngeri yennyini gye nali mbyagala ne ntuuka n’okwebuuza oba mukulu we ye yali amuyambyeko!

Engeri gye yaddamu ebibuuzo nalabira ddala nga ndi ku mulamwa era nga ntuukirizza taata kye yatukuutira ku be tuwasa,” bwatyo James Kalungi bw’anyumya engeri gye baasisinkanamu ne mukyala we Betty Kalungi.

Ba Kalule ku mbaga yaabwe emyaka 25 emabega

 

EKIBIINA KYA KLEZIA KYE KYATUGATTA-KALULE

Munnange twasisinkanira mu kibiina ky’abavubuka ku Klezia e Banda gye twali bammemba. Nneegomba mwanamuwala olwo ne mmulondoola nga njagala okutuukiriza ekya taata eky’okusooka okwetegereza gwe ndimutwalira nga mukamwana ate naye yali ambuuza ddi lwe nneezimba.

Oluvannyuma lw’okumwetegereza namutuukirira ne mmutegeeza nti njagala kumuwasa. Ndowooza ebintu bino byalimu Katonda kuba munnange yakkiriza, nga tutandika nteekateeka.

TETWALINA KYAKUSALAWO KU KUGATTA EMBAGA ZAFFE -BAKYALA

Betty Nakanwagi Kalungi agamba: Mukulu wange Gaudensia Kagimu yaηηamba nti ayagala nfumbirwe mulamu we Jimmy.

Nze tekyandiimu era saakissaako mwoyo. Bwe nava e Masaka okujja ewuwe lwe nalaba Jimmy ng’asereka nnyumba yaabwe. Okumpi n’ebbajjiro lye we waali ennimiro gye twalimangamu n’abaana ba baaba.

Lumu nga ntudde n’abaana Jimmy yajja n’aηηamba nti, “Ggwe oli eno okola gwa kuzannya na baana! Kino kyannyiiza muli ne nneebuuza ddala omusajja baaba gw’aηηamba okufumbirwa lwaki ampisaamu amaaso atyo? Alaba ndi mwana nti nzannya olw’okuba yandaba ntudde? Kale ne mmukyawa!

Awaka waaliwo biddole by’abaana naye ng’amanyi okunsosonkereza n’abinkuba olwo nange ne mbimuddiza mu busungu ng’ayongera kunnyiiza era nalaba siibisobole kwe kusiibula nzire e Masaka nga saagala kubeera kumpi na musajja ono.

Baaba yambuuza ekinzizaayo amangu ntyo ne mmugamba nti nnina bye njagala okukola.

Naddayo kyokka olwo nga baaba amaze okuliisa baganda bange abalala bonna enjiri era nga buli kiseera baηηamba nti nkuze nfumbirwe ate nga baagala nfumbirwe mulamu Jimmy.

Olwa bakulu bange okunnemerangako, nakkiriza naye ng’omutima teri.

Ebyaffe byayita mu bwangu nga mukulu wange ebisinga y’abirimu era ye yaηηamba nti embaga egenda kugattibwa n’eya mulamu wange.

Saalina kye nsobola kukola kubanga ekikulu kyali kya kunkuba mpeta! Naye kati sejjusa kukkiriza n’okuwa omutima n’obulamu bwange omusajja gwe nasooka okukyawa.

‘NAKKIRIZA KYE YASABA OKUMWEGGYAKO’

Muka Kalule, Immaculate Nansikombi Kalule agamba yava ku mbaga yaabwe okugenda okumaliriza ebibuuzo.

Omwami wange ekiseera we yaηηambira nti ayagala okumpasa nakkiriza ng’ekigendererwa kyange kumweggyako. Bwe nalaba alemeddeko ne njagala okumwekweka.

Yayita mu mukulu wange Fred eyamperereza okutuusa lwe yaηηonza. Mu kiseera kino nali mu luwummula lwa S4 nga nnina okuddayo okusoma.

Nnali njagala kusoma busawo kyokka Kasule n’amperereza ne ηηenda mu by’okufumba e Nakawa nti alina mwannyina omusawo naye obusawo tabufunyeemu.

Nga tuteekateeka emikolo, omwami yantegeeza nti embaga tugenda kugigatta ne muganda we. Kino saakifaako ekikulu nti nali nfuna obufumbo obutukuvu.

Embaga yali yaakubeerawo mu December n’eyongerwayo kuba nali ηηenda kukola bibuuzo kyokka eky’akabi nabyo ne babyongerayo okutuuka mu January era ebibuuzo nabikola nva mu mbaga e Masaka.

Mu kiseera kino abaana baffe abamu batuuse mu myaka gy’okufuna ababeezi, nkakasa nga Katonda ajja kubaluηηamya era twagala nabo bagatte embaga zaabwe kuba mulimu ebirungi ntoko.

Ebibakuumye emyaka 25

Okuwaηηana ekitiibwa, okwagalana ekiseera kyonna n’okuwuliziganya. Okumanyagana nga buli omu amanya obunafu bwa munne n’abufuula bunafu bwe.

Okubeera omulambulukufu mu bya ssente n’obudde nga munno omubuulira w’oli ssinga oba totambudde naye.

Okusinga byonna, omukisa gwa Katonda gwatuyamba ku ngeri gye twefuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Bakanyama bakoonye enju y'o...

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye...

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Omupangisa atunze ennyumba ...

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu...

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...

Kaweesa owa Lubaga (ku kkono) ne Tumusiime owa Kampala Central n’ekiwandiiko.

Bakoze lipooti ku kugwa kwa...

ABAVUBUKA ba NRM mu Kampala, nga bakulembeddwaamu Mahad Kaweesa eyakwatira ekibiina kya NRM bendera ku Bwammeeya...