TOP

Emyezi 7 egya Palamenti ey'ekkumi

Added 2nd January 2017

Palamenti ey’ekkumi eyatandika mu May wa 2016 yawummudde ekitundu ekisooka, oluvannyuma lw’emyezi musanvu egibaddemu katemba, ennaku n’okujaguza olw’obuwanguzi obutuukiddwaako.

 Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwaamu Sipiika Kadaga ( ku ddyo) nga bazina okumalako omwaka.

Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwaamu Sipiika Kadaga ( ku ddyo) nga bazina okumalako omwaka.

Bya KIZITO MUSOKE

PALAMENTI ya Uganda yawummudde emirimu gyayo ku Lwokusatu nga December 21, 2016 ng’ababaka basanyufu olwa Pulezidenti Museveni okuteeka omukono ku tteeka erigaana ababaka okuggyibwako omusolo ku ssente z’ensako, ekyalese Bannayuganda abamu nga tebamatidde.

Palamenti ey’ekkumi eyatandika mu May wa 2016 yawummudde ekitundu ekisooka, oluvannyuma lw’emyezi musanvu egibaddemu katemba, ennaku n’okujaguza olw’obuwanguzi obutuukiddwaako.

Ebibiina n’abantu abawera baagezaako okuwabula Pulezidenti obutassa mukono ku tteeka lya ‘Income Tax Amendment Bill 2016’ okuggyako nga bataddemu akawaayiro akawaliriza ababaka okusasula emisolo ku ssente z’ensako.

Kyokka Pulezidenti yamaze ebbago n’aliteekako omukono nga November 19, 2016 ne baliyisa ng’ababaka baggyiddwaako emisolo!

Ababaka babadde bagamba nti emisaala gyabwe giggyibwako emisolo, nga tewali ngeri gye bayinza kukkiriza kuggyibwako ssente ndala ku nsako gye bafuna.

Ekikolwa ky’ababaka obutaggyibwako musolo lyaleetedde eggwanga okufiirwa obuwumbi 45 ezandibadde zibawoozebwako ng’omusolo.

Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala bwe yabadde mu kusaba kwa Ssekukkulu mu lutikko e Mukono yakukkulumidde ababaka ba Palamenti olw’okweyagaliza bokka ne beggyako emisolo ne bagirekera abalala okugiwa. Ekikolwa kino yakiyise kitali kya bwenkanya kye baakoze.

 

KAFEERO SEKITOOLEKO AYUUGUUMIZZA PALAMENTI

Wadde ng’ebiteeso bibadde bingi, kyokka ekiteeso ky’omubaka Kafeero Sekitooleko (Nakifuma) kyagulumbya Palamenti.

Mu September, omubaka yayanja ekiteeso ng’asaba okuweebwa olukusa asobole okwanja ebbago eryali ligendereddwaamu okuleeta ennongoosereza mu Ssemateeka asobole okulinnyisa emyaka gy’abalamuzi n’abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda kwe bawummulira.

Ebigambo byayitingana nti waliwo abalamuzi abaali bafunye ekyogyamumiro eky’akakadde k’ensimbi buli omu ne kkiro za ssukaali 25 okuyisa ekiteeso kino.

Ku nkomerero ekiteeso kyagobwa bubi mu Palamenti eyali ekubirizibwa Sipiika Rebecca Kadaga oluvannyuma lw’okubulwa akisemba.

Abamu baategeeza nti waliwo abanene abaali bali emabega w’ekiteeso kino, kyokka ne kibalemerera.

ABABAKA 20 ESSUUBI LYABWE OKUSIGALA LIBALI MU KKOOTI

Ekitundu ekisooka we kiggweereddeko ng’ababaka abasukka 20 essuubi lyabwe okusigala mu Palamenti libali mu kkooti ejulirwamu.

Kino kyaddirira kkooti enkulu okubasingisa emisango egyekuusa ku kugulirira abalonzi, okubba obululu n’obutabeera na buyigirize bwetaagisa kwesimbawo.

Mu basuuliddwa mulimu; Lilian Nakate (Mukazi/ Luweero), Peter Mugema amanyiddwa nga Panadol (Iganga Municipality), Peter Sematimba (Busiro South), Isaac Mulindwa Ssozi (Lugazi Municipal ity), Lucy Aciro (Aruu North) Bwino Kyakulaga (Kigulu North), Edward Sembatya (Katikamu South) Hajat Rehema Watongola (Kamuli municipality), Annet Nyaketcho (Tororo North), Col. Charles Okello Engola (Oyam North).

Abalala kuliko; Wakayima Musoke (Nansana Municipality), Christopher Kalemba (Kakuuto), Juliet Ssuubi Kinyamatama (mukazi/ Rakai), Amos Mandela( Buyamba) , Denonzio Namujju (mukazi/Lwengo), Ninsiima Boaz Kasirabo (Kooki County).

Ababaka we bawummulidde ng’omubaka Kato Lubwama (Lubaga South) teyeetegeera oluvannyuma lw’omulonzi Habib Buwembo okumutwala mu kkooti ng’awakanya okubeera nga yalondebwa nga talina buyigirize bumala.

Kkooti yakkirizza okuwuliriza omusango guno, wadde nga Kato yabadde agisabye egugobe.

Omubaka Sarah Najjuma (mukazi/Nakaseke) tayinza kwerabira nnaku ezisembyeyo mwe yafunira obuzibu lifuti ya Palamenti bwe yeesiba n’egaana okweggula!

Yamalamu essaawa nnamba ng’akyali munda abakugu nga bakola buli ekisoboka okumuggyamu.

OBUWUMBI 80 BUNUNUDDWA

Ekimu ku bikulu ebituukiddwaako ke kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ebitongole bya Gavumenti aka COSASE, okununula obuwumbi 80 ezaali zaaweebwayo ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA eri kkampuni z’Abachina. Zaali za kuliyirira bantu abaakosebwa okuddaabiriza n’okugaziya enguudo.

Kkampuni z’Abachina zakkiriza okukomyawo ssente zino ze baali baterese ku akawunti zaabwe, nga bazikungaanyizza okuva mu 2013. Akakiiko kano kakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri County).

ABABAKA BEEPENYE ENTUULA ZA PALAMENTI

Wadde nga Sipiika Kadaga yasiimye ababaka ba Palamenti olw’okujjumbira okukiika, kyokka emirundi mingi ababaka babadde tebawera.

Abamu balabibwa ng’olutuuka mu Palamenti batuulawo luwunguko oluvannyuma lw’okussa omukono mu bitabo ne babulawo.

Mu September, Sipiika yawalirizibwa n’okuwummuza Palamenti olw’okuba gavumenti yali eremereddwa okuleeta ebiteeso mu Palamenti.

Mu September, omubaka Cecilia Ogwal (mukazi/Dokolo) yeemulugunya ewa Sipiika engeri baminisita gye baali bayitirizza okwosa, wadde nga be baalina okuleeta ebiteeso eby’enjawulo.

ABABAKA N’ABAAMAWULIRE BAACANKALANA

Obuzibu bwasooka kuva ku mikutu gy’amawulire okuwandiika ku Palamenti nga bagamba nti Palamenti yali esaasaanyizza ssente ezisukka obuwumbi obubiri mu kutambuza ababaka n’abakozi ba Palamenti okugenda okwetaba mu lukungana lwa UNAA olwali e Boston mu Amerika.

Palamenti yategeeza nti ababaka abaali basasuliddwa baali 20, baminisita bataano n’omubaka omu owa palamenti ya East Africa be baali basasuliddwa Palamenti.

Ababaka baasalawo okuyita abakulira emikutu gy’amawulire okuli; New Vision, Red Pepper, Observor ne Uganda Radio Network babitebye mu kakiiko akakwasisa empisa.

Ng’oggyeeko abakulira olupapula lwa New Vision, abasigadde baagaana okulinnyayo nga bagamba nti Palamenti terina buyinza bubayita kubawozesa.

Mu kiseera Palamenti w’ewummulidde erinze lipooti y’akakiiko basalewo kye banaakolera emikutu gy’amawulire.

ABABAKA ABABUUTIKIDDE BANNAABWE

Mu babaka abapya abasinze ku bannaabwe okuteesa mu bukiiko ne mu lukiiko olunene kuliko; Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South), Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya/Mubende), Ssemakula Luttamaguzi (Nakaseke South), Michael Tumusiime (Mbarara Municipality), Thomas Tayebwa ( Ruhinda North), Patrick Nsamba (Kassanda North).

Ate mu bakadde abasukkulumye mubaddemu; Ruth Nankabirwa (Nampala wa Gavumenti), Anna Maria Nankabirwa (mukazi/Kyankwanzi), Amos Lugoloobi (Ntenjeru North), Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga).

Kato Lubwama bamunyize ebitooliro.

 

ABABAKA KYE BOOGERA KU MYEZI OMUSANVU

Sarah Najjuma (mukazi/ Nakaseke); Ekimu ku bisinze okunsanyusa tubadde tetunnafuna bintu bitwawula wadde tuva mu bibiina bya njawulo. Ensonga yonna ey’eggwanga tubadde tugikwata bumu.

Kyokka kye nsaba Gavumenti lipoota ez’enjawulo ezizze zikolebwa ku bantu abeenyigidde mu buli bw’enguzi ziteekebwe mu nkola.

Onesmas Twinamatsiko (Bugangaizi East); Palamenti ekoze bulungi okulondoola ebyenfuna by’eggwanga, era nnyingi tusobodde okuzinunula ne zikomawo. Kyokka obuzibu mbusanze mu bitongole by’obwannakyewa ebigezaako okuwa abalonzi ekifaananyi ekikyamu nti tufuna ssente nnyingi era tetwagala kuwa misolo.

Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South); Palamenti ekutte ku nsonga nnyingi ezinyiga omuntu waabulijjo, obukiiko butambudde ne bukka wansi mu bitundu. Okusoomoozebwa kwe ndabamu, abantu balina essuubi ddene nnyo mu babaka ba Palamenti ate nga tewali busobozi bwa kubamatiza.

Christopher Kalemba (Kakuuto); Palamenti ekoze omulimu munene okuviira ddala ku kununula ssente ezaali zabbibwa. Ababaka bangi basobodde okudda mu bitundu bye bakiikirira ate nga tubadde n’obumu ng’ababaka.

Sarah Nakawunde (mukazi/Mpigi); Palamenti ebadde nnungi kuba ababaka balaze nti balumirirwa eggwanga lyabwe. Ebiteeso ebyali birabira nga tebiyamba bantu bigobeddwa nga tetufudde ku njawukana mu ndowooza za byabufuzi. Ebiseera bya Palamenti birungi eby’omu maaso.

Dr. Kefa Kiwanuka (Kiboga East); Nsiima obukiiko bwa Palamenti obw’enjawulo olw’okukola omulimu ogw’ettendo. Neenyumiriza mu kubeera ng’obuwumbi obusukka mu 70 busobodde okununulwa.

Akakiiko akavunaanyizibwa ku byobugagga eby’omu ttaka kakoze bulungi okutaasa obutonde bw’ensi, nga bagoba abantu abakolera mu ntobazzi. Obuzibu obunene bwe tukyalina bwe buli bw’enguzi obukudde ejjembe. Wadde Gavumenti efubye okusomesa, kyokka abantu balemeddeko.

Joseph Sekabiito (Mawokota South); Ekirungi kye ndabye emirimu tugikwata nga Bannayuganda, tulina obumu wansi wa Sipiika Kadaga kuba ffenna atuwa omukisa ogwogera. Kino kituwadde ebbeetu okwesigaliza obwongo bwaffe. Kyokka ababaka waliwo ekintu ekibanyiga naddala bwe kituuka ku ntambula y’ababaka ebweru w’eggwanga.

Osanga omubaka omu nga yaakatambula emirundi esatu, kyokka nga waliwo atatambulangako. Ebintu bibeeramu okukukuta ekireeta ebigambo mu babaka.

Enkola y’akabondo ka NRM waliwo lw’osanga ng’olina okugigoberera wadde ng’olumu si kye wandyagadde.

Kino kituleetedde akakuubagano wakati w’abalonzi n’ekibiina ky’ovaamu. Okugeza ssandiwagidde kuyisa baminisita bangi, kyokka olw’okuba akabondo kye kaayisa nneesanga nga nnina okukiwagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...