TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omwana ky'akula alaba akitwala nga kikulu

Omwana ky'akula alaba akitwala nga kikulu

Added 9th January 2017

ABAANA bayiga era ne bakoppa ebintu ebyo ebikolebwa abantu ababali ku lusegere, buli muzadde ky’okola ng’omwana alaba, akikwata bukusu era kizibu okukyerabira ate akitwala nga kikulu mu bulamu bwe era n’akigulumiza.

 Kiggundu azannya ne mutabani we.

Kiggundu azannya ne mutabani we.

Bya VIVIEN NAKITENDE

ABAANA bayiga era ne bakoppa ebintu ebyo ebikolebwa abantu ababali ku lusegere, buli muzadde ky’okola ng’omwana alaba, akikwata bukusu era kizibu okukyerabira ate akitwala nga kikulu mu bulamu bwe era n’akigulumiza.

Embeera z’omwana n’empisa ze eza bulijjo, aziyiga ng’alabira ku bintu ebyo ebikolebwa abantu abamuli okumpi ne bato banne b’atera okuzannya nabo era abikoppera ddala n’abitwala nga bikulu mu bulamu bwe.

Jimmy Evans Obbo, omuwabuzi ku by’ekikugu ku mbeera z’abantu mu minisitule y’ekikula ky’abantu agamba: Engeri omwana gy’atabaganamu ne banne abalala nga bayita mu kuzannya, okuyimba, okumugerera engero, bikulu era bimuyamba ne bikuza embeera n’empisa ze ezaabulijjo, weesanga nti ssinga banne baazannya nabo babeera baasanyufu, ye ne bw’aba munyiivu, yeesanga asanyuse kuba y’embeera ebeerawo.

Maama n’omwana nga booza engoye

 

Abaana gye bakoma okubeera awamu ne bannaabwe, bayiga engeri y’okweyisaamu n’empisa ze bakula nazo, era weesanga ng’empisa omuntu z’atambula nazo mu bulamu, aziggya waka mu bantu abo b’akula nabo, ezo z’akula alaba azitwala nga kikulu mu bulamu bwe.

Ebyo ebikolebwa awaka omwana abitwala nga bikulu mu bulamu bwe, era bizimba empisa ze eza bulijjo, okugeza: Eddiini, okubuuza, okuyomba n’ebirala ebibeera awaka, omwana abitwala mu bulamu bwe.

Eddiini eyamba okuzimba empisa n’embeera z’abaana ennungi. Nze neewala okuyomba awaka era nfuba okubeera okumpi n’abaana bange bakule nga nange balina kye banjigirako ekyo ekiribeera ekyokulabirako mu bulamu bwabwe.

Buli kyetukola n’abaana bange b’akitwala nga kikulu mu bulamu”.

Frederick Robert Kiggundu omutuuze w’e Nyanama agamba: Buli lwe nzannya n’omwana wange ayongera okuntegeera n’okunjawula ku balala, afuna essanyu ate alamba ebyo bye tukola mu kaseera k’okuzannya.

Ntera okuleetayo bato banne ne tumuzannyisa ffenna, naye buli lw’andaba nga nkomyewo awaka, anzijukiza emizannyo egyo gyetubeera tukola nga; okukuba mu ngalo, okusiibula.

Omuto ng’azannya ne munne.

 

Ssinga nkomawo nga nnyiize, n’antunuulira nga siseka, amanya nti waliwo ekikyamu era naye ng’anyiiga, kale nfuba okubikka ku bibeera binnyiizizza ne mbeera musanyufu mu maaso ge.

Bwe mba musanyufu naye abeera musanyufu, ate nange kinnyamba okuzuula ekiba kimutawaanya, ssinga ndaba nga tali mu mbeera za bulijjo ze tubeeramu, mmanya nti aliko ekimuluma ne nkinoonya ne muyamba.

Wadde omwana wange tannatandika kwogera, naye byonna bye tukola naye mu kuzannya, abikoppa era naye abikola mu biseera bye eby’eddembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...