TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Serwadda aggudde olutalo ku Bujingo, Kiganda ne Kakande

Serwadda aggudde olutalo ku Bujingo, Kiganda ne Kakande

Added 19th February 2017

Serwadda yategeezezza nti abantu bangi abazze babatuukirira nga bye bayiseemu biwaawaaza amatu, babafeze ebintu, babbyeko ssente, abakazi babasobezzaako, amaka gatabuse, bizinensi zigudde

 Omutume Dr. Joseph Sserwadda

Omutume Dr. Joseph Sserwadda

Bya BENJAMIN SEBAGGALA

OMUTUME Dr. Joseph Serwadda owa Victory Christian Centre mu Ndeeba akyawera nti olutalo lwe yaggudde ku basumba banne tagenda kuluyimiriza okutuusa ng’abawangudde.

Serwadda agamba nti, abasumba abaamaanyi mu Uganda babuulira enjiri erimu obufere olwo ne bakwata ‘endiga’ zaabwe obujega ne babasoloozaamu ensimbi bbo ne bagaggawala.

Male ne Kakande

 

Abasumba b’avumirira abageraageranyizza ku ‘bamuwabutwa’ b’agamba nti bakozesa obutamanya n’okuyaayaana kw’abantu kiyite (Desperation) ne babalimba n’oluvannyuma ne bababba.

Abamu ku basumba b’alumiriza okufera abantu ye Nabbi Samuel Kakande owa Synagogue of All Nations e Mulago, Bisopu David Kiganda, owa Christianity Centre mu Kisenyi, Pastor Aloysious Bujingo owa House of Prayer Minisitries e Makerere wadde ono tamwatuukiriza linnya naye amwogerako ng’eyakuguka mu kuvuma ekintu ekiraga nti akyali muto mu by’akola.

Serwadda agamba nti, wadde abantu abasinga bakimanyi nti Kakande by’akola bya kifere (kirowoozo kye), naye bwe yasazeewo okufereramu Pulezidenti Museveni ng’amuwa essimu ayogere ne Nabbi TB Joshua owe Nigeria ye gw’ayita Kitaawe olwo n’asalawo okumwanika.

Yategeezezza nti ekikolwa kya Kakande yali atunda omwoyo gwa Uganda mu Bannabbi b’obulimba era abalogo abasibuka ebweru.

Bugingo ne Kakande

 

BUJINGO AMWANUKULA:

Ng’ayita mu pulogulaamu ze ezibeera ku Salt TV ne leediyo ssaako okusaba kw’ettuntu okumanyiddwa nga ‘Lunch hour’, Bujingo azze ayambalira Serwadda (naye tamwatuukiriza na linnya) ng’amwewuunya nti bwe kuba kunoonya bafere, Serwadda yanditandikidde mu kkanisa ye yennyini eya Victory mu Ndeeba.

Agamba nti ekya Serwadda okusalawo okwegatta ku kakiiko akataba enzikiriza zonna mu Uganda aka IRCU, kyayiwa nnyo Serwadda ne kyongera okumulaga ng’omusajja ayaayaana okufuna ebitiibwa n’okwambala amaganduula ne yunifoomu okusinga okunoonya Mwoyo mutuku n’agamba nti mu basooka okuva ku mulamwa ne yasooka.

Serwadda alemeddeko: Obiri yandagula okugwa eddalu ne bigaana! Agamba nti yatandika okulwanyisa Bannabbi b’obulimba mu 1987 ekiseera Nabbi John Obiri Yeboah we yabeerera mu Uganda n’alagula abakazi bangi nga bwe baali bagenda okufuna abaana ne kitasoboka.

Kuno yagattako n’okusuubiza eby’amagero n’ebirala kyokka ne birema.

Yategeezezza nti Obiri bwe yalaba ng’amuwakanya, yamulagula nga bwe yali agenda okutomerera mu mmotoka ye, agwe eddalu mu nnaku ssatu era nga n’omuti gw’omuvule ogwali guliraanye ekkanisa ye gwali gugenda kugwa, gugikube naye byonna byalema.

Agamba nti waliwo abaagabana engoye za Obiri ng’afudde era kati bakozesa ebyo okulowoozesa abantu nti basobola okukola ebyamagero.

Serwadda yategeezezza nti abantu bangi abazze babatuukirira nga bye bayiseemu biwaawaaza amatu, babafeze ebintu, babbyeko ssente, abakazi babasobezzaako, amaka gatabuse, bizinensi zigudde.

Yagambye nti ekibi kisusse okutiitiibizibwa abantu ne babeera ng’abajja mu kkanisa okulokoka ebyapa by’ettaka, okufuna Viza z’e Bulaaya obufumbo oba okugaggawala.

Bannabbi ab’obulimba mulimu n’abakazi.

Abantu bano balinga bw’olaba omuntu bw’agaba obutwa, kimwetaagisa okuteekamu ettondo limu, kyokka lisobola okubuna ne litta omuwumbo gwonna.

Bishop Kiganda

 

PASITA MALE YEEYITA KY’ATALI

Serwadda yalumbye ne ba Paasita abeeyita kye batali n’awa eky’okulabirirako ky’omusumba Solomon Moses Male owa Arising for Christ Ministry.

Yagambye nti ono tatendekebwangako era talina bisaanyizo bimufuula musumba, ng’ekituufu alina kuyitibwa muweereza.

Embeera y’abantu okwetuuma kye batali alumiriza nti y’evuddeko bannabbi b’obulimba okweyongera.

Alina essuubi nti ng’ali wamu n’aba IRCU, olutalo bajja kuluwangula.

PASITA MALE AYANUKUDDE

Male yagambye nti Serwadda talina ngeri gy’ayinza kulwanyisaamu bafere, kuba ye yababikkiriranga ng’atandise okubalwanyisa mu 1993.

Yalumirizza Sserwadda okulemesa Pasita David Kiganda ng’alwanyisa abafere bano 1995, era ng’omuntu y’omu mu 2003 yalwanyisa omuzungu Edibra Rasheal bwe yaggyayo Simeon Kayiwa ng’amulumiriza okumufera.

Male ajulizza ebbaluwa gye yawandiikira Serwadda mu November 20, 2006 n’amuwa ensonga 13 ze yali takkaanya nazo mu kulwanyisa embeera y’abafere kyokka n’atafaayo.

Alumiriza nti Serwadda yennyini yakkiriza nti ebikyamu weebiri kyokka balina okubiggya mu mawulire bakuume ebyama, kubanga n’enzikiriza endala weeziri era zirina ebizibu naye babikuuma nga bya kyama ne babigonjoola.

Male ajuliza Bayibuli mu Befeeso 4:11; Oyo mwoyo y’awa abantu ebitone abamu ne babeera Batume, babuulizi ba nijiri, abalala Bannabbi n’abasomesa olw’okuzimba omubiri gwa Kristo.

Yawakanyizza eky’okugamba nti tatendekebwanga kubeera Musumba wabula n’ategeeza nti Bayibuli egamba nti omusumba omulungi alwanirira abantu nga ye bw’azze aggalirwa mu buduukulu bw’amakomera olwokulwanirira abantu.

Male naye ayambalidde Serwadda nti byavumirira by’akola kuba yeeyita akulira Abalokole mu Uganda ekitali kituufu.

Yagambye nti akulembera abo bokka abeegattira mu ddiini ye eya Born Again Faith in Uganda era be yakulembera okwegattira mu Inter Religious Council of Uganda.

Yategeezezza nti Abalokole bangi waliwo abali mu kkanisa ya Uganda, abali mu Klezia, abeegattira mu National Fellowship for Born Again Churches ekikulemberwa Joshua Lwere, bonna Serwadda si y’abatwala.

“ Ssemateeka wa Uganda ennyingo eya 27 eraga nti eggwanga Uganda teririna ddiini ya wamu buli muntu wa ddembe okusinza n’okukkiriza nga bw’alaba. Okugamba nti y’akulira Abalokole mpozzi ayinza okulowooza nti bw’abayita e Namboole ekisaawe ne kijjula olwo Abalokole babeera baweddeyo”, Male bwe yategeezezza.

 

BP. DAVID KIGANDA YEEWUNYIZZA SERWADDA

Bishop David Kiganda owa Christianity Focus Centre yagambye nti tamanyi mukulu munne ky’abadde aliko kuba omulimu guno yandibadde yagutandika dda  

OBUBONERO BWA BANNABBI ABAFERE

• Basaba ssente nga tebannaba na kukusabira!

• Batega ababakyalira obubbo mbu kuwaayo olw'omulimu gwa Kristo! • Bakyusa amaloboozi ng'abasamize oba abalaguzi.

• Bakangakanga nti bw'otanywerera ku bye bakugambye ojja kusiraana oba okwongera okuba obubi okusinga ne w’ogendeddeyo. • Tebakozesa byawandiikibwa nga bawa amagezi! Bajuliza ebitaliiyo! • Beetoolooza ofi isi zaabwe emisubbaawa,

• Bakozesa ebifaananyi by'abagenzi abatutumufu naddala nga baali bannaddiini.

• Bambala, amaganduula, naddala engoye enjeru, era beeyisa kikadde wadde baba bato mu myaka.

• Bagaba amazzi g’omukisa, banywesa abagenzeeyo ebiragala.

• Serwadda agamba nti obulabe bwe batuusizza ku bantu tayinza kubupima kubanga ekibi ky’obulimba bulinga obutwa, omuntu anywedde obutwa okufa teyeetaaga kusooka kunywa kidomola.

• Bangi bwe bakola ebikolobero abantu balowooza nti balokole so nga nabo babeera bannabbi baabulimba, nga bwe kyali ku Kibwetere, Oyinebyoona Ow'Obushobozu Desteo Bisaka, Baba Nuwa, Kaswabuli, Nabaasa, LatterDay Saints (Abamormoni) n'abalala bangi abaali ng’abo, ensi erowooze nti bali naffe!” Serwadda bwe yannyonnyodde.

 “ Ekikwekweto kya ‘Operation Clean House’ twakikola mu 2005 era kyatambula bulungi, twali tutegese okukikola okulwanyisa ebikolobero era twakikola.

Nga bwe walaba Operation Wemble ne kino kyalina okumala omwaka gumu naye kyawangaala ne kiweza omwaka gumu n’ekitundu.

Omuntu ekintu waakitegeeredde waalina okutandikira, ekyo Serwadda ky’akola yalina okukikola emyaka 11 emabega, kyokka nga bwe bagamba nti waakiri otandika ekikeerezi okusinga lw’otakolera ddala sikirinaako buzibu.” Kiganda bwe yagambye.

NABBI KAKANDE AYANUKUDDE:

Grace Kembabazi omukwanaganya w’abantu ab’ebweru n’abomunda mu Synagogue Church Of All Nations ewa Nabbi Samuel Kakande yategeezezza nti bo tebalumbaganya muntu kubanga Katonda abantu abakozesa mu ngeri ez’enjawulo era ayinza okubeera nga yasalawo okukozesa Serwadda mu ngeri eyo.

Okubeera nga batimba ekifaananyi kya Nabbi Obiri, agamba nti buli alokoka abeerako amubuulidde enjiri kale bw’atyo ayinza okusalawo okutimbaekifaananyi kye mu ngeri ey’okumujjukira era bw’atyo ne Kakande gwe mutima mw’atimbira ekifaananyi ekyo mu kkanisa.

Wabula yeewuunya lwaki omuntu nga muweereza wa Katonda ate yandibadde alingiriza ewa munne ku bitamukwatako kubanga ye muntu so si Katonda era annyonnyola nti Katonda agoberera mitima okulamula omuntu so si ebyo ebirabika ku ngulu.

ABASUMBA ABALINA OBUBONERO SERWADDA BW’ANNYONNYODDE:

• Nabbi Kakande owa Synagogue Church Of All Nations ku bbiri, agabira abagoberezi be amazzi ag’omukisa n’okutimba ebifaananyi bya John Obiri Yeboah. 

• Brother Ronie Makabai ow’ekkanisa ya ETMku lw’e Salaama atimba emisubaawa.

• Omugezi Godfrey Lule yayambalanga amaganduula era y’omu kw’abo Male be yalwanyisanga.

• Nabbi Bishaka Owobusobozi n’abagoberezi be tebambala ngatto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebyennyanja ebibissi ku kyoto.

Okukalirira ebyennyanja kul...

BW'OBEERA omumalirivu ate ng'olina ekiruubirirwa omulimu ne bwe guba omuzibu osobola okugukola n'oguggyamu ssente....

Donald Trump.

Ngenze naye nkomawo - Trump

DONALD Trump 74, abadde Pulezidenti wa Amerika owa 45 oluvannyuma lw'okuteeka eggwanga eryo ku bunkenke okuva mu...

Omugenzi Bp Kaggwa.

Bp. Kaggwa afudde corona

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona. Fr. Ronald Mayanja omwogezi...

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...