TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bakirimaanyi 2 abafuga ensi bassiddwa ku minzaani

Bakirimaanyi 2 abafuga ensi bassiddwa ku minzaani

Added 1st March 2017

Putin owa Russia aleebya Trump ekisusse mu bugagga

 Trump ne Putin ku minzaani

Trump ne Putin ku minzaani

Bya MUSASI WAFFE ABAGAGGA n’abagagga baagalana, njogera y’Abaganda etuukira obulungi ku basajja emmekete Vladimir Vladimirovich Putin, 64, ne Donald John Trump 70, abafuga ensi zikirimaanyi Russia ne Amerika. Tewali kubuusabuusa, Putin ne Donald be basajja abafuga ensi yonna mu kiseera kino olw’obuyinza bwe balina n’Obwakirimaanyi bw’ensi zaabwe mu byenfuna, eby’ekijaasi, tekinologiya , ssaayansi na buli kimu. Wabula enkolagana yaabwe esukka awo n’egendako munda ddala kubanga bombi okufaananako ng’ekirevu n’enviiri balina ekibagatta Abaganda kye baalaba nti kiyisa ekirevu ku bisige ne kigenda kyegatta ku nviiri eziri ebunaayira. Ekigatta Putin ne Trump, bwe bugagga mwe beegiriisizza nga wakati waabwe bombi (Putin ne Trump) balina ebyobugagga ebibalirirwa okusukka mu ddoola za Amerika obuwumbi 200, mu ssente eza Uganda obuwumbi 700,000 nga zino ssente zisobola okusasulira bajeti ya Uganda ey’obuwumbi 26,360 n’obukadde 451 ey’omwaka 2016/17 okumala emyaka 25 be ddu AMENYEWO ABABADDEKO BAPULEZIDENTI Trump bwe yalayiziddwa nga January 20, 2017 okukulembera Amerika, bijodolo ono yataddewo ekyafaayo ng’omuntu akyasinze obugagga mu bapulezidenti bonna 45 abaakafuga Amerika. George Washington, Pulezidenti wa Amerika eyasooka nga yafuga wakati wa 1789 to 1797 y’abadde alina likodi ng’omusajja akyasinga mu ba Pulezidenti ba Amerika okubeera omugagga ffugge kyokka Trump yamumenyewo. Ebbanga lyonna, okuviira ddala mu kamyufu k’ekibiina ky’aba Republican, ne mu kampeyini ez’obwapulezidenti n’okutuusa kati emikutu gy’amawulire mu nsi yonna gikyasukkulumya Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump ng’omusajja omugagga ffugge. Wabula bombi , Trump ne Putin bassiddwa ku minzaani ng’ebyobugagga byabwe byanaamiriza!. Emikutu gy’amawulire ogwa Forbes ne Bloomberg gyakoze okunoonyereza ku by’obugagga bwa Putin ne Trump ne kizuulibwa nga bombi bali mu nsi yaabwe. Wadde ng’omuntu omutongole amannyiddwa mu nsi yonna nti y’asinga obugagga ye Bill Gates owa kampuni ya ‘Microsoft’, ng’ebyobugagga bye bizitowa ddoola za Amerika obuwumbi 75 ( mu ssente za Uganda bwe buwumbi 262,500), aba Forbes ne Bloomberg bakkiriziganyizza nti ebyobugagga bya Putin bikubisaamu obugagga bya Bill Gates emirundi kumpi esatu. Putin abalirirwa okubeera n’ebyobugagga ebikunuukiriza mu ddoola obuwumbi 200 ( mu za Uganda obuwumbi 700,000) songa Trump alina eby’obugagga bya ddoola obuwumbi busatu n’obukadde 700 ( mu ssente za Uganda obuwumbi 12,950). Aba Forbes baalaze nti obugagga bwa Putin abukoze mu mafuta ne Ggaasi songa Trump, ssente ezikoze mu by’amayumba, wooteeri n’ebifo ebyokwewummuza. EBIZIMBE BY’ALINA Trump yategeeza mu 2015 nti alina ebizimbe galikwoleka 168 mu nsi ez’enjawulo mu Amerika, Bulaaya ne Asia. Ku by’obugagga ebikalu, Trump yategeeza mu kiseera ekyo nti alina ssente enkalu ddoola obukadde 320 ( mu za Uganda 11,200,000,000,000) mu banka ez’enjawulo. Trump alumiriza nti ebyobugagga bye byonna bibalirirwamu ddoola obuwumbi 10 (mu za Uganda bwe buwumbi nga 35,000) n’ategeeza nti abo aba Forbes ne Bloomberg badongwa budongwa.   PUTIN TAMANYI TRUMP MU BUGAGGA Wadde Trump mugagga ffugge , Putin ye ali kiti kikye! Aba Forbes baakola okunoonyereza mu 2007 ng’ebyogugga bya Putin bibalirirwamu doola obuwumbi 40 ( mu za Uganda obuwumbi 140,000) kyokka mu myaka kkumi egiyise, ebyobugagga bya Putin byekubisizzaamu emirundi etaano nga kati azitowa ddoola obuwumbi nga 200. Obugagga, Putin abukoze mu makampuni ag’enjawulo g’alinamu emigabo agasima n’okutunda amafuta ga ggaasi ebya gavumenti ya Russia. Omukugu mu by’ensimbi mu Russia, Stanslav Belkovsky yategeezezza gyebuvuddeko nti Putin alina emigabo ebitundu 37 ku 100 mu kkampuni y’amafuta eyitibwa Surgutneftegaz, gattako n’emigabo 4.5 ku 100 mu kkampuni ya ggaasi eyitibwa Gazprom. Putin era alina emigabo ebitundu 20 ku 100 mu kkampuni y’amafuta endala eyitibwa Gunvor ng’eno yali ya Gavumenti kyokka Putin n’agiguza mikwano gye. Kkampuni eno eyingiza ensimbi ezisoba mu ddoola obuwumbi 90 buli mwaka okusinziira ku katabo aka TIME. Belkovsky yagambye nti ssinga si nkola y’aba Forbes obutassa bannabyabufuzi naddala bannakyemalira ku lukalala lw’abagagga abasinga mu nsi yonna, Putin ye yandibadde akwata ekifo ekisooka ku lukalala luno nga tamanyi ba Bill Gates ne Amancio Ortega. Ebimu ku by’obugagga bya Putin mulimu emmeeri ez’obwannannyini nnya , ennyonnyi ezisoba mu 50, embiri 20 mu Russia n’amawanga ag’enjawulo wabula nga byonna bikuumibwa nga bya kyama. OLUBIRI LWA PUTIN OLW’OBUWUMBI 2,500 Ennyumba ya Putin ya buwumbi 2,500. Mu by’obugagga bwa Putin by’alina tukuleetedde ennyumba ey’ebyewuunyo gy’alina ku lubalama olwa Black Sea ebalirirwamu ddoola akawumbi kalamba ( mu za Uganda obuwumbi 2,500). Luno lubiri lulamba nga lusangibwa e Praskoveevka mu kitundu ky’e Gelendzhik, ku Black Sea, okumpi n’ekitundu Crimea, Putin kye yakutudde ku Ukraine mu lugezigezi n’akigatta ku Russia. Abamanyi eby’omunda bagamba nti olubiri luno lwatandika okuzimbibwa mu 2005 ng’ekisanja kya Putin ekyokubiri nga Pulezidenti wa Russia kibuzaayo emyaka esatu kiggweeko mu 2008 . OKWANIKA PUTIN Ssente zonna ezaakozesebwa okuzimba olubiri luno zaali za gavumenti nga kigambibwa nti Putin yakozesa obuyinza bwe nga Pulezidenti okwezimbira ennyumba ye ey’obukadde. Ebikwata ku nnyumba eno byali tebimanyiddwa wabula nnagagga w’omu Russia, Sergei Vladimirovich Kolesnikov ye yasanguza ekyama bwe yawandiikira eyali Pulezidenti wa Russia mu 2010, Dmitry Medvedev ng’amutegeeza ebikwata ku nnyumba eyo. Ebbaluwa ya Kolesnikov gye yawandiikira Medvedev yafulumizibwa ne mu mawulire aga Washington Post ag’omu Amerika nga Kolesnikov eyali nfanfe wa Putin attottola akawunvu n’akagga ku bikwata n’ennyumba eno gye baakazaako ‘Project South’, oba ‘ Putin’s Palace’. Nnaggagga Kolesnikov , nga kati ali ku mawanga mu Bulaaya gye yaddukira oluvannyuma lw’okusowagana ne Putin agamba nti ssente akawumbi ka ddoola ezaazimba olubiri luno, ezisinga zaava butereevu mu gavumenti, endala nguzi eyaweebwa Putin bannagagga ab’omu Russia omuli n’omugagga Roman Abramovich, nnannyini kiraabu y’omupiira mu Bungereza eyitibwa Chelsea. Olubiri luno luli ku bwaguuga bw’ettaka bwa 74 hectares (Yiika 182) okumpi ku lubalama lwa Black Sea. Abaali batuseeko ku lubiri luno bagamba nti lwanaamiriza kubanga terukoma ku kubeera bwaguuga wabula buli ekiruliko kya byewuunyo. Lwebunguluddwa ebibira ebizijjagavu mu mbiriizi n’emabega ate mu maaso lutunudde mu Black Sea. Luliko ebisaaawe bisatu eby’ennyonnyi nnamunkanga, ekisinge ekinene kya Cinema, ekifo okuzannyirwa beetingi ekiyitibwa Casino’, ebidiba ebiwugirwamu bina, ebifo mwe bakolera Dduyiro ekiyitibwa ‘Gym’ , ebisaawe eby’emizannyo nga Basketball, ttena ey’oku ttaka, n’emizannyo emirala. Olubiri luno lulimu ebisenge 76 ebisinga obunene ebya wooteeri ez’ebbeeyi eziri ku mitindo ogw’ensi yonna, ng’omuntu bw’aba ayingidde mu kisenge ekimu ku byonna, teyeetaaga kufuluma kubanga mulimu ebinaabiro, kaabuyonjo, effumbiro, n’ebiwummuza ebirowoozo n’ebyokwebeesabeesa. Olubiri luno lukuumibwa butiribiri nga kigambibwa nti mu bibira ebirwebunguludde mulimu emizinga egitunudde erudda n’erudda wamu n’emmeeri ennwaanyi eziseeyeeyeza mu Black Sea.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...