TOP

Eno y'ekkanisa eyazimbibwa ku lwazi?

Added 6th March 2017

Mu kunoonyereza kwe twakola twakizuula ng’ekyapa ky’ekkanisa yaffe kye twateresa Namirembe nga kiri mu mannya ga Native Anglican Church Mutungo, waliwo abantu abaakikyusa ne bakizza mu mannya ga Real Choice Uganda Limited!

 Kkanisa ya St. Barnabas eri ku kalebwerebwe.

Kkanisa ya St. Barnabas eri ku kalebwerebwe.

Bya PATRICK TUMWESIGYE

ERA nkugamba nti: Ggwe Petero, era ku lwazi luno kwe ndizimba ekibiina kyange, era enzigi z’emagombe tezirikiwangula. (Matayo16:18).

Ekkanisa ya St. Barnabas e Lweza ddala yazimbibwa ku lwazi nga luno oba obulamu bw’Abaristaayo buli mu matigga.

Bw’ogituukako nga tewali muntu osooka kwebuuza oba baagyabulira naye ate ku lunaku lwa Ssande bw’otuukawo tolemwa kwekanga nti bano Abakristaayo kkanisa teeyabukkuke n’ebagwira.

Oluguudo lwa Entebe express lwatwala ekitundu ku lubalaza. lw’ekkanisa

 

Wano atwala poliisi y’e Kajjansi Hillary Mukiza w’ayongerera okubalabula okulekera awo okusinzizaamu okwewala ebiyinza okuddirira naddala nga kati enkuba etandise okufuddemba.

Bo Abakristaayo mu kkanisa eno bagamba nti okutuusa nga Namirembe ebatwala ebaweerezza omutemwa ogwava ku ssente ezaabasasulwa ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA abaayisa oluguudo lwa Ntebe Express kumpi ku lubalaza lw’ekkanisa yaabwe, si baakulekayo kusinzizaamu.

Kkanisa ya St. Barnabas Church of Uganda eno eri ku kkubo erikolebwa erya Ntebe Express nga lino liyitamu okutuuka e Munyonyo, kyokka si ye yokka eri mu buzibu wabula n’eya All Saints Church Of Uganda esangibwa e Mutungo Kitiko nga nayo oluguudo lwe lumu luno olukolebwa kkampuni y’Abachina eya Chinnese Communication and Construction Company (CCCC) lugiyitako.

Ekkanisa zombi zino zaalina okusengulwa naye Abakristaayo bagamba nti okusigala nga basabiramu, kivudde ku kubeera nti bakama baabwe e Namirembe tewali nteekateeka yonna gye baabakoledde okuzimba ekkanisa endala newankubadde ng’abakungu abo baakwatagana ne UNRA ne bagiragira ssente zisasulwe ab’e Namirembe mu kifo ky’okusasulwa amakanisa so nga be bavunaanyizibwa okuzimba amakanisa gaabwe.

Kkanisa ya All Saints e Mutungo yaakumenyebwa.

 

Bwe baali bakola ekkubo lino, Abachina baasala ettaka okuyitira ddala ku kkanisa ya St. Barnabas kyokka oluvannyuma abagezigezi baakozesa omukisa guno ne basima amayinja nga bwe bagatunda.

Mu kukola kino, baayongera okusima ekkanisa wansi ekigifudde ey’obulabe.

Embeera eri ku kkanisa ensangi zino, bw’ogattako enkuba etandise okuttonnya tolema kweraliikirira nti ettaka lyeyongera okunafuwa ekiyinza okugisuula sinnakindi ng’endiga za Katonda ziri mu kusinza.

Atwala poliisi y’e Kajjansi Hillary Mukiiza agamba: Abantu mbalabudde enfunda eziwera era n’ab’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyabawandiikira ebbaluwa nga kibayimiriza okusinziza mu kkanisa eyo olw’embeera gy’erimu wabula baagaana okuwuliriza.

N’abo abaali basimayo amayinja twabayimiriza lwa kutya binaddirira era bbo baalekerawo”.

Juliet Ssebuggwawo omu ku batuula ku kakiiko k’ekkanisa eno agamba: Omutemwa ab’e Namirembe gwe baatusuubiza okuliyirira ekkanisa eno gwatuweereddwa newankubadde tezinnatuuka ku akawunti za kkanisa yaffe era kati tutandise enkiiko z’okusala amagezi okulaba nga tuzimba”.

Waliwo ekitundu ku ttaka ly’ekkanisa eryasigala ekyemanga eriwerako yiika bbiri webagenda okuzimba ekkanisa nga bafunye ssente era kati ba yinginiya bali mu kubalirira okulaba ssente ezetaagisa okuzimba ekkanisa empya.

Ebyo nga bikyali awo, Abakulisitaayo mu kkanisa ya All Saints Church Of Uganda e Mutungo Kitiko nabo bakukkulumira abakulu e Namirembe olw’okwekomya ssente z’okuliyirira ekkanisa yaabwe kyokka nga tebagenda kubazimbira wadde okubagulira ekifo we bagenda okussa ekkanisa endala.

Abakristaayo ku kkanisa eno balumiriza abakulu b’e Namirembe okubasalira amagezi ne babagaana okugoberera ensonga z’okuliyirira ekkanisa yaabwe ne babasaba babibalekere bbo bateese n’ab’ekitongole ky’enguudo (UNRA) nabo kye baakola wabula bagenda okuddamu okuwulira nti ab’e Namirembe baasalawo ssente zidde ku akawunti zaabwe.

 

Akulira abakulisitaayo ku kkanisa eno Ying. Jerimaya Isabirye agamba: Ettaka ekkanisa yaffe kwetudde lyawebwayo eyali mutuuze munnaffe Jonathan Muserebende era Abakristaayo ne beesonda okuzimba ekkanisa eno.

Olw’okwagala obulambulukufu, twasalawo okutwala ekyapa e Namirembe bakitereke.

Aba UNRA bwe baatutegeeza nti baali baakusenda ekkanisa yaffe, ng’abakulira ekkanisa eno twagezaako okubirondoola kyokka ab’e Namirembe abakulira ensonga z’ettaka ne batuyimiriza era tebaddamu kutuwa mawulire gonna.

Tugenda okulaba nga batandise okusenda nga tebatutegeezezza na ssente mmeka ze bagenda kutuliyirira.

Bwe twagenda mu kitongole ky’enguudo ne batugamba ng’abakulu okuva e Namirembe bwe baali bassaako dda emikono era baali baasalawo ssente zigende ku akawunti yaabwe nga ffe aba All Saints Church e Mutungo tetulinaako mutemwa.

Mu kunoonyereza kwe twakola twakizuula ng’ekyapa ky’ekkanisa yaffe kye twateresa Namirembe nga kiri mu mannya ga Native Anglican Church Mutungo, waliwo abantu abaakikyusa ne bakizza mu mannya ga Real Choice Uganda Limited!

Bwe twagezaako okutuukirira ab’e Namirembe okubabuuza ku by’okukyusa ekyapa kyaffe, tebalina kye baatunnyonnyola.

Twasalawo okuwandiikira aba UNRA nga tubayimiriza okusasula Namirembe ssente basooke batereeze ensonga zino.

Ebbaluwa eno yawalirizza abakulu okuva e Namirembe okuyita olukiiko lw’Abakristaayo ku kkanisa eno wabula tewali kyamakulu kyava mu lukiiko luno”.

Akulira okubunyisa enjiri n’ebikwekweto ebirwanyisa sitaani e Namirembe Rev. Samuel Muwonge agamba:

Kkanisa yonna ebeera wansi w’Obulabirizi bw’e Namirembe kale ssente zirina kugenda ku akawunti y’e Namirembe kuba gavumenti ekolagana ne Namirembe so si bantu.

Abo abaagala ssente zigende ku akawunti y’ekkanisa, balabika balina ekigendererwa ky’okubba ssente zino bazimbeko akakanisa akatono olwo ezinaasigalawo bazirye.

Mbasaba babe bagumu ssente bwe zinaatuuka ku akawunti tujja kubayita tuzibawe ate bafube okulaba nga bazikozesa ekyo ekisaanidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...