TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emyaka ebiri kasookedde Namanda attibwa, bba Kakaire ayolekedde okuyimbulwa

Emyaka ebiri kasookedde Namanda attibwa, bba Kakaire ayolekedde okuyimbulwa

Added 7th March 2017

JUSTINE Namanda eyali omusuubuzi w’engatto ku Container Village mu Kampala abaamutta boolekedde okuyimbulwa olwa famire okudda mu kugujubanira emmaali ne batafaayo kulondoola musango.

 Namanda ng'akyali mulamu ne Kakaire nga bwafaanana kati. Asiidi eyatta Namanda naye yamuyiikira.

Namanda ng'akyali mulamu ne Kakaire nga bwafaanana kati. Asiidi eyatta Namanda naye yamuyiikira.

Bya Joseph Makumbi

JUSTINE Namanda eyali omusuubuzi w’engatto ku Container Village mu Kampala abaamutta boolekedde okuyimbulwa olwa famire okudda mu kugujubanira emmaali ne batafaayo kulondoola musango.

Khasim Kakaire 47, eyali bba yasindikibwa mu Kkooti Enkulu etannatandika kuwulira misango ebiri ogw’okutta Namanda n’okugezaako okutta omwana we (gwe baali bava okutuuma amannya) kyokka alabika ng’emikisa gye egy’okuteebwa giri waggulu olwa famire okutandika okwerumaaluma n’abajulizi obutabeera beetegefu kumulumiriza.

Ivan Namanya (ku kkono) ne Farouq Walusimbi abavunaanibwa ne Kakaire okutta Namanda.

 

Khasim Kakaire naye eyali omusuubuzi w’engatto ku Container Village mu Kampala, yalumirizibwa okupangira mukazi we (Namanda) abajambula ng’ayita mu Farouk Walusimbi bamuyiire asidi kyokka olw’ettamiiro eryabaliko ku lunaku lwa November 16, 2014 lwe baalina okukola omulimu, ne mukama waabwe baamutwaliramu.

Okusinziira ku byazuuka oluvannyuma lw’okuyiira Namanda asidi, Kakaire yali yasinga ennyumba yaabwe ey’amaka ku kyalo Namavundu mu Wakiso mu bbanka ya Equity ne yeewola ssente wabula nga tayagala mukazi we akitegeere.

Bwino omulala yajja nti Kakaire yali apanze olukwe abantu balowooze nti waaliwo abettima abaali babalondoola abaayiira mukazi we asidi kyokka Ivan Namanya eyayiwa asidi n’ayasa ebyama nti Kakaire ye yali abaguze.

Farouk Walusimbi, bwe baasibwa mu sitatimenti gye yakola ku poliisi y’e Kira, yalumiriza Kakaire nti yamugamba ayagala kuyiira mukazi we (wa Kakaire) asidi kyokka ye n’amugamba nti tasobola mulimu kugukola yekka wabula alina omusajja gw’amanyi, Kabootongo eyali ayinza okugutuukiriza bulungi.

Nassiwa muwala w’omugenzi y’ali mu dduuka okunoonyeza bato be fiizi.

 

Agamba nti, yafuna Kabootongo n’amukwataganya ne Kakaire ne bakkiriziganya 2,000,000/- era Kakaire n’atumya asidi mu kadomola ka liita ttaano okuva e Masaka.

Kakaire yapanga olukwe n’asalira Namanda amagezi n’amuteeka mu mmotoka n’amutwala mu kyalo e Busoga okutuuma omwana gwe yali yaakazaala amannya.

Kabootongo, Walusimbi ne Namanya baali bakkiriziganyizza ng’omupango gwabwe ogw’okuyiira Namanda asidi bwe balina okugukola nga mmotoka (ya Kakaire ne Namanda) etuuse ku luguudo lwa Northern Bypass era ekyakolebwa.

Kakaire eyali mu mmotoka yali ategeezezza banne buli we baali batuuse era bodaboda kwe baali, yatandika okugoberera mmotoka okuva mu bitundu by’e Bweyogerere okutuuka ku Northern Bypass we baamaliriza misoni.

Akadomola ka asidi baakakwasa Namanya eyali atamidde era mu kuziringitana ng’ayiwa asidi, yatwaliramu omugagga, Namanda ne kamuyiwa yennyini era poliisi bwe yamukwata n’ayogera olukwe lwonna nga bwe lwali.

Wadde nga poliisi obujulizi bwonna abasibe bwe baawa mu sitatimenti ze baakola yabuzuula nga bwandibeera obutuufu, Kakaire asekera mu kikonde era afuuyirira kanwe famire esigale mu kwerumaaluma baleme kugenda mu kkooti.

Namanda yatwalibwa mu ddwaaliro e Mulago mu kasenge omujjanjabirwa abalwadde abayi n’amalayo emyezi esatu era nga February 21, 2015, yafa wabula nga naye yali alumiriza Kakaire nti ye yakola olukwe.

MUSANGO MWANGU NAYE GUSOBOLA OKUFA -munnama teeka

Munnamateeka Joseph Luzige, Namanda gwe yali apangisizza okumuwoleza omusango agamba:

Obuzibu obusinga okuzingamya ensonga za Namanda bwava ku famire. Bwe yafa aba famire ya bba baasooka ne baagala okweddiza obuyinza.

Omuntu aba awadde looya omulimu bw’afa, looya aba takyalina ky’ayinza kukola okuggyako ababa basigazza obuvunaanyizibwa ku bintu by’omugenzi basobola okugenda mu ofiisi ekola ku nsonga z’abafu n’ebaddiza obuyinza.

Abenganda baatandika okusika omuguwa nga balwanira ebintu ebitonotono omugenzi bye yaleka wabula abooluganda lw’omwami wa Namanda eyasooka ne babategeeza nti bo omusango baali bajja kugugoberera.

Ku ssaawa eno, ffe nga balooya twasigala kutunula butunuzi mpozzi n’okuyamba ku bawaabi ba Gavumenti abali mu musango.

Waliwo ssente omugenzi ze yaleka abanja n’endala nga ziri ku akawunti ye n’ennyumba ebyo aba famire bye baatandika okulwanira ate nga famire y’omwami wa Namanda eyasooka baali batugambye nti omusango bajja kusobola okugutambuza.

Looya Luzige bwe yali annyonnyola abasuubuzi mikwano gy’omugenzi.

 

ENGERI KAKAIRE GY’AYINZA OKUTEEBWA

Luzige agamba: Emikisa mingi nti omusango guyinza okufa abajulizi be baawa oludda lw’omuwaabi wa gavumenti bwe baba tebagenze mu kkooti kuwa bujulizi.

Kitera okubeera ekizibu okumatiza omulamuzi nti omuwawaabirwa omusango ye yaguzza”.

NAMANYA NE WALUSIMBI  BAAKULUMIRIZA KAKAIRE

Bombi bano bwe baasimbibwa mu maaso g’omulamuzi Flavia Nassuuna owa kkooti y’e Nakawa omusango baagukkiriza era ne basindikibwa mu Kkooti Enkulu mu maaso g’Omulamuzi Elizabeth Nahamya n’abasalira emyaka 25.

Bano, ekibonerezo kino si kye kyali kiteekeddwa okubaweebwa wabula olw’okuba bakkiriza okuyamba Gavumenti mu musango guno, baabasalira emyaka 25 era be bamu ku bajulizi ba Gavumenti.

Okusinziira ne ku sitatimenti naddala eya Walusimbi, oludda oluwaabi lukakasa nti bajja kuluyamba okusingisa Kakaire omusango gw’okutta mukazi we Namanda.

AMAKA GA Namanda GAATUNDIBWA

Okusinziira ku nsonda ku kyalo Namavundu awasangibwa ennyumba Namanda gye yali azimba, bbanka ya Equity yagitunda okuggyayo ssente zaayo Kakaire ze yali yeewoze.

Looya Luzige agamba nti mu kusooka bbanka yali teyagala kutunda nnyumba ng’eyagala aba famire bateese engeri gye bagenda okusasulamu ebbanja lyayo era ng’obuvunaanyizibwa yali ebukwasizza kkampuni ya Excel Bailiffs & Auctioneers.

Mu 2015 Namanda we yafiira ebbanja lyali lituuse mu 59,645,789/- era nga bbanka yali egibaliridde 70,000,000/- nga bwe baba baagitunda mu 2015, famire yali yaakufuna 11,000,000/- ezaali zifikkawo’.

We twatuukidde ku nnyumba nga tewali muntu abeerawo kyokka ng’eraga nti egenda n’erongoosebwa era abamu ku baliraanwa baatutegeezezza nti waliwo mmotoka ez’ebbeeyi ze baalabako gye buvuddeko nga zikyamawo ne balambula ennyumba.

ABAANA BE BADDUKANYA BIZINENSI

Okufa kwa Namanda kwakuba ekituli eky’amaanyi mu bizinensi ye era eyali egezze ng’alina ne sitoowa mw’atereka emmaali ye, yasigaza dduuka limu muwala we omukulu Carol Nassiwa eyatudde S6 omwaka oguwedde ly’addukanya.

Nassiwa agamba: “Omusango nagulekera muwaabi wa gavumenti, nasigalira kutambuza bizinensi na kunoonya ssente zituweerera”.

Namanda yaleka abaana bataano okuli aba Henry Sserwadda basatu n’aba Kakaire babiri okuli Shanita Kwagala ne Sulaiman Menya Mugagga gwe baali bava okutuuma erinnya bamale babayiire asidi.

Nassiwa ne banne babeera ne ssengaabwe, Nnaalongo Betty Nakimbugwe mwannyina wa Sserwadda Namanda gye yasooka okufumba era ono y’abaweerera oluvannyuma lwa Namanda okumulaamira nti y’aba asigaza abaana be.

Nassiwa yagambye nti, ssengaabwe ono y’amuyambako n’okuddukanya bizinensi naddala mu bintu by’okusuubula, okubala ebitabo n’okusasula emisolo gya KCCA ne URA.

Ennyumba y’omugenzi Namanda eyavaako akabasa eyatundiddwa.

 

FFE OMUSANGO TWAGUVAAKO - mikwano gy’omugenzi

Mikwano gya Namanda gyagezaako okulondoola omusango okukakasa nti mukwano gwabwe teyeefiira kyokka baatuuka ekiseera ne babivaako.

Ramathan Mweru omu ku gyali mikwano gya Namanda abaali bagoberera omusango yagambye nti, okuva ebintu lwe byajjamu enkaayana wakati w’omukuza Rose ne looya Luzige ku nzirukanya y’omusango twabivaako ne looya n’abiggyamu enta.

Aba famire ya Sserwadda ebyenfuna byabatwalira obudde mu kifo ky’okufa ku musango naffe ne tusalawo okubibateera.

Wadde twabivaako naye okututetukuggyayo era tuwulira ebiba bifuddeyo nga ne kkooti lwe yasalira Namanya ne Walusimbi, amawulire twagafuna.

Aba famire bwe babeera bo tebafuddeeyo nze ow’ebbali mba sirina ngeri gye nnyinza kulemera ku musango kuba ne Kakaire ayinza okulowooza nti mmuwalana.

 

Abasajja abazze abaagalwa baabwe

1 December 2008: Eyali 0mubaka wa Arua Akbar Godi yakuba mukazi we Rehema amasasi agaamuttirawo e Mukono ku lw’e Bugerere oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya era omulamuzi Lawrence Gidudu ow’e Mukono n’amusiba emyaka 25.

2 July 24, 2010: Apollo Nyangasi eyali akulira ekibiina ekigatta abasawo yatta mukazi we Christine Dambio Nyangasi.Yamuttira Kireka Zooni B mu Kira Munisipaali.

3 April 20,2008: Eyali aduumira poliisi y’e Mukono James Aurien yakuba mukazi we Christine Apolot amasasi agaamuttirawo era kkooti n’emusiba emyaka 24.

4 January 17,2000, Omuyindi Sharma Kooky yatta mukazi we Joshi gwe yatulugunya ennyo ku Martin Road mu Kampala era kkooti n’emusalira ekibonerezo kya kumuwanika ku kalaba kyokka oluvannyuma lw’emyaka 12 Pulezidenti Museveni n’amuddiramu.

5 Wakati wa January 18 ne 30, 2010 e Bukasa, Makindye: Omuvubuka Tom Nkulungira amanyiddwa nga Tonku ng’ali n’omukozi we Fred Ssempijja yatta muganzi we Brenda Karamuzi era kkooti yamukaliga kalabba.

6 December 10, 2012: Lance Cpl. Herbert Rwakihembo yatta mukaziwe Irene Namayumba n’abakazi abalala babiri ng’entabwe eva ku kumuteebereza bwenzi.

7 October 29, 2012, Omujaasi wa UPDF Robert Muhumuza eyali yaakava e Somalia yatta mukaziwe Doreen Nakiryowa ow’e Mbarara ng’amuteebereza obwenzi.

8 May 2, 2009: Pvt. Nicholas Mucunguzi yakuba amasasi mu bbaala ya Top Pub ku luguudo William n’atta abantu 7 okwali n’omuwala gwe yali aganzizza, oluvannyuma naye ne yeekuba amasasi n’afiirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...