TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Obuvunaanyizibwa Mutebi yabutandika muto n'ataba ng'abaana abalala'

'Obuvunaanyizibwa Mutebi yabutandika muto n'ataba ng'abaana abalala'

Added 6th April 2017

Mutebi yali mwana mugimu ddala, nga munene era eyeegombesa okulaba n'okusitulamu.

 Ssaanataka Mutebi ne muto we Omulangira David Wassajja

Ssaanataka Mutebi ne muto we Omulangira David Wassajja

Bya VIVIEN NAKITENDE  

JOYCE Nabbosa Ssebuggwawo,  y'omu ku bantu abatono abaalaba ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga muto.

Yanyumizza nti: Okusooka okulaba ku Mulangira Mutebi  nali nsoma siniya ku Lubiri SS nga yaakazaalibwa, era namulabira mu Lubiri mu  Twekobe enkadde, nnyina omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole gye yabeeranga.

Yali mwana mugimu ddala,  nga munene era eyeegombesa okulaba n'okusitulamu.

Yalina omukyala eyali amulabirira wamu ne nnyina Sarah, nayagala nnyo okumusitulamu nga bbebi naye tekyasoboka anti Abalangira baabakugiranga nnyo abantu abangi.

Nnyina Sarah Kisosonkole yayagala nnyo omulangira Mutebi nga buli kaseera abeera asituddwa era nga kizibu okumusanga ng'akaaba.

Mu Lubiri nalinayo mikwano  gyange Abambjeja b'e Toro okwali; Mable, Bagaya ne Margaret abaabeeranga mu Lubiri,  kale nagendangayo buli kaseera okubalabako ne nfuna akakisa akaalabanga ne  ku Mulangira Mutebi.

Teyateranga nnyo kulabikalabika mu bantu, nga bamuggyayo bwa lumu, era bwe yakulamu n’atwalibwa e Bugangaizi okusoma, ate bwe baamuggyayo n’atwalibwa e Budo gye yava okugenda e Bungereza okusoma.

Omulangira ngali ku Muteesa House e London

 

Mu Lubiri, omulangira Mutebi baamuwa okulabirrwa okw'enjawulo, nga ne bw’oba mugenyi omanyirawo nti omwana ono si waabulijjo.

Bwe yagenda ebweru,  ate era naddamu ne mmusisinkana, nga mbeera  wa jjajja wa Mutebi eyayitibwanga Nakazaana.

Omulangira Mutebi yateranga okujja okukyalira ku jjajjaawe  ne nziramu okumwota obuliro.

Yali musirise,  nga tabeera mu binyumu era ng'alwawo okuvaamu ekigambo, ate kitaawe Muteesa  bwe yakisa omukono, Mutebi baatandika okumukugira ebintu bingi olw'ebitiibwa bye yali atuuseemu okuddira kitaawe mu bigere.

Nga tosobola kumusanga mu binyumu, ng'agenda ku mikolo egyo gyokka gy'aba ayitiddwaako mu butongole.

Olw'okuba yafuuka Kabaka ku myaka emito, embeera ze yakula za kikungu ddala era nga yeeyisa kikungu wadde yali akyali muto.”

Tofiri Malokweza Kivumbi, eyali Kaggo w'essaza ly'e Kyaddondo agamba;  Mutebi namulabako ng'akyali muto, yali  musanyufu era ng'amwenya.

Naddamu okumulaba ng'akomyewo akuze okuva e Bungereza.

Ebiseera we nalabira ku Mutebi,  yali bbujje ddala era  nga tekinnamanyika nti y’anaabeera Kabaka.

Nalina Kitange omuto eyayitibwanga Kavuma, omu ku baavuganga Muteesa okugenda e Ndaiga okuyigga.

Muteesa yayagalanga nnyo okugenda e Ndaiga  okulaga abantu baayo nti abaagala, tabasuuliridde.

Era yasalawo azimbeyo Olubiri  n'okuyiggirayo.

Oluusi kitange ono Kavuma bwe yabanga tavuze Muteesa II,  ng'atwalayo ebintu ebyakozesebwanga mu kuzimba Olubiri.

Nange oluusi nayitangako mu Lubiri okulaba ku kitange ono, wano we nafunira omukisa okulaba ku Mulangira Mutebi, yali muto nga tannaweza mwaka, ng'ali n'abakyala abaalabiriranga Abalangira n'Abambejja  mu Lubiri.

Yalinga Abalangira abalala bonna naye ng'ayagalwa nnyo,  we namulabira yali asituddwa omukyala w'omu Lubiri, nga mwana mugimu ate omusanyufu.

Akaliba akendo, okalabira ku mukonda n’Omulangira Mutebi obukulembeze yabutandikirawo ng’akyali muto nga ne kitaawe Muteesa akyalamula.

Bwe yali aweza egy’obukulu mukaaga gyokka, yalagira abasibe ne bateebwa.

Omutaka Tofiri Malokweza abadde Kaggo okutuusa wano jjo ly’abalamu, yaliwo nga kino kikolebwa era ebyaliwo kw’olwo abijjukira nga ebyabaddewo eggulo anti anyumya nti: ‘Omulangira Mutebi namulaba akyali muto, era olumu Kabaka Muteesa yagenda okulambula e Mawogola n’agenda ne Mutebi ng’akyali muto ng’aweza emyaka nga mukaaga.

Nga bali eyo e Mawogola Mutebi yatambulako mu luggya n’alaba abasibe kwe kubuuza nti, “Ate bano bakola ki wano?”

Bwe baamugamba nti abo basibe, ko ye nti, “Lwaki tebabasumulula”?

Kino kyavaako abasibe abo okuteebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...