TOP

Ani awamba abantu...

DDALA ani eyeegumbulidde omuze gw’okubuzaawo abantu n’aleka famire eziwerako nga ziri mu kiyongobero!

 Omubazzi w’oku Bbiri e Mulago, Amir Ssegawa naye yabula. Wano yali ne jjajja we.

Omubazzi w’oku Bbiri e Mulago, Amir Ssegawa naye yabula. Wano yali ne jjajja we.

Bya KIZITO MUSOKE, HENRY KASOMOKO, PETER SSAAVA, ABU BATUUSA, LYDIA NAKIGULI, DEBORAH NANFUKA NE OLIVE LWANGA

DDALA ani eyeegumbulidde omuze gw’okubuzaawo abantu n’aleka famire eziwerako nga ziri mu kiyongobero!

Simon Mande Kitandwe 33, omutuuze we Kyebando - Kisalosalo yabula wiiki ssatu emabega.

Yava ku siteegi ye Kisalosalo kwe yali avugira bodaboda nnamba UDN 2700D era okuva olwo, abantu be bali mu maziga tebamanyi oba gy’ali mulamu oba yakkirira dda e kaganga.

Henry Ssengonge, mukulu wa Kitandwe yategeezezza nti muto we yabula mu kiro kya May 2, 2017.

Yafuna omusaabaze gwe yali atwala e Kawempe. Bukya abula bamunoonyezza mu malwaliro, ku poliisi, mu ggwanika e Mulago nga yonna taliiyo.

Yasabye omuntu yenna ayinza okubayamba okumuzuula okubakubira ku nnamba z’essimu; 0751378485 ne 0701393610.

Ate Andrew Bamulanzeeki 40, ow’e Ganda mu Wakiso yabula April 27, 2017. Amaka ge gali Gganda awamu ne mu Kibwa e Nansana ng’okubula yali agenda mu g’e Kibwa akawungeezi.

Dodoviiko Mayanja omutuuze we Gganda nga y’azaala Bamulanzeeki yagambye nti ono ye mutabani we owookubiri okubuzibwawo.

Eyasooka baali bamuyita Kayiwa, yabula emyaka esatu era tebaddangamu kumulabako.

Rose Tusuubira, omu ku bakyala ba Bamulanzeeki yategeezezza ng’amaziga gamuyitamu nti bali mu kusamba nsiko buli wamu, kyokka bakyalemeddwa okumuzuula.

Yagambye nti mu kiseera kino abaana baabwe abato bamubuuza kitaabwe gye yalaga n’abulwa ky’abaddamu.

Ono yabula n’abaana be babiri.

 

MUKYALA WA MUNNAMAWULIRE ALAAJANIDDE PULEZIDENTI

Lydia Kyeswa, mukyala wa munnamawulire Christopher Kyeswa Junior 60, asabye omukulembeze w’eggwanga ayingire mu nsonga za bba kuba tamanyi mbeera gy’alimu.

Yagambye nti okusooka baali tebamanyi gy’ali, kyokka oluvannyuma poliisi n’ebategeeza nti ali Nalufeenya.

Wabula Lydia mweraliikirivu olw’engeri abasibe gye batulugunyizibwamu e Nalufeenya. Yagambye nti bba we yabulira nga mulwadde wa sukaali era takakasa nti afuna obujjanjabi mu kkomera.

MAAMA ABUZE N’ABAANA BABIRI

Rebecca Nalumansi 20, omutuuze w’e Kabimbiri mu Bugerere yava awaka nga April 26, 2017 ng’ategeezezza bba Sam Lwanga nti agenze wa ssenga we e Luweero.

Yagenda n’abaana babiri. Hellen Namanda nnyina wa Nalumansi agamba nti essuubi ly’okufuna abantu baabwe ligenda libaggwaamu kuba banoonyezza buli gye babasuubira nga tebaliiyo.

Okusooka baali balowooza nti baafuna kabenje, kyokka bababuze mu malwaliro gonna.

Sam Lwanga, bba wa Namanda yasabye omuntu yenna ayinza okubayamba okumufunira ku ssimu nnamba 0700632966.

Abaana be yagenda nabo, omu yali wa myaka esatu ate omulala ng’ayavula.

 

AMIRI SSEGAWA YAVA MU MAKA GE EKIRO

Amiri Ssegawa omubazzi ku Bbiri e Mulago yava mu maka ge ku ssaawa 3:30 ez’ekiro oluvannyuma lw’omuntu okumukubira essimu.

Yali akolera ku ‘Tebukozza Arts and Furniture Centre’ ku Bbiri. Yabula nga April 26, 2017.

Muganda we Abdalah Kabala yagambye nti muganda we yamuleka mu maka ge ku ssaawa bbiri ez’ekiro.

Ab’oku muliraano baamutegeeza nti waliwo eyamukubira essimu n’afuluma ng’agenda agyogererako era okuva olwo taddanga.

Hajati Hannifer Namatovu, maama wa Ssegawa omuto ng’ono yali abeera naye yategeezezza nti baali batudde ku katebe ne wabaawo omuntu eyamukubira essimu n’afuluma.

Aisha Nakawooya, mukyala wa Ssegawa yagambye nti okubula kwa bba yakutegeera luvannyuma era nga nnyazaala we ye yamutegeeza bwe yali amubuuza oba nga yali amulabyeko.

“Tunoonyezza yonna gye tumusuubira naye atubuze. Twalanga ne mu mawulire ga Bukedde naye Amiri abuze...” Nakawooya bwe yagambye.

Abantu ab’enjawulo balina endowooza ku ani awamba abantu.

Waliwo abagamba nti ziba mpalana za mirimu, abalala nti abebyokwerinda bennyini be bakwata abantu bano ne babatwala mu bifo ebitali bimu okubaako bye bababuuza ate abalala nti ababuze babeera balwadde ba mitwe.

Naye ekyebuuzibwa, oli bw’aba mulwadde oba bwe ziba nsonga za byakwerinda, kitwala bbanga ki okumuzuula?

POLIISI EWADDE AMAGEZI

  • Muhammad Kimuli, akulira poliisi ye Gganda yasabye abantu okubeera abeegendereza ku be bakolagana nabo kuba n’abakyamu mwe bajjira. Yawabudde nti omuntu yenna kirungi okubeerako gw’otegeeza ng’ogenda awantu n’omubuulira n’abantu b’ogenda okusisinkana.
  • Singa obeera n’omulabe, kakasa nti waliwo abakimanyiiko era yanguwa n’okutegeeza ab’obuyinza. Ne bw’oba ofunye obuzibu, poliisi ebeera ne w’etandikira.
  • Yasabye n’abantu abalina kye bamanyi ku muntu abeera abuze okuyamba poliisi nga bagiwa amawulire kuba tomanya enkya kiyinza okutuuka ku muntu wo.
  • Bwe weesanga mu mbeera y’okuzinduukirizibwa, kirungi okuwoggana, abantu okumpi basobole okukutaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...