TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Omwana twamutta naye mukendeeze ku kibonerezo kuba n'obugagga ssaabufuna'

'Omwana twamutta naye mukendeeze ku kibonerezo kuba n'obugagga ssaabufuna'

Added 22nd May 2017

KKOOTI Enkulu e Nakasongola etandise okuwuliriza omusango oguvunaanibwa Sperito Kisekwa ne banne abalala bana ogw’okusobya ku mwana atanneetuuka ate ne bamusaddaaka.

Wabula Kisekwa yategeezezza omulamuzi nti tayagala kumalira kkooti budde, era ayagala emusalire ekibonerezo ekitonotono kubanga yawubisibwa nti bw’anaasaddaaka omwana omuwala waakufuna obugagga era n’amaliriza ng’amusaddaase; kye yazuula oluvannyuma nti kyali kikyamu.

Kisekwa avunaanibwa okusobya ku Sylvia Suubi 7, ate oluvannyuma n’amutta n’amusalako ebitundu by’ekyama n’alembeka n’omusaayi n’agutwalira omusawo w’ekinnansi.

Obutemu buno bwaliwo nga February 24, 2013 ku kyalo Nansaka mu ggombolola y’e Butuntumula e Luweero oluvannyuma n’amusaddaaka nga kw’atadde n’okutema mwannyina Canan Nankunda 14, ensingo n’amuleka mu kisaka ng’alowooza afudde.

Omwana Nankunda y’omu ku bajulizi mu musango guno era yalumiriza dda nga bwe yalaba Kisekwa ng’asanjaga Suubi bwe baali ku ttale nga balunda ente.

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Nakasongola, Yasin Nyanzi ku Lwokuna yatandise okuwulira omusango Kisekwa mw’avunaanibwa ne banne okuli mukyala we Scovia Kalungi eyakweka omusaayi mu nnyumba, Justine Nampiima, Nnaalongo Justine Nakibirango ne Francis Mukasa gwe bagamba nti musawo wa kinnansi okuva e Mukono.

Kigambibwa nti nga 24/02/2013 ku ssaawa musanvu ez’emisana, kitaawe wa Suubi , Joseph Ankunda yagenda n’abaana be bano ku ffaamu okulunda ente wabula ye kwe kubaleka nga bazikuuma n’abategeeza nti k’agende ku ddaamu akime amazzi ge baali balina okuziwa okunywa.

Ng’amaze okuleeta amazzi yasaba abaana be okusigala nga balunda ente olwo ye adde eka abayiiyize kye banaalya nga bamaze okulunda ente.

Muhumuza omwana wa Ankunda eyali ne mwannyina Suubi yategeezezza kkooti nti kitaabwe mu kubalekawo, Kisekwa yafubutuka gye bataategeera n’abategeeza ng’ezimu ku nte zaabwe bwe ziridde emmere ye era n’abasaba okugenda okulaba emmere gye ziridde.

Joseph Ankunda kitaawe w’abaana abaasaddaakibwa (owookubiri ku kkono), Nankunda (wakati eyawona okuttibwa), nnyina Jovia Kamwine ne Shellin Kasozi owa Kyampisi Child Care Ministries.Ku kkono omu ku booluganda lw’omugenzi.

Abaana bano bakkiriza okugenda ne Kisekwa era nga mu kutambula yabalagira okukulemberamu, bwe baatuuka mu kasiko yabalagira okutuula wansi n’akwata Nankunda n’amutema ekiso ku nsingo emabega nga kino Suubi bwe yakiraba yagezaako okudduka eka ategeeze kitaawe.

Nankunda teyasobola kutuuka waka kubanga Kisekwa yamugoba n’amutega okugulu nagwa wansi era n’amutemaatema n’amuleka mu kisaka ng’alowooza afudde wabula Katonda n’amutaasa.

Nankunda mu kudda engulu yalaba omusaayi omungi ku lugoye lwe era bwe yakyusa omutwe yalaba ng’ensingo ye bagitemye nnyo, ne yeekulula mpolampola atuuke eka ayite kitaawe wabula amaanyi ne gamuggwaamu era mu kino n’agwa wansi nga takyasobola wadde okutambula.

Ankunda kitaawe w’abaana agamba yaddayo ku ttale asange abaana wabula yeekanga okusanga nga mutabani we agudde wansi abunye omusaayi ate nga muwala we talabikako.

Wano yasalawo okusooka okutwala mutabani we mu ddwaaliro era ng’ono yamusiba essaati ye gye yalimu ku nsingo n’amuddusa mu ddwaaliro okumpi e Luweero wabula eno baamulagira okumutwala e Mulago ekintu kye yakola.

Ankunda agamba nti bwe yakomawo yatandika omuyiggo gw’okunoonya muwala we ng’ali ne poliisi y’e Luweero wabula omwana n’abula era poliisi n’emusaba okuddamu okunoonya olunaku oluddako.

Ku makya poliisi y’e Luweero yakeera n’embwa zaayo ku ffaamu era embwa zino zaatuukira butereevu ku mulambo gwa Suubi gye gwali gusuuliddwa mu kasiko wabula ng’avaamu omusaayi omungi mu bitundu bye eby’ekyama.

Omulambo poliisi yagutwala mu kalwaliro akamu e Luweero era omusawo Dr. James Obo ye yagukebera n’akizuula nti omwana ono yasobezeddwaako oluvannyuma ne bamusaddaaka nga kwe batadde n’okumusalamu ebitundu bye eby’ekyama. Nankunda ng’amaze okutereeramu baamubuuza ebyatuuseewo era n’ayogera omusajja Kisekwa eyabakozeeko ebikolwa bino.

Kisekwa baamukwata ne bamuggalira ku poliisi e Luweero wabula ng’ali ku poliisi yategeeza nti Francis Mukasa, omusamize okuva e Mukono ye yamutumye omusaayi ng’amusuubizza okumuwa obukadde 2 era ng’ekikolwa kino teyakibaddemu yekka wabula alina abakyala abalala basatu be yapanga nabo abaamuyambako okutwala omusaayi ew’omusawo.

Omusamize Francis Mukasa gwe baawa omusaayi gw’omwana.

 

OKUWA OBUJULIZI KUTANDISE

Bano bonna poliisi yabakwata era ebadde yabaggalira okuva mu 2013 okutuusa ku Lwokuna lwe baalabiseeko eri omulamuzi wa kkooti enkulu omulundi ogusooka era okuwa obujulizi okuva ku ludda oluwaabi ne kukolebwa.

Joseph Ankunda, 45 nga musajja mulimi ate omulunzi mu nnaku ennyingi yategeezezza omulamuzi nti oluvannyuma nga muwala we amaze okusaddakibwa, eyakola ekikolwa ekyo Kisekwa yalabibwako nga banoonya Suubi era ng’alaga nti talina ky’amanyi ku kiki ekyali kibaddewo.

Yattottodde nti Kisekwa bwe yategeera nti bayinza okumugwamu yasalawo kusenguka okuva we yali abeera n’agenda, wabula poliisi y’e Wobulenzi n’ekola omulimu ogw’amaanyi n’emunoonya era n’emukwata.

Ankunda asaba kkooti ewe Kisekwa ekibonerezo ky’okumala obulamu bwe bwonna mu nkomyo kuba ekikolwa kye yakola ku baana be kibi nnyo, asaana afuuke ekyokulabirako balekere awo okusaddaaka abaana.

Sherin Kasozi okuva mu Kyampisi Child Care Ministries yategeezezza nti omusango guno baagutegeera okuva ku poliisi y’e Luweero era ne basitukiramu okugenda okulaba abaana bano. “Twaasanga omwana omulenzi bamusaze obulago ate ng’omuwala bamusazeemu ebitundu by’ekyama ng’avaamu n’omusaayi era nga bamusaze ensingo,”Kasozi bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti baasooka ne bawulira omusango gwa Nankunda ogw’okumusala obulago era Kisekwa n’aweebwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 10.

Kati Kisekwa ali ku musango gwakubiri ogw’okutta Suubi era Sherin yategeezezza nti nagwo bagenda kugugoberera okutuuka ku nkomerero yaagwo.

Ku Lwokuna omulamuzi Nyanzi yayongeddeyo omusango guno okutuusa ku Mmande nga May 22, 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...