TOP

Abantu abazze beebika nga tebafanga

Added 7th June 2017

Waliwo abantu bangi abazze babikibwa nti bafudde, abalala n’okuziikibwa ne baziikibwa kyokka ne kizuulwa nga gye bali balamu nga n’ekkeesi baaziika nkalu!

 Omugagga Ivan Ssemwanga n’okutuusa kati abamu bagamba nti tafanga.

Omugagga Ivan Ssemwanga n’okutuusa kati abamu bagamba nti tafanga.

Bya BASASI BA BUKEDDE 

BANNAYUGANDA abamu naddala mu Kampala n’ebitundu ebimuliraanye  bakyalimu obwa Toma nga babuusabuusa nti omugagga Ivan Ssemwanga tannafa.

Wadde nga Bukedde yalaze omulambo gwe, abantu abamu bagamba nti kiyinzika okuba nga waabaddewo omupango ogubika Ssemwanga abamu gwe bamanyi nga Ali Ssennyomo nti gy’ali mulamu.

Waliwo n’abaatuuse n’okugamba nti alina gye yagenze okumukyusa endabika ye addemu okulabika nga mulala.

Wabula waliwo abantu bangi abazze babikibwa nti bafudde, abalala n’okuziikibwa ne baziikibwa kyokka ne kizuulwa nga gye bali balamu nga n’ekkeesi baaziika nkalu! 

Bangi ku beebika nti bafudde, baba beewala mabanja anti omugenzi tatera kusasula okuggyako okuwamba ebintu bye ate no ng’abamu babireka mu mannya ga bantu balala ne gujabagira.

Abalala baba babbye ssente ne basalawo okwebika olwo ne bakyusa endabika yaabwe ne babeera n’abantu mu bitundu byabwe nga tebayinza kubategeera nti be bo oba okuwangangukira mu mawanga amalala.

N’abalala babeera bazzi ba misango egya naggomola. Mulimu ababeera baagala okuweebwa ssente za yinsuwa akasiimo kaabwe ke bakoledde emyaka n’emyaka  nga balaba ensi ebanyiga kuba zitera okubeera ensimbi nga nnyingi. 

ABAMU KU BANTU ABAZZE BAGAMBIBWA OKWEBIKA NGA GYE BALI BATEMYA BUKOFU:

John Darwin

Ono Mungereza eyeebika mu March wa 2002 n’ekigendererwa ky’okufunirako ssente za yinsuwa. Yalina n’amabanja mangi ng’agenda kulangirirwa mu lubu lw’abantu abaweddemu kubanga oba tokyayinza kwesigika muntu yenna.

Obujulizi obwaweebwa abantu be abaali mu mupango guno, bwalaga nti yafiira mu kabenje k’oku mazzi bwe yali ku kaato ng’alya obulamu ku liyanja kirimulaala.

Ye John ne mukyala we Darwin gwe yasooka okuwasa.

 

Omwami ono yali mugezi nnyo era yamala ebbanga ddene ng’abaza omuyaga omungi lwe gulibaawo olwo kirowoozese abantu nti gwe gwamututte.

Olukwe yaluluka n’eyali mukyala we ebiseera ebyo Anne Darwin era pulaani bwe yaggwa, Darwin yeekweka mu mukwesese ogwali ku fulaati eyali ku nnyumba omwali musula mukyala we Anne.

Omukyala yasigala mu ssaala okufuna ssente nga n’omwami gy’ali alinze kimu ssente zijja ddi basasule erimu ku mabanja naddala erya ppawundi 20,000.

Poliisi yayungula abawanvu n’abampi abaafuuza ne basimba n’ebyuma ku liyanja lino nga bwe bagoberera omuyaga gye gwabadde guddukira ne babulwawo omulambo gw’omuntu yenna wadde ebisigalira by’akaato ka Darwin. Mukyala we yabayambangako okunoonyereza era ennaku zonna yasiibanga mu maziga.

Oluvannyuma lw’omwaka ng’omulambo gubuze Darwin yalangirirwa nti afudde olwo omukyala n’agwa mu ssente. Baamuwa pawundi 250,000.

Ku mudidi guno kwe baggya ssente ne bagenda mu Panama mu 2007  era ne basalawo n’okugulako ennyumba okumpi n’olubalama  lw’ennyanja basigale nga balya obulamu.

Bombi baasalawo badde e Bungereza ng’omupango guwedde wabula waliwo omuntu eyali yabalabako mu ggwanga eryo n’ategeeza ku poliisi nti, omusajja eyayogerwako ne mu mawulire nti yafa, yali asula kumpi naye.

Kino Darwin yakitegeera n’asalawo adde e Bungereza nga tanakwatibwa ng’alowooza nti n’ab’e Bungereza ebibye baabivaako dda.

Bwe batuuka e Bungereza oluvannyuma lw’emyaka etaano Darwin yeetwala ku poliisi n’ategeeza bwe yali abuze kyokka nga naye teyategeera ngeri gye yabulamu. 

Darwin ne mukyala we baakwatibwa ne bavunaanibwa emisango okuli ogw’okulimbalimba poliisi, okugezaako okufuna ssente mu lukujjukujju, okulumya abantu baabwe naddala abaana be baali tebatemezzaako nti bya ‘kiwaani’ n’ebirala.

Omukyala yannyonyola kkooti nti, yakkiriza okukikola kubanga bba yali agenda kwetta ssinga tafuna ssente.

Kino kyakozesebwa ng’obujulizi era Darwin n’asibwa emyaka mukaaga n’emyezi esatu omukyala n’asibwa emyaka mukaaga n’emyezi mukaaga.

Omukyala yasibwa okusinga ku bba kubanga ye yasinga okulimbalimba poliisi n’okugimalira obudde ne ssente ate nga  ne ssente za yinsuwa era omukyala gwe baazikwasa.

Omukyala Darwin gwe yawasa oluvannyuma lw'okuyimbulwa mu kkomera

 

Darwin baamuyimbula ng’amaze ekibonerezo kye wabula olw’okuswala okungi yawasa mukyala mulala Mercy May Avil  ow’e Philippines gwe yafunira ku yintaneti ng’atya okutunula ku mukyala we n’abaana be yali aswalidde ennyo kubanga mukyala we yali yamulabulako nti olukwe terujja kuyitamu wabula ye n’abigaana.

Ng’ebyo tannabikola, olumu yayagala n’okutomeza mmotoka ye eya Range Rover afune ssente za yinsuwa. 

COLEMAN MARTIN

Ono muserikale wa Amerika ow’emyaka 29 mu ssaza ly’e Texas. Yafera okufa kwe bwe yaleka akapapula okuli obubaka nti ngenda kwetta kubanga obwavu bundi bubi.

Yagula omuguwa, bbulooka, ggaasi olwo n’alinnya mmotoka ye n’agenda ku nsalo ya Mexico ne Amerika n’ava mu mmotoka n’agireka ng’etokota n’alinnya akaato n’asala n’agenda e Mexico.

Mukyala we Jaclyn Williams yategeeza poliisi nga bba bwe yali yesse. Omukyala yalaga obubaka bwo ku ssimu bba bwe yamuweereza ng’alabula nti agenda kwetta.

Omwami yagenda e Mexico ate eby’embi n’atandika okunyumyanga n’akawala ke yali ayagala mu Amerika ng’akagamba nga bw’asubwa okubeera nako. Kano yali teyakayitira mu ppulaani ye era ko kaali kalowooza nti gyali mulamu.

Ensega ku Amistad Reservoir Bridge Martin Coleman w’agambibwa okulinnyira eryato erigambibwa okumutta.

Wadde nga yali takozesa layini ye ey’essimu enkadde, ekizibu yali akozesa ssimu ye mwe yassa layini ey’eggwanga lya Mexico.

Poliisi bwe yatandika okunoonyereza ku muntu eyali yesse olwo nnamwandu bamuwe akasiimo ka bba okufa, omulambo gw’omugenzi gwe gwasooka okubula ate nga tewali kiraga lwaki gwabuze, poliisi yagenda mu maaso okunoonyereza n’ekizuula ng’essimu y’omugenzi waliwo agikozesa.

Bwe yabiyingizaamu poliisi y’ensi yonna ezuule omuntu eyali akozesa ssimu y’omugenzi e Mexico, ate ye kennyini nnannyini ssimu gwe baagikwata nayo.

Okusinziira ku mukutu gw’amawulire nga ‘Fox 7’ mu Amerika, okunoonyereza ku nfa ye kwazuula ng’omuserikale ono, Coleman Martin yali yaggya ssente ddoola 300 ku akawunta ya famire ate nga kiraga nti omuserikale ono yennyini ye yali yafa.

Bwe baddako emabega, amawulire era gaalaga nti poliisi y’e Texas eya Public Safety yamuyimiriza mu kitundu kya  Uvalde bwe yali avuga endiima ng’apapirira n’agitegeeza nga bwe yali agenda okuwummulako mu ggwanga lya Mexico era obwo nabwo bwali bujulizi nti omuserikale ono yali yeekukumye mu ggwanga eryo.

Coleman

 

Enkeera poliisi yagwa ku mmotoka ye mwe yali okuliraana ennyanja ya Lake Amistad ng’erimu ebisumuluzo n’akapapula okuli obubaka bwe yali alekedde mukyala we era obwo nabwo bwali bujulizi.

Mu kunoonyereza kwa poliisi, yazuula ‘walleti’ eyalimu obusente obutono.

Bwe byaggwa, baamuzingako omulundi gumu nga bagoberera amayengo ga ssimu ye kwe yayogereranga e Mexico ne bamukwata n’azzibwa mu Amerika gye yaggulwako emisango ng’egya Darwin n’asibwa emyaka 12 olw’okuba yali wa poliisi,  atwalibwa ng’ekyokulabirako.

 TUPAC AMARU SHAKUR

Ono yali Mumerika omukubi wa Hip Hop oba kiyite okutontoma era nga y’omu ku baaleeta ekika ky’omuziki guno okubeera eky’akabi mu nsi yonna nga ne mu Uganda bakyagwettanira.

Tupac ng’abamu basalako ne bamuwandiika nga 2Pac abalala ne bagattako erya Makaveli, yazaalibwa Alice Faye Williams ne Billy Garland mu June wa 1971 mu East Harlem mu kibuga New York.

Ekitundu kino kijjudde Abaddugavu abatalina nnyo mirimu okuggyako okukuba omuziki, okulya ssente Gavumenti z’ebawa bebeezeewo olw’obutaba na mirimu.

Abavubuka bano bakola kyonna okufuna ssente wansi w’enjuba mu bulungi ne mu bubi era n’enfa y’omuyimbi ono ow’erinnya ekyatankanibwa nga buli omu agamba nti gyali mulamu ayiiya ssente.

2Pac y’omu ku bayimbi abakyasinze okukola ssente era ateeberezebwa nti yaakatunda obukadde bw’entambi z’ennyimba ze 25 mu nsi yonna.

Yakubwa amasasi mu September 7, 1996 mu kibuga Las Vegas mu ssaza ly’e Nevada mu Amerika okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia.

Omu ku bateeberezebwa okumutta ye Orlando Anderson bwe baali ku mbiranye ezeekuusa ku ssente, ettutumu ly’okuyimba era yali avuganya nnyo ne muyimbi munne Notorious BIG naye eyattibwa.

Wadde nga n’ekika ky’emmundu egambibwa okumutta ekya 40 Caliber Glock pistol kyazuulwa, abantu bangi bagamba nti omuyimbi ono teyafa nga gy’ali akyayimba era nti, yeebika n’asalawo awangangukire e Cuba n’akyusa ne feesi era eyo gy’akubira Hip hop ne Ragga eby’akabi ate akuba biriko.

Ezimu ku nsonga ezigambisa abantu nti teyafa, ziva ku ngeri gye yali ayagalamu ssente, okukulira mu bulamu obw’okweyiiya ne bye yalinga anyumya mu banne, ennyimba ze yayimbanga eziraga ng’asobola okukola kyonna okumwogerako n’okufuna n’ebirala omuli bino wammanga:

Ennyimba: All Eyez on Me ekitegeeza amaaso gonna ku nze, The Don Killuminati oba kiyite Kabaka wa baluminati, The 7 Day Theory ekitegeeza ennaku musanvu ez’okuwanuuza n’ebirala.

Olumu yagamba nti: ‘‘Reality is wrong, Dreams are for real’’ ekitegeeza nti, amazima makyamu naye ebirooto bituukirira.

Era agamba nti olumu maamawe yamugamba nti, okulemererwa waakiri oyonoonanga nga kino yakimugamba bw’ati mu Lungereza.

‘If you can’t find somethin’ to live for, you best find somethin’ to die for. Omubiri gwe kigambibwa nti  gwayokebwa,  evvu   maama we n’alitwala mu South Afrika ensibuko y’obujjajjabwe naye abantu baawakana nti akakeesi yatwaliramu vvu lya ku sigiri.

Tupac

Okusinzira ku mukutu ogwa storify. com, kigambibwa nti 2pac yandiba nga naye yafera okufa kwe olw’enneeyisa ye ng’ekyo kimufaanana.

Abalala bawanuuza nti emisango emingi gye yalina n’engassi gye yalinanga okusasula kye kyamuwaliriza n’abantu be okulimba nti yafa. 2pac alina omwana ow’emyaka omunaana gwe yakuba amasasi n’afa era ekibiina kya ‘‘Death Row’’ kye yamuyamba n’eriwa ddoola eziri wakati wa 300,000 ne 500,000 n’ayimbulwa.

Oluvannyuma yavuma Allen Hughes eyali Dayirekita wa firimu Menace II Society ne bamugoba mu firimu eno n’aggulwako n’ogw’okumuyisa obubi.

2pac yakuba abapoliisi babiri amasasi kyokka tebaafa era baamuggulako omusango n’aguwangula kubanga abapoliisi nabo baali bakola batamidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...