TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Muwala waffe baamuwamba ne bamutta emyaka esatu egiyise, lwaki abatemu tebabawozesa!

Muwala waffe baamuwamba ne bamutta emyaka esatu egiyise, lwaki abatemu tebabawozesa!

Added 12th June 2017

Eyo mu kinywambogo, omusajja yaddamu n’ankubira n’ambuuza ekingaana okukaaba kuba Joan yali amaze okumutta!

 Godfrey Lwanga ne mukyala we Maimuuna Namatovu mu maka gaabwe e Nabbingo -Ttega.

Godfrey Lwanga ne mukyala we Maimuuna Namatovu mu maka gaabwe e Nabbingo -Ttega.

Bya musasi waffe

JOAN Namazzi yali abuzaayo emyezi mitono atuule ebibuuzo bya S6 eby’akamalirizo, abatemu ne bamuwamba ne bamutta omulambo ne bagusuula ku ttale!

Ekikangabwa kye baafuna, wadde wayise emyaka esatu, babiraba ng’ebyaguddewo eggulo.

Abatemu olwawamba omwana waabwe ne babategeeza ku ssimu nga bwe banaatera okumutta.

Okubakakasa nti tebasiika binyomo, baatuuka n’okubawa eddoboozi lya muwala waabwe mukaziwattu ng’abeegayirira bamusonyiwe kyokka ng’asiwa nsaano ku mazzi.

Joan bwe yawulira eddoboozi lya nnyina ku ssimu, n’amulaajanira nti, “Maama nnyamba oweereze ssente nga tebannanzita!”.

Abawambi baddamu ne bakubira abazadde ne babakakasa nga bwe baali bamaze okutta Joan era ne babalagira banone omulambo gwabwe!

Amaka ga Lwanga e Nabbingo.

 

YAVA KU SSOMERO

Joan Namazzi (yafiira ku myaka 18) azaalibwa Godfrey Lwanga ne Maimuna Namatovu abatuuze b’e Nabbingo ku kyalo Ttega mu ggombolola y’e Nsangi mu Wakiso.

Yali asoma S.6 mu St Mark e Namagoma. Lwali Lwamukaaga nga 19 March 2014 ku ssaawa 4:00 abasomesa baawa Joan olukusa adde mu bazadde be akime ssente z’okulambula.

Yatuuka eka kyokka nnyina teyamusangawo ng’ali ku mulimu. Yanoonya engoye z’anaayambala mu lugendo nga taziraba.

Kkeesi mwe baali batereka engoye, mukulu we Jovian Twesonyiwe eyali asomera e Kyambogo yali alese aginyizeeko kkufulu nga n’ekisumuluzo azzeeyo nakyo ku ssomero.

Joan yasaba omukozi w’awaka essimu agende nayo amuwe ekisumuluzo.

Bazadde ba Namazzi bombi abasomesa bwe batandika okwogera ku muwala waabwe Joan bakuyungula amaziga!

Okwewala ennyiike okubeeyongera buli lukya, ebifaananyi by’omugenzi baabyeggyako.

Godfrey Lwanga y’akulira essomero lya Mpenja SS erisangibwa e Gomba ate mukyala musomesa mu Trinity College e Nabbingo.

Namatovu agamba nti kw’olwo eka yatuukawo ku ssaawa 12:00 omukozi n’amutegeeza nga Joan bwe yali akomyewooko eka kyokka yali agenzeeko Kyambogo munne gy’asomera afune ebisumuluzo.

Namatovu agamba nti yalinda omwana obudde kutuuka kukunira nga Joan talabikako.

Yakubira muwala we eyali asomera e Kyambogo ng’amunenya obutasindika munne kudda waka ng’obudde bukyali.

Twesonyiwe yategeeza nnyina nga Joan bwe yali yavuddeyo edda ng’obudde bukyali nti era yamuwa 2,000/- ez’entambula n’ amuwerekera nako okuva ku yunivasite e Kyambogo n’amutuusa e Banda we yalinnyira takisi emutuusa mu kibuga olwo alinnye ezimuzza e Nabbingo.

Joan Namazzi eyattibwa

 

AKUBA KU SSIMU

Twesonyiwe bwe yakuba ku ssimu Joan gye yali nayo, yagikwata kyokka yamutegeeza bwe yali awambiddwa nti era yali mu buzibu bwe yali tasuubira kuvaamu.

Bwe yamubuuza gy’ali yamutegeeza bw’atamanyiiyo nti kyokka yali alaba emiti emingi n’amutegeeza nti yali asuubira nti we yali Namasuba. Bino Twesonyiwe yabitegeeza nnyina Namatovu.

ABAWAMBI BAMUKUBIRA

Namatovu agamba nti teyaddamu kutereera kyokka essaawa zaali ziwera 5:00 (ez’ekiro) n’afuna essimu ez’okumukumu ng’omusajja azimukubira yeeyambisa essimu y’awaka Joan gye yagenda nayo.

Eyamukubira yamutegeeza nga bwe baali bawambye muwala we nti era baali beetaaga obukadde 2 okumuleka.

Baamukakasa nti bw’atazibaweereza ng’ayita ku nnamba y’essimu eyo, baali bagenda kumutta.

Namatovu agamba nti eyamukubira (kirabika) yakwasa Joan ssimu kuba yawulira eddoboozi lya Joan ng’akekejjana ate nga lyogerera wansi nnyo nga kirabika yali mu bulumi obutagambika.

Joan yali yeegayirira abasajja nti, ‘Oba mmami talina ssente, kale mukubire dadi ajja kuzibawa naye mundeke’. “Eddoboozi eryo lye nnasembayo okuwulira mu bulamu bwa Joan, lyannemera ku bwongo ne bwe mba obw’omu likomawo ennyiike n’ejula okunzita.

Nabakubira ne mbategeeza nga bwe nnalinawo emitwalo 30 ne mbeegayirira bamuleke ssente endala nzibasindikire enkeera.

Omusajja yanvuma eggambo n’antegeeza bw’atayagala busentesente era n’aggyako essimu.  Ebyenda byantokota, ekitengo ne kingwira era ssaakomba ku mpeke ya tulo!

Eyo mu kinywambogo, omusajja yaddamu n’ankubira n’ambuuza ekingaana okukaaba kuba Joan yali amaze okumutta!

Era saddamu kuwulira ku ddoboozi lya Joan…,” bw’atyo Namatovu bw’abinyumya wakati mu kuttulukuka amaziga!  

TAATA W’OMUGENZI

Godfrey Lwanga, kitaawe wa Joan agamba nti mukyala we yali Mpenja n’amukubira ssimu n’amutegeeza bwe yali afunye ssimu emutegeeza Joan bw’attiddwa.

Nayanguwa okutuuka e Nabbingo ne ntuukirira Poliisi y’e Nsangi kyokka olwo nange abazigu baali batandise okunkubira nga beeyambisa nnamba y’essimu 0784629610 nga baagala mbasindikire obukadde 2 bandagirire Joan we yali kuba baali bamukubye kalifoomu mungi.

 Nasaba eyali DPC w’e Nsangi mu biseera ebyo ayitibwa Ssalamu kyokka n’ankugira okuzibawa.

Twasiiba ku muyiggo Poliisi n’enkakasa nti abatukubira baali ku mulongooti gw’e Namasuba.

Abawambi abamu baakubiranga mukyala wange ate abalala nga bankubira, nga boogera balambulukufu nti Joan bamaze okumutta.

 

OMULAMBO

Lwanga anyumya: Essaawa zaali 2:00 ku makya ga Ssande, DPC w’e Nsangi n’ankubira nti yali afunye amawulire okuva ku Poliisi y’e Katwe nti waliwo omulambo gw’omuwala ogwali gusangiddwa e Namasuba ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Okutuuka mu ggwanika nga ku mulambo gw’omwana wange Joan kwe ndaba! Yali alabika nga yatulugunyizibwa nnyo nga tannattibwa.

Amagulu ge gombi gaali gamenyeddwa ate nga gasibiddwa wamu n’ekigoye.” Lipoota y’eddwaaliro yalaga nti Joan yali tasobezeddwaako kyokka yali atugiddwa mu ngeri ya kusikibwamu ddookooli!

Olususu ku ttama, ku kibegabega ne mu mugongo lwali luyubuse nga kirabika yakululwa ku ttaka ng’attiddwa oba nga tannattibwa. Lwanga agamba nti yatuusa omulambo mu maka ge e Ttega mu Nabbingo kyokka omutemu yeeyongera okumukubira nga bw’amwewaanirako nga bwe bamulazeeko ne bamutegeeza bwe bajja okumugema emputtu emutuusa okubamma obukadde 2, ssente entono zityo.

Agamba nti n’omulambo bwe gwali gukyali mu ddiiro baamukubira ne bamubuulira omuwendo gwa weema ezaali awaka, omuti gwa ovakkedo oguli awaka, nga bw’ayambadde kkooti enzirugavu, ng’awaka bwe waaliwo emmotoka ttaano n’ebirala ate nga byonna byali bituufu ekyalaga nti abatemu baali kumpi ddala.

Kw’olwo baakubira Namatovu ne bamutegeeza bw’ali ow’ebyobufuzi ky’agamba nti ye talina kibiina ky’awagira mu lwatu nti era ye ali ku gwa nnoni.

Lwanga yalaba abatemu bamwongera nnyiike, essimu n’agikwasa owa Poliisi era ne beeyongera okumukubira. Agamba nti baakuba ssimu okumala wiiki bbiri nga Joan amaze okuziikibwa nga bakozesa layini 0784629610.

ANI NNYINI SSIMU ENO?

Omusasi ono yalabye ku kiwandiiko kya kkooti ento ey’e Makindye. Kiraga nti nga wayise ennaku, Poliisi yakozesa obukugu n’ekwata buli eyalina akwate ku ssimu omwali layini eyo.

Omuwala Aisha Nakabugo ye yasookerwako n’aggalirwa ku Poliisi y’e Kibuye (Katwe) nga Poliisi ekizudde nti ye yali nnannyini nnamba y’essimu 0784629610 abatemu gye baakozesanga okukubira bazadde ba Joan.

Nakabugo yeewozaako nti: yava e Ssingo gy’azaalwa, takisi n’emuteeka mu ppaaka empya n’apangisa omwetissi amutuusize omugugu mu ppaaka enkadde afune ezimutuusa ewa muganda we e Kibuye.

Omwetissi olwateeka omugugu ku kibegabega yatandika kudduka nga bw’aweta obusonda mu bantu abateevuunya nga munyeera.

Munnassingo yawadaawadako okumugoba naye ng’akoowoola abombye! Bwatyo Nakabugo teyaddayo kukuba liiso ku mwetissi kyokka mu mugugu mwe mwali akasimu akaalimu layini 0784629610 eyamuzaalira ebitukula!

Omuyiggo gweyongera Poliisi n’ekwata Alosius Ssemanda n’akkiriza nti layini yali yiye kyokka yagifuna bwe yawaanyisa eyiye n’ey’omuntu gw’atamanyi gwe yasisinkana e Nakivubo.

Poliisi yakwata Ainebyona Juma Saidi n’agamba nti essimu yagigula ku Muhereza Asuman.

Asuman Muhereza bwe yakwatibwa yategeeza Poliisi nti ye yagifuna kuva ku muganda we Ainebyona Juma Saidi.

Ekiwandiiko kigenda mu maaso ne kinnyonnyola nti Kamada Mugabi yakkiriza bwe yatikkibwa omugugu eyagumutikka n’amubulako omugugu kwe kugutwala ku William Street, Umar Mwanje w’akolera.

Bwe baagusumulula ne basangamu essimu (eya layini 0784629610).

NABIGGYAMU ENTA

Lwanga agamba nti yeebuuza ensimbi ezitegekebwa mu bajeti y’eggwanga okugenda mu Poliisi kye zikola kuba tebalina yadde ekyuma ekiyinza okulumiriza azzizza omusango.

“Nalaba nga ntengejjera busa kuba si kyangu omuwaabi okusinga omusango gw’ettemu naddala nga ogwa muwala wange kuba gwetaaga obujulizi obutaliimu kubuusibwabuusibwa,” bwe yagambye.

Agamba nti bwe yabuuza aba Poliisi abaalaba ku mulambo gwa muwala we obujulizi bwe baali bagenda okukozesa mu kkooti nga tewali kye balina.

Agamba nti yakizuula nga okubiyingiramu kuba kweyongera nnaku naddala ng’abatemu kkooti Abatemu baatukubiranga essimu poliisi ne bwe yabangawo ebatadde bwatyo n’asalawo oba babata babate nga taliiyo.

Agamba nti Poliisi yaliyo e Mulago nga baggyayo omulambo kyokka tewali wadde ekipima ebinkumu ebyakwata ku Joan nga tannattibwa ebiyinza okugeraageranyizibwa n’eby’abakwate okuzuula oba ddala be batta omwana.

“Ng’oggyeeko abasibe okukwatibwa tewali kikakasa nti ddala be batta omwana wange ate nga omu ku bo eddoboozi twaliwulira nga lye ly’oyo yennyini eyatukubiranga ssimu kyokka wadde essimu yange yabeera n’abaserikale ba poliisi okumala wiiki nnamba ng’abatemu bagikubako, tewali yadde amaloboozi agaakwatibwa ku butambi!,” bwe yagambye.

Yagambye nti bwe yabuuza omupoliisi yamutegeeza ekitongole kya Poliisi bwe kitalina byuma nti, bya buseere bibeera mu nsi ziri ezaakula!

Ne kkooti yiiyo n’okutuusa kati tetutegeezanga bigenda mu maaso! Nabita, mpaawo magombe gazza.

MU KKOOTI

Namatovu, nnyina w’omugenzi yagambye nti okuva abasibe lwe baakwatibwa mu March wa 2014 baasibirwa mu kkomera ly’e Luzira. Ne bavunaanibwa kkooti ento e Makindye ku nnamba MAK /00/AA/52/2014.

Nga October 10, 2014 kkooti yabasindika mu Kkooti Enkulu kyokka tebaategeezebwa kkooti nkulu ki gye gwaweerezebwa. Agamba nti abasibe abo mu kusooka baali tebamumanyi nti y’azaala omugenzi.

Agamba nti lumu (Namatovu) yali mu kkooti n’awulira ng’omu ku basibe abo akuutira mukyala we obutaddamu kukozesa “layini” ya ssimu gy’alowooza nti y’emu ku bbiri ze baakozesanga mu biseera we battira Joan kyokka ne gw’ategeeza yamubula era tamanyi oba abasibe baateebwa.

Alumiriza nti eddoboozi eryabakubira essimu nga libasaba ssente n’okubategeeza bwe basse omwana waabwe ly’omu kw’abo abaakwatibwa.

Namatovu agamba nti yabuuza Nyanzi Macrine Gladys , omuwaabi wa kkooti ento e Makindye ekiddako kuba wadde yali ategedde nti gugenze mu kkooti Enkulu, kyokka teyamanyisibwa gy’etuula kuba kkooti enkulu zituula mu bifo bya njawulo.

Namatovu agamba nti yamutegeeza nti yali wa kumanyisibwa mu bwangu. Kyokka okuva mu October wa 2014 okutuusa kati talina kye yali ategeezeddwa era essuubi lyabaggwaamu.

KKOOTI

Nnamba y’omusango MAK /00/AA/52/2014 bwe yakebeddwa mu ofiisi ewandiika emisango ku kkooti e Makindye okuzuula eby’omusango gw’okutta Joan Namazzi gye byakoma , nnategeezeddwa nti emisango gyonna egya nnaggomola egiva mu kkooti ento (ey’e Makindye) ne gisindikibwa mu kkooti Enkulu gitwalibwa mu kkooti y’e Kampala.

Ku kkooti Enkulu, omuwandiisi w’emisango egya nnaggomola Emmanuel Baguma yandaze ebiwandiiko ng’omusango guno gwayingizibwa mu biwandiiko bya kkooti enkulu nga October 27, 2014 ne guweebwa nnamba HCT -00-CR-0276-2014 era ne gukwasibwa omulamuzi Alividza Elizabeth Jane nga October 30, 2014.

Guliko abavunaanwa bataano: Aloysius Ssemanda 27 (musiizi wa langi e Bulenga), Kamada Mugabi 18, Asuman Muhereza 27 w’e Kasubi, Juma Said Ainebyona 26 w’e Lubaga, ne Umar Mwanje 43 w’e Kasubi.

Wabula olukalala olulaga entuula za kkooti lwe nnalagiddwa, tekwabadde lutuula lwonna abasibe bano lwe baali baleeteddwa mu kkooti!

Bwe yabuuziddwa ekivaako abasibe okulwa mu kkomera nga tebaleeteddwa mu kkooti yagambye nti kino oluusi kisinziira ku balamuzi ababa balina emisango emingi.

Ku musango oguvunaanibwa abatta Joan yagambye nti abasibe mu kkomera e Luzira gyebali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....