TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ensibuko y'obubbi mu masomero yeetaaga okuzibikira

Ensibuko y'obubbi mu masomero yeetaaga okuzibikira

Added 17th July 2017

OBUBBI obususse mu masomero butandise okutakuza abantu emitwe era waliwo n’abatandise okugamba nti obubbi bwe tulaba leero mu bitongole bya Gavumenti ne mu bifo ebirala buviira ddala mu masomero.

Omwana ng’ono ava n’ebintu bye awaka banne ne babimubbako.

Omwana ng’ono ava n’ebintu bye awaka banne ne babimubbako.

Bya MARY NAMBWAYO  NE VIVIEN NAKITENDE  

OBUBBI obususse mu masomero  butandise okutakuza abantu emitwe  era waliwo n’abatandise okugamba  nti obubbi bwe tulaba leero mu bitongole  bya Gavumenti ne mu bifo  ebirala buviira ddala mu masomero.  

Okumanya obubbi bungi oyinza  n’okugamba nti ne bakkondo gye  basibuka, anti bamanyi n’okumenya  kkufulu ezisiba kkeesi z’abayizi  bannaabwe okubba, bamanyi  n’okuzisumulula nga tebalina  bisumuluzo ne bamala okubba ne  bazizzaawo!  

Wabula abayizi abamu bagamba  nti obubbi businga mu baana  balenzi.  

Abasomesa abamu be twatuukiridde  abataayagadde kwatuukiriza  mannya gaabwe, baagambye  nti abaana b’abagagga be basinga  okwenyigira mu obubbi, baba  baamanyiira embeera ya ssente  n’okuzidiibuuda.  

Kale bw’abeera ne ssente entono,  alaba tezimumala era ekiddirira  kuba kubba za banne aweze  ez’okudiibuuda.  

Omusomesa ng’akebera ebintu omwana byazze nabyo.

 

Ate obubbi mu masomero,  tebukoma ku ssente zokka,  wabula n’ebikozesebwa ebirala  omuli; engoye, engatto, yunifoomu,  sitokisi, fulasika, ebikopo, kaliculeeta,  n’ebintu by’amasomero nga  kompyuta era abamu babitwala ne  babitunda ebweru w’essomero, ate  abamu ne babikozesa.

Kale ddala  oyo alibeera mukozi ki mu nsi eno  ng’amalirizza emisomo gye? Si  beebo ababba ensimbi z’eggwanga  kubula kuzikaliza mu ggwanika,  anti baba baabutandikira mu  ssomero nga bakyali bato.  

Abayizi abamu balina ebisumuluzo  ebiggula kkufulu  ez’enjawulo. Bano babikozesa  okuggula kkeesi za bannaabwe  nga bali mu bibiina oba mu  mizannyo.  

Ekireeta obubbi  Wabula omuze gw’obubbi  ebiseera ebisinga gutandikira  waka.

Omuzadde alina okulabula  omwana ku bubbi. Bw’oleka  5,500/-ku mmeeza n’odda  akawungeezi nga kubuzeeko  500/- ate ng’omwana takugambye  mubuuze gye zaalaze.  

Omuzadde olina okukebera  ebintu by’omwana by’akomyewo  nabyo. Bw’osangamu  ky’otaamuwa mubuuze gye  yakiggya. Abaana bamanyi  okujuliza mikwano gyabwe nti  baabibawadde.

Bw’omuzza ku  ssomero mukwano gwe munoonye  omubuuze oba ddala ye  yamuwa ebintu bye yadda nabyo.  Bw’aba abadde yeetoolatoola,  ajja kwekomako.  

Omuzadde olina okubuulirira  omwana abeere  n’obugumiikiriza. Bw’oba tolina  by’olya si y’enkomerero. Alina  okugumiikiriza okutuusa nga  bamuleetedde.  

Abantu be tuleka n’abaana  awaka oluusi be babayigiriza  okubba. Ayinza okuba omukozi  ng’oluusi akwata mu nsawo yo  ng’omwana amulaba n’aggyamu  ssente n’abaako ebyokulya  by’agula ku dduuka.

Omwana  naye ayinza okutandika okubba.  Enkola y’abayizi okweyeeya  oluusi ebaleetera obubbi. Omu  bw’aba waliwo ebintu by’atalina  ayinza okubba atuuke ku mutindo  gwa banne. Abazadde oluusi be bayigiriza  abaana okubba.

Beetoola  ng’abaana babalaba. Kale naye  n’ayiga era omuze ne gugenda  nga gukula.  Engeri obubbi gye bwegiriisiza mu masomero  Mulimu abazadde abakolagana  n’abaana nga babba.

Amulagira  okugenda okuggya ekintu ewa  muliraanwa ate n’atakizzaayo.  Abamu batuma abaana bagende  balimbelimbe abantu okubaggyako  ebintu.  

Mulimu abaana abalina omuze  gw’okwetoolatoola. Mu kifo  ky’omuzadde okugulwanyisa ate  abamu batandika kubawaana.  Wano omuze gweyongera kukula.

Abazadde okuzibira emize  gy’abaana baba nga abagisiga  gyongere okukula.

Kiwanuuzibwa nti omukyala  bw’abba ng’ali lubuto n’omwana  gw’azaala ajja kubeera mu bbi.  

Kale abazadde balina okwewala  omuze guno.  Andrew Ddamba, omusomesa  agamba; abaana basinga kubba ngoye, ssente ne yunifoomu.  obubbi mu baana butusobedde.  

Tufuna abaana abakulidde mu  maka ag’enjawulo, kale bajja  n’empisa za njawulo, naye  tugezaako okuzirwanyisa. Ebimu  ku bikolebwa okulwanyisa obubbi  mulimu;

1. Okulwanyisa obubbi bwa  ssente abazadde ze babalekera.  abayizi baabateerawo akawunti  ya buli muyizi, nga kuno abazadde  kwe bateeka ssente abaana  baabwe ze balina okukozesa ku  ssomero okumalako olusoma. Omwana  takkirizibwa kutereka ssente  mu kkeesi.  

2. Omwana bw’aba ayingira,  wabaawo olukalala lw’ebintu  by’aleese era bwe tumusanga  n’ebintu ekitali ku lukalala avunaanibwa  

3. Kkeesi z’abayizi b’ebisulo  zikeberwa buli luvannyuma lwa  wiiki ssatu nga tebasoose kubalabula,  okufuuza abatwala ebintu  bya bannaabwe.

 4, Abayizi abava awaka tebakkirizibwa  kuyingira mu bisulo. Mu  bano oluusi mubaamu abatwala  ebintu bya bannaabwe.  

5. Ate obubbi bwa notes oba  ebitabo bya bannaabwe, okubukomya  nga bakebera ebitabo bya  buli mwana, mu buli kibiina.  

6. ssinga omwana akwatibwa  ng’abbye eby’okulya bya munne,  omuzadde ayitibwa n’asasula ate  nabonerezebwa.

 7. Abaana ababba baswazibwa  mu maaso ga bannaabwe ku Assembly  ne beenenya.

 8. Yunifoomu zirambibwa ate  mu kifo ekirabika.  

9. Abaana tufuba okubateekamu  eddiini. okutya katonda,  kibatiisa okubba.

10. Abayizi tubaggulira omulundi  gumu so si kukkirizaako  bamu. Bwe bayingirira awamu  kizibu okukemebwa okutoola ku  bintu bya bannaabwe.

11. Abakozi ku ssomero balina  okubakebera nga bafuluma.  Bamanyi okukolagana n’abayizi  ne babawa ebintu bye babbye ku  bannaabwe babibatundire.  

Mu masomero ga pulayimale,  emisango gy’okubbihhana mitono  ddala.

Beetoolatoola ku bintu  nga ekkalaamu, ebitabo, ssapatu  n’ebirala. bwe wabaawo abba,  tuyita muzadde we n’abazadde  abalala ne tutuuza olukiiko ku  nsonga eyo okusobola okukomya  obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.