TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omuyaga gukubye Abamerika ne gubafukamiza

Omuyaga gukubye Abamerika ne gubafukamiza

Added 6th September 2017

ABAMERIKA mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, ge bakaaba ge bakomba olw’omuyaga ogw’amaanyi ogubagoyerezza wiiki bbiri ne gubaleka nga bafumbya miyagi.

 Amataba nga ganjadde mu nguudo ng’abantu bakozesa maato okutuuka mu mayumba gaabwe.

Amataba nga ganjadde mu nguudo ng’abantu bakozesa maato okutuuka mu mayumba gaabwe.

Bya MUSASI WAFFE

ABAMERIKA mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, ge bakaaba ge bakomba olw’omuyaga ogw’amaanyi ogubagoyerezza wiiki bbiri ne gubaleka nga bafumbya miyagi.

Omuyaga guno ‘Hurricane Harvey’, ogufukamizza Abamerika ku maviivi gwatandika nga August 13, 2017 nga gwasimbuka ku lubalama lw’oguyanja Atlantic mu West Afrika okumpi ne Senegal.

Bano baasobeddwa eka ne mu kibira ng’abamu baagala na kukaaba.

 

Gwatandiikiriza mpolampola nga gukunta ku sipiidi ya mayiro 40 buli ssaawa ne guyita mu mawanga ag’ebizinga eby’e St. Lucia, Barbados, St. Vincent Grenadines ne gutuuka mu Caribbean Sea ne Gulf of Mexico nga August 22, 2017 nga gwongeddemu sipiidi.

Nga August 23, 2017 lwe gwatuuka mu ssaza ly’e Texas. Gwali gwongeddemu amaanyi mu kukunta nga guli ku sipiidi ey’obulabe ya mayiro 130 buli ssaawa era bwe gwegattamu enkuba ekyaludde okutonnya mu Amerika, ne gujabagira!

Omu ku badduukirize ng’aweese omukazi okumuyisa mu mataba.

 

Okuva August 23, n’okutuuka eggulo ku Lwokubiri, ze wiiki nga bbiri, omuyaga Harvey kye gukoze Abamerika mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, nkoko baana.

Ebibuga eby’omulembe, eby’ebbeeyi era ebiyooyoote obulungi byonna byabulidde mu mazzi, amayumba g’abantu ago gaakulukuse n’enkuba ey’amaanyi ennyo ebadde telabwangako mu Amerika mu myaka 12 egiyise.

Abaana baabatuuzizza mu bbaafu ne baseeyeeyeza ku mazzi okwetegula ekibabu.

 

Ebintu ebyayonooneddwa omuyaga Hurricane Harvey bibalirirwamu doola obuwumbi 75 eza Uganda obuwumbi 270,000.

Amaka agasoba mu 20,000 gaasanyiziddwawo ng’abantu nga 30,000 baasigadde tebalina we beegeka luba.

Ono omwana baamwebasizza ku kasolya k’ennyumba ne bamubikka ettundubaali.

 

Abantu abaafa bali 66 kyokka omuwendo gusuubirwa okulinnya olw’omuyaga omulala ogujja oguyitibwa ‘ Hurricane Irma’.

Omuyaga Hurricane Irma gusuubirwa okugoyagoya amasaza okuli Florida , North Carolina n’amalala mu nnaku ntono ezijja era abantu baatandise okwetegula amaka gaabwe olwekyo kye baalabye e Texas ne Louisiana.

Pulezidenti Donald Trump yasabye Palamenti ya Amerika ddoola obuwumbi 7 n’obukadde 900 (eza Uganda obuwumbi 28,440) , zisooke zeeyambisibwe mu kudduukirira abantu abaakoseddwa omuyaga e Texas ne Louisiana .

Abasajja nga basindika mmotoka yaabwe okugiggya mu mazzi.

 

Omuyaga oguzze gugoya ensi

April 30-31, 1991.

Omuyaga ogw’amaanyi ogwakunta e Bangladesh okumala ennaku bbiri gwatta abantu 131,000 n’okutaataaganya abalala obukadde mwenda ne gusaanyaawo n’amayumba gaabwe.

Bangi ku bantu obukadde omwenda abaawona okuttibwa ate baafa ndwadde nga kkolera n’ekiddukano.

Omusajja ng’asitudde embwa ye beetegula ekibambulira.

 

August 29, 2005:

Omuyaga ‘Hurricane Katrina’ gwagoya essaza ly’e New Orleans mu Amerika ne gutta abantu 1,833 n’okutaataaganya 500,000 abaasigala nga bafumbya miyagi

March 27, 2011;

Omuyaga nga gulimu ne musisi oguyitibwa Tsunami gwayita e Japan abantu kumpi 30,000 ne bafa e Fukushima.

Emirambo 10,668 gye gyazuulibwa, abantu 16,574 n’okutuusa kati tebamanyiddwaako mayitire

Amataba nga gasazeeko ekibuga n’enguudo zonna zijjudde amazzi.

 

December 18, 2012:

Omuyaga gwayita mu Philippines ne gutta abantu 1,987 n’okusengula abasoba mu 100,000 .

December 26, 2004:

Omuyaga Ssemayaga nga gulimu ne musisi gwakunta okuva mu Gguyanja Indian Ocean ne gukuba amawanga 14 okuli: Indonesia, Sri Lanka, Buyindi, Thailand, Maldives, Malaysia, Madagascar, Somalia, Kenya, Tanzania ne South Afrika ne gutta abantu abasoba 280,000 n’okusaanyawo ebintu ebibalirirwa mu butitimbe bwa ssente.

Omusajja ng’asitudde mukyala we ne bbebi abayisa mu mataba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...