TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Waliwo abaalaba abaapanga emmotoka ezaagambibwa okutta Luwum - Kyemba

Waliwo abaalaba abaapanga emmotoka ezaagambibwa okutta Luwum - Kyemba

Added 16th February 2018

Emirambo bwe gyatuuka e Mulago n’agendayo, kyokka kyankuba wala okugituukako nga gyonna gijjudde ebituli by’amasasi ku mutwe.

 Omugenzi Archbishop Janan Luwum

Omugenzi Archbishop Janan Luwum

Bya KIZITO MUSOKE

HENRY Kyemba ye yali minisita w’ebyobulamu ku mulembe gwa pulezidenti Idd Amin mu kiseera Ssaabalabirizi Janani Jakaliya Luwum we yattirwa era y’omu ku bantu abaasembayo okubeerako naye.

Kyemba eyawummula ebyobufuzi ng’abeera Jinja yayogedde by’ajjukira ku bulamu bwa Ssaabalabirizi obwasembayo ku lunaku lwa February 16, 1977 kwe yattirwa.

Y’omu ku bantu abatono abaalaba ku mulambo gwa Luwum eyagambibwa nti yali afunye akabenje.

Obulamu bwa Luwum obwasembayo ku nsi n’okutuuka okuttibwa byonna byalimu ebitakkirizika okusinziira ku Kyemba.

Wadde wayise emyaka 41, kyokka ebyaliwo byonna abinyumya ng’ebyabaddewo eggulo.

OLUNAKU LUWUM LWE BAAMUTTA

Olunaku lwa February 16, 1977 lwatandika ng’olunaku olulala nga tetumanyi nti gye lunaggweera ejja kuba ntiisa.

Yali nkola ya Amin okutuuza enkiiko ku wooteeri ya Nile Mansion mu kiseera kino awali wooteeri ya Serena ku mwaliiro ogwokubiri. Buli pulezidenti lwe yatuuzanga enkiiko baminisita be we twamusanganga ne tubeerako bye tumunnyonnyola n’okufuna ebiragiro okuva gy’ali.

Ne ku mulundi ogwo era bwe kyali anti twakeera ku Nile Mansions awaali wagenda okubeera omukolo gw’okwolesa eby’okulwanyisa.

Amin yali ayagala nnyo amagye nga yatuuka n’okwewa ebitiibwa ebisingayo nga: Field Marshal, Conqueror of the British Empire, Distinguished Service Order, Millitary Cross n’ebirala.

Bwe natuuka nalabirawo nti embeera si yaabulijjo kuba ekifo kyonna kyali kyetooloddwa eby’okulwanyisa n’abajaasi abaali abangi ddala.

Musajja wa Amin gwe yali yeesiga ng’emmundu emmenye, Col. Isaac Maliyamungu yaliwo nnyo okukakasa nti buli kimu kiri mulaala nga bwe baali bakyagala.

Mu kiseera ekyo Amin yali alaba buli kigenda mu maaso wansi, ng’asinziira ku mwaliiro ogwokubiri kwe yatuulanga.

Oluvannyuma pulezidenti Amin yayita olukiiko olwetabwamu baminisita, bannaddiini n’abajaasi mu kisenge ekinene ekiteesezebwamu. Pulezidenti mu kwogera okwatwala ekiseera ekitono yalumiriza Ssaabalabirizi Luwum n’abantu abalala nga bwe baali beetabye mu bikolwa by’okulya mu nsi olukwe.

Yalaga ebbaluwa ez’enjawulo ze yalumiriza nti, Ssaabalabirizi ye yali aziwandiikidde Obote nga balina ekigendererwa ky’okuwamba Gavumenti ye.

Ssaabalabirizi Luwum yali atuulidde ddala kumpi nange ng’agasimbaganye ne Amin.

Mu kiseera nga bamulumiriza okulya mu nsi olukwe, yanyeenya omutwe mu ngeri eraga nti yali yeewunya ebyali byogerwa. Kyokka teyaweebwa mukisa gwonna kubeerako ky’ayogera ku musango omunene gwe baali bamutaddeko.

Oluvannyuma amagye gaafulumya Ssaabalabirizi Luwum ne baminisita be baali bamuvunaana naye ogw’okulya mu nsi olukwe okwali; Erinayo Oryema ne Oboth Ofumbi okuva mu kisenge mwe twali.

Olukiiko twalumala ku ssaawa 10 ez’akawungeezi ne nzira eka. Enkeera nalina ekibinja ky’abantu abaava ebweru be nalina okulambuza ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Pulezidenti namutegeeza ku bagenyi bano kyokka ng’alabika ebirowoozo tebiriiyo.

Bulijjo bwe wabuuliranga Amin ekintu ng’asooka kusaagamu ng’akubuuzaayo ekintu kimu oba bibiri.

Kyokka ku mulundi guno yali alabika ng’ebirowoozo biri walala era sisuubita nti bye namunnyonnyola yabitegeera.

Kyemba ne Amin

 

SSAABALABIRIZI AFIIRA MU KABENJE

Mba naakatuuka awaka ku ssaawa emu ey’akawungeezi ne nfuna essimu okuva ewa Gen. Mustaphar Adirisi, eyali omumyuka wa Pulezidenti n’antegeeza nti Ssaabalabirizi Luwum ne baminisita abaali bakwatiddwa bwe baali bafiiridde mu kabenje.

Kyankuba wala okuba ng’abantu be baali bavunaana ate okuba nga mu kiseera kye kimu baali bafiiridde mu kabenje.

Wadde nali nkiwulidde okumala ebbanga nti abantu battibwa, kyokka kino kyali kyeragirawo nti kano akabenje kaali kapange.

Tewaali muntu yali alowooza nti Amin yali ayinza okutabuka n’atuuka n’okutta omuntu nga Ssaabalabirizi Luwum.

Bangi ku ffe twali tulowooza nti ayinza kuzannyira ku bantu nga Kyemba era kino kyankakasa nti omusajja agwiiridde ddala eddalu.

Bantegeeza nti akabenje kaali kagudde mu kifo awali wooteeri ya Sheraton mu kiseera kino.

KYATWALA ESSAAWA 11 OKUTUUSA EMIRAMBO E MULAGO

Bwe bantegeeza nakubira ab’eddwaaliro ly’e Mulago basobole okwetegekera okufuna emirambo gy’abantu ab’obuvunaanyizibwa abaali bafiiridde mu kabenje.

Kyali kitegeerekeka nti girina okutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu gisobole okukolwako mu ddakiika entono.

Kyokka neewunya okuwera essaawa ettaano ng’emirambo teginnatwalibwa Mulago, era nga kizibu okumanya gye giri.

Emirambo egyafuna akabenje ku ssaawa emu ey’akawungeezi gyatuusibwa e Mulago ku ssaawa 11 nga bukya.

Ekimotoka ky’amagye kye kyagireeta nga kuliko abaserikale ne bagireka awo ne beeyongerayo.

Amin yandagira ng’eyali minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu okuleeta ebbaluwa y’omusawo eraga ekyasse abagenzi.

Naye bwe nagamba omusawo wa Gavumenti, Dr. Kafeero n’agaana okugikola. Abasawo b’amagye oluvannyuma baayitibwa ne bawa lipooti ekwata ku bafu mu mbeera etakkirizika.

Emmotoka ezigambibwa nti ze zaafuna akabenje zaali zirabika nga zaafunako akabenje mu kiseera eky’emabega.

Emmotoka yennyini eyagambibwa nti Ssaabalabirizi ne baminisita mwe baali, yali emu ku mmotoka za Amin ze yakozesanga.

Emmotoka yennyini eyagambibwa nti ye yatomera Range Rover omwali Ssaabalabirizi ne baminisita batere bafe bonna, yali ntono nnyo nga kyali tekisoboka bonna okufiiramu olumu.

Abaajingirira akabenje nga bawuddiisa abantu tebaamanya nti waaliwo abantu abaali ku bizimbe waggulu okumpi abaabalaba nga bapanga emmotoka ze baagamba nti zaali zitomeraganye.

Ekimu ku kyannuma ennyo baafulumyanga sitatimenti mu linnya lyange, kyokka nga sirina we nnyinza kusinziira kubiwakanya nti si byange.”

Wandisuubidde nti akabenje omwafiira abantu ab’amaanyi nga Ssaabalabirizi Luwum ne baminisita babiri olwandiguddewo olukiiko lwa kabineeti lwanditudde bunnambiro, kyokka tewali kyaliwo.

EMIRAMBO GYALIKO EBITULI BY’AMASASI

Emirambo bwe gyatuuka e Mulago n’agendayo, kyokka kyankuba wala okugituukako nga gyonna gijjudde ebituli by’amasasi ku mutwe.

Kyokka saalina we nnyinza kubuuliza kuba si nze eyali avunaanyizibwa okufulumya ebbaluwa y’omusawo eraga ekyasse abagenzi.

Embeera y’emirambo yammala okukakasa nti akabenje kaali kapange naye ng’abafu baali battiddwa masasi ge baabakuba.

Oluvannyuma neetegula ne nva mu ggwanga kuba abantu baali basusse okuttibwa n’okubuzibwawo omwali ne muganda wange.

Mu April wa 1977, neetegula eggwanga ne famire yange ne tuwahhanguka,” Kyemba bwe yanyumizza ku bulamu n’olunaku Luwum kwe yattirwa.

EKIZIMBE KYA CHURCH HOUSE BAKIBBUDDEMU LUWUM

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali yagambye nti olukiiko olufuga ekkanisa lwasazeewo okubbula ekizimbe kya Church House mu mugenzi Luwum. Ekizimbe kino ekisangibwa ku luguudo lwa Kampala Road baakituumye Janan Luwum Church House.

Kuno kwe baagasse n’okumulangirira ng’omujulizi w’ekyasa kya 20 nga bajjukira emirimu gye yakola n’atuuka n’okuttibwa ng’alwanirira eddembe ly’abantu.

Mu kiseera Luwum we baamuttira ye yali akulira ekkanisa mu Uganda, ebitundu bya Eastern Congo, Rwanda ne Burundi.

Emikolo emikulu gikuziddwa leero ku kyalo Mucwini mu disitulikiti y’e Kitgum.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...