TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebikyasoomooza Uganda mu myaka 56 bukya twefuga

Ebikyasoomooza Uganda mu myaka 56 bukya twefuga

Added 10th October 2018

NGA tujaguza emyaka 56 egy’ameefuda, Uganda eyise mu kusoomoozebwa mu bintu bingi wadde nga era waliwo bingi ebituukiddwako.

 Ekitundu ku luguudo lwa Entebbe Express Highway olw’okusasulira.

Ekitundu ku luguudo lwa Entebbe Express Highway olw’okusasulira.

1 Ebyenjigiriza:

We twogerera kati abantu 70 ku buli 100 basobola okusoma n’okuwandiika kyokka ekibi abasinga obungi ku bano tebalina mirimu gya mu mutwe gisobola kubayimirizaawo.

Amasomero ga nnasale galinnye okuva ku 5,763 mu mwaka gwa 2016 okutuuka ku 6,798 mu mwaka gwa 2017 nga n'obungi bw'abayizi abatandika mu nnassale bulinnya mu kiseera kye kimu okuva ku 477,123 okutuuka 563,913.

N’abayizi mu masomero ga pulayimale beeyongedde obungi okuva ku 8,264,317 mu 2016 okutuuka ku 8,655,924 mu mwaka oguwedde Abayizi abali mu masomero ga siniya nabo beeyongedde obungi okuva ku 1,284,008 mu mwaka gwa 2016 okutuuka ku 1,457,277 omwaka oguwedde ng'abo abali mu nkola ya Bonnabasome eya Universal Secondary Education (USE) baalinnya okuva 912,394 mu mwaka gwa 2016 okutuuka ku 952,539 omwaka oguwedde.

2 Ebyobulamu:

Okutwaliza awamu ebyobulamu kukyali kusoomooza kwa maanyi eri eggwanga, gamba nga mu malwaliro obutabeeramu ddagala, omuwendo gw’abasawo okubeera omutono ennyo bw’ogerageranya n’abantu abeetaaga obuweereza.

Okubalirira okwakolebwa mu mwaka gwa 2014, kwalaga nti mu ggwanga mulimu amalwaliro amanene 147, ate agali ku mutendera gwa Health Centre IV gali 188 nga kino kivaako abantu okutambula ehhendo empanvu, naddala abakyala abazaala, okutuuka awali obujjanjabi.

Wabaddewo okugenda mu maaso okuziyiza endwadde ezitta ennyo naddala abaana abato nga gavumenti eyita mu kugema abaana olukusense, ekifuba ekiraakiira, ekiddukano, wamu n’okugaba obutimba bw’ensiri kyokka nga era obwetaavu bukyali bwa maanyi naddala okubunyisa ebitundu by’eggwanga obutimba bw’ensiri okuziyiza omusujja.

Endwadde ez’amaanyi nga ez’emitima, kookolo, kukyali kusoomooza kwa maanyi mu byobulamu olw’obutaba na byuma bimala mu ggwanga okuzijjanjaba nga kino kiwaliriza abantu okugenda ebweru okujjanjabwa ku nsimbi ennyingi ennyo, bangi ku Bannayuganda ze batasobola kufuna.

Wabula Dr. John Omagino akulira eddwaaliro ly'emitima erya Uganda Heart Institute agamba nti endwadde esizinga ezeekuusa ku mitima basobola okuzijjanjabira wamu mu Uganda ng’omuntu kimwetaagisa okusasula ensimbi wakati wa 5,000/- ne 20,000/- doola za Amerika.

Amalwaliro agalina ebyuma ebikebera omusaayi (Laabu) beeyongedde obungi nga mu mwaka gwa 2014 gaali ebintu 99 ku 100 nga zisobola okukebera endwadde ezisinga okutawaanya Bannayuganda okuli omusujja n’endwadde endala.

Obungi bw'abakyala abafiira mu ssanya bweyongedde okukendeera okuva ku 109 okutuuka ku 53 ku buli bamaama 1,000 okuva mu 2006 okutuuka mu 2016 wadde nga wakyaliwo okusoomoozebwa olw'abaana abafa mu kuzaalibwa abakyala 336 ku buli 100,000 abazaalibwa okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu 2016.

Kyokka wakyaliwo okusoomoozebwa kw’abakyala bangi abatafuna bujjanjabi bwetaagisa ng’okubeera ewala n’amalwaliro, eggwanga obutaba na bakugu bamala abakola ku ndwadde z’abakyala, n’abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka.

3 Ebyenfuna by’eggwanga:

Okutwalira awamu wakyaliwo ebisoomooza bingi ku byenfuna by’eggwanga naddala ebbula ly’emirimu mu bavubuka, ensimbi ya Uganda okubeera ennaabuufu bw’okigeraageranya n’ez’amawanga ag’ebweru naddala gyet uggya ebikozesebwa.

Ebintu ebisinga bye tukozesa mu ggwanga bikyava bweru, ekiviirako eggwanga okufulumya ensimbi ennyingi ezandikoze ku bintu ebirala ebikulaakulanya eggwanga n’okulongoosa obulamu bw’abantu babeere mu mbeera ennungi.

Kyokka waliwo kaweefube wa gavumenti okwongera ku bintu ebitundibwa ebweru w’eggwanga okugeza ng’emmwaanyi.

Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi Vincent Bamulangaki Ssempijja agamba nti, gavumenti eyagala Uganda ebeere ng’etunda ensawo z’emmwaanyi obukadde 20 mu mwaka gwa 2025 we gunatuukira, nga mu kiseera kino tutunda ensawo obukadde 4.

4 EBY ’ENTAMBULA :

Kkiromita eziwera 5000 ez’enguudo mu Uganda ze zaakakubwa koolansi okwetooloola eggwanga lyonna ate kkiromita 10,000 ziyiiriddwa malamu.

Kyokka wadde kino kiri kityo, enguudo ezisinga obungi mu ggwanga zikyali mbi nga n’ezikoleddwa za mutindo gwa wansi ezoonooneka amangu olw’abavunaanyizibwa okubba ensimbi ne bakola omulimu ogutali ku mutindo.

Entambula ekyakaluubiriza nnyo abantu olwa gavumenti okuggya enta mu by’ensaabaza y’abantu n’ebirekera abantu n’amakampuni ag’obwannannyini ekivaako buli kiseera okupaaza emiwendo nga bwe baagala.

Kkampuni ezaali eza gavumenti nga UTC, Uganda People’s Transport zaggalwa.

5 Amasannyalaze:

Wadde ng’amabibiro geeyongeddeko, naye wakyaliwo okusoomoozebwa nti emiwendo gy’amasannyalaze gikyali waggulu nnyo. Mu bitundu eby’ebyalo tennatuuka masannyalaze ate nga ne bwe ganaatuukayo, abantu tebalina busobozi bugeetuusaako olw’ebbeeyi ennene kwegali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...