TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Biki ebireese obwavu obuleetedde abantu okweyaguza oluggyo!

Biki ebireese obwavu obuleetedde abantu okweyaguza oluggyo!

Added 14th February 2019

Omwaka 2019 bwe gunaatambulira mu kukaaba obwavu kwe gutandise nakwo, ebyenfuna bya Uganda byandyeyongera okweraliikiriza bannansi.

 Abasuubuzi nga batikka ebyamaguzi okubitwala e Juba

Abasuubuzi nga batikka ebyamaguzi okubitwala e Juba

Bya  Mohammed Sebuliba

OMWAKA 2019 bwe gunaatambulira mu kukaaba obwavu kwe gutandise nakwo ebyenfuna bya Uganda byandyeyongera okweraliikiriza bannansi.

Ekyewuunyisa kiri nti omwaka gutandise entambula eri waggulu ate nga bbeeyi y'emmere esse. Kino kitegeeza nti omulimi afuna kitono ate ng'asaasaanya kinene naddala mu ntambula. Bukedde akuleetedde ebivuddeko ebyenfuna okukaluba omwaka nga gwakatandika.

URA erwawo okuta ebyamaguzi abasuubuzi ne bakosebwa

Ayubu Kintu omu ku bayingiza ebyamasannyalaze mu ggwanga obwavu obususse abuteeka ku kitongole ekisolooza emisolo mu ggwanga ekya URA.

"Ekitongole kino kyalabika ng'ekitereezezza ensolooza y'emisolo bwe kyateekawo ebifo eby'enjawulo emisolo mwe gisoloolezebwa naddala ffe abayingiza ebyamaguzi mu ggwanga.

Omusuubuzi atuusa ebintu bye naye ekitongole kirina omuze gw'okulwisa ebyamaguzi ku bifo bino wadde ng'omusuubuzi aba mwetegefu okusasulira kalonda  yenna nga bw'aba agerekeddwa.  Ebyamaguzi ebimu biba n'akatale akagere, ne katuuka okuggwaawo nga bakyabikutte, okugeza bw'oba oleese bintu by'abaana abadda ku ssomero, bayinza okutuusa okuddayo nga bikyalemedde ku URA, bagenda okubikuwa ng'akatale ke wali obaze kaabiyitako dda.  

Ekyandikoleddwa kwanguyiza musuubuzi naye asobole okutuuka mu katale amangu akole addemu aleete ebirala nga bw'asasula emisolo, omusuubuzi n'afunamu ne gavumenti n'efunamu. 

Kintu ayongera n'agamba nti ebyamaguzi bwe bikeerewa waliwo ababa babirinze okubisuubula babifuneko akantu. Abo bonna balumwa obwavu.

 Obukodyo mu bannamakolero obulemesa

Abudalla Kalule ye alojja ngeri bamusigansimbi gye bamaamidde akatale.

"Abagwira abayingira mu ggwanga bajjira mu kiti kya bamusigansimbi. Mu ngeri eno baba basuubirwa kutondawo amakolero amanene kyokka bwe batuuka badda mu kukola oba okutunda  obuntuntu obutono obwandibadde bukolwa bannansi. Nze nagenda e China ne nsuubula ebyamaguzi okuva mu kkampuni emu. Nabinona emirundi esatu ogwokuna nadda ne maneja wa kkampuni eyo.

Kati bye ntunda by'atunda ate ye atunda ku bbeeyi ya wansi nnyo kuba ebintu y'abikola ate ye olwokuba musigansimbi n'omusolo asasula gwa nseko. Ekyandikoleddwa kwekenneenya bantu bano balabire ddala oba bye bazze okukola mu ggwanga birina kye byongera ku ggwanga okusinga okukola obulimo obusobola okukolwa bannansi.

ENSIMBI Z'OBUPANGISA ZITUTTA

Luwaga Nakato, omusuubuzi w'engoye bw'akwata ekkalaamu n'akubalira ensaasaanya y'omusuubuzi weewuunya.

"Edduuka eddamba eritandikirwako mu kibuga lisasulwa 1,500,000/-. Amaduuka agali  ku mugguukiriro gw'ebizimbe gasasulwa wakati wa 3,000,000/- ne 5,000,000/-. Kuno kuliko eza kasasiro, amasannyalaze bannyini bizimbe babala mataala. Buli ttaala esasulwa  40,000/-. Omupangisa ne bw'akyaza omugenyi amusasulira eza kaabuyonjo.

Omusuubuzi yeetaaga okutereka 200,000/- buli lunaku okusobola okuweza ensaasaanya y'edduuka eya 6,000,000/- buli mwezi. Bannyini bizimbe n'ezo bayinza okuzikyusa emirundi egisukka mu esatu omwaka. Teweerabira tusasulira mu ddoola bw'erinnya ziba zirinnye,"  Nakato bw'annyonnyola.

 

AB'ENNUUNI  OKUBAKIJJANYA KUBAAVUWAZZA

Charles Tebandeke omulwanirizi w'abasuubuzi b'ennuuni era omuwandiisi ku lukiiko olugatta abasuubuzi baazo agamba nti omulimu gwabwe gwali gwa kitiibwa naye okweyagaliza ne kugubbika.

Tetuyinza kuba na nsimbi mu nsawo ng'omulimu gwe tukoledde emyaka gwafuuka okulya mu nsi olukwe.

Omuvubi asangibwa n'ennuuni akubwa emiggo n'abamu batambulira ku miggo so waliwo n'abattiddwa olw'ennuuni. Abantu gye bakaabira ffe tetwanditegeddeyo naye obuzibu buli ku kuyigganya mulimu gwaffe. Abachina abaaleetebwa okusiga ensimbi bavuga mmotoka ne batikka ennuuni mu mmotoka ne batambula kyere.

  

Ebintu bye twatundanga ebweru w'eggwanga tetukyabitunda

Haji Rajabu Bukenya ng'ono ye Ssentebe w'abasuubuzi mu Kiyembe agamba nti obusuubuzi bwafa. Edda abasuubuzi baavanga mu nsi ezituliraanye nga Rwanda, Burundi, Congo ne Kenya ne basuubula kuno ebyamaguzi.

Ekyabagoba kuno kwe kubabinika emisolo ku nsalo. Omusuubuzi eyakimanga ebyamaguzi mu Uganda yagendanga okubalaabalamu nga kumpi omusolo ogumuggyibwako gujula kwenkana na gw'oyo alinnye ennyonyi n'abikima e China. Kati nabo babyekimira. Abasolooza emisolo bandikitunuddemu.

EMBALA Y'EMISOLO ERONGOOSEBWE

Bukenya omusuubuzi w'ejjoola okuva e China agamba nti ababalirizi b'emisolo bwe baba babala omusolo buli jjoola bagibalira omusolo. Si jjoola yokka wabula buli yaadi bagikuba omusolo. Omusolo gubalibwa mu doola. Bw'erinnya nga waakatuusa emmaali omanya bikusaze ate bw'ekka temala nnaku nga tennalinnya olumu okulinnya okusinga ne kye wabalirira. Bukenya bw'agamba.

E CHINA BALI MU LUWUMMULA

Edward Mulindwa Nsamba, omusuubuzi ku HAM obwavu obususse abuteeka ku ngeri Bannayuganda gye basuubulamu.

 

"Okweyiwa mu nsi emu nayo erina lw'enafuya ebyobusuubuzi.

Abasuubuzi baaziga China era bonna gye beeyiwa okusuubula. Abachina mu myezi gino (January ne Febuary) baba mu kuwummula. Kati abasuubuzi ensimbi bazisibye okutuusa ng'omwezi guno guweddeko olwo baddeyo e China basuubule.

Abasuubuzi bandirumbyeko ne ku nsi endala osanga nayo waliyo ku byamaguzi ebirungi. Mulindwa bw'agamba.

ESSANYU LIKOMA MU DECEMBER

Shamim Nakabugo atunda ebiteeteeyi agamba nti yakoma okutunda mu biseera by'ennaku enkulu.

"Ensimbi z'obupangisa zituuka ne zibula. Era kati tuggulawo lwa butatuula waka naye bye tutunda bitono ddala.

Mba na buyinza nandyogeddeko ne bannyini bizimbe emyezi egibeereramu abaguzi ne tusasula ensimbi nga za njawulo.

 Tulina emyezi gye tumanyidde ddala ng'abasuubuzi bava awaka ne baddayo nga bwe bazze awatali kutunda yadde akagoye akamu". Nakabugo bw'annyonnyola.

ABA KACITA BAWABUDDE

Akulira ebyokwerinda mu kibiina ekikulembera abasuubuzi ekya KACITA, Jjemba Kanaakulya Mulondo tawakanya kya bwavu mu bantu.

"Obwavu tebuli mu Kampala mwokka ne mu byalo gyebuli. Ensi yaffe ekyalemeddwa okumanya wa awalina okuteekwa essira  omuntu aggyemu ensimbi. Enswa bw'ekyusa amaaso envubo nayo ekyusibwa. Omusana gwaka ennaku zino kyokka abalimi batunula ku ggulu nga balindirira enkuba. Watya ssinga emala omwaka nga tetonnye?

 Bwandibadde buvunaanyizibwa bwa Gavumenti okuteekawo enkola y'okufukirira ebirime omulimi aleme kulowooza nti sizoni ziba bbiri zokka mu mwaka.

OKUNAABUUKA KW'ENSIMBI

Mulondo ayongera n'ategeeza nti ensimbi y'eggwanga nayo eri wansi bw'ogeraageranya ku nsimbi z'ensi endala. Abasuubuzi bakaaba olw'ebisale by'ebizimbe kyokka ebizimbisibwa nabyo biri waggulu ddala. Omuntu azimba ekizimbe ng'akozesezza obuwumbi 50. Ensimbi ezo kizibu okuddamu okuzirabako omulundi ogumu so nga mu kuzimba zitoolwa omulundi gumu.

AMAGEZI KU MISOLO

Mulondo agamba nti kino kiyinza obutawoomera bantu. "Nga Gavumenti bw'eba n'ebiruubirirwa eby'ensimbi okuva mu musolo ebya buli

mwaka, ekyandikoleddwa kuteeka ku  buli kintu omusolo omutono. Abasasuzi baagwo babe bangi batuuke ku kiruubirirwa kya Gavumenti eky'omwaka okusinga okugubinika abatono ekibalemesa mu bizinensi.

Ku Arua Park awo mu makkati g'ekibuga we wasimbula mmotoka ezitikka ebyamaguzi okubiyingiza South Sudan.

Suzan Yoyo asuubula ebitengi mu Kampala n'abitikka okubituusa e Sudan akutendera bubwe. Mu kusooka byali bifuna kiralu nga buli lugenda nsobola okukuhhaanya amagoba agaweza 2,000,000/-.

Bwe byali si bwe biri. Okubala ku ngeri gy'oyinza okufuna amagoba nzibu ddala. Ebintu bye tusuubula mu Uganda mu Sudan  tubitundira mu pawundi. Ate bwe tubimalawo mu kudda mu Uganda ensimbi tuzivungisa ne tuzizza mu za Amerika (doola). Bwe tutuuka mu Uganda ne tuzikyusa mu za Uganda tusobole okugula  bye tunonye. Bw'otoba mwegendereza ate omubazi ennyo ensimbi enkyuse enfunda essatu kizibu obutakusala.

 ENSASULA Y'OMUSOLO KU NSALO

Yoyo agamba nti ensasula y'omusolo nayo tematiza musuubuzi. Abo bonna ababa n'ebyamaguzi ku kidduka bwe batuuka ku nsalo e Nimule ensimbi z'omusolo bazikwasa baddereeva era be babasasula omusolo nga bo bannannyini mmaali tebaliiyo.

Ate Bannasudani nabo si bangu. Omusuubuzi ne bw'asasula omusolo ng'ali ku ludda lw'e Uganda ate oluba okulinnya ekigere mu Sudan nga nabo banjuluza lisiiti kubasaba misolo. Kino kiteeka omusuubuzi mu kufiirwa oluusi n'okugURA NE UNBS

Ebitongole bino ebibiri, ekisolooza emisolo mu ggwanga  n'ekivu- naanyizibwa ku mutindo bw'ebyamaguzi (UNBS) bikola kinene mu kukuumira abasuubuzi mu bwavu.

Emigugu egitikkibwa okuyingira mu ggwanga bwe gimala okwekebejjebwa n'okulambika omuwendo gw'emisolo era omusuubuzi n'agusasula ate olwo abakola ku mutindo UNBS ne bakwata omugugu n'ebirimu nti omutindo gw'ebintu mufu.

Kino ekitongole kiyinza okukuuma ebintu okumala ebbanga eddene oluusi n'okubiremera nga bagamba nti byonna bifu. Ekyandikoleddwa, URA ne NBS bandibadde batuula wamu, ebyamaguzi bwe biyingira ng'aboomutindo basooka okubyekebejja era bwe balaba nga basaanye olwo aba URA ne basala emisolo ng'olumala okusasula ng'omusuubuzi atwala mmaali ye.

 

MINISITA ATANGAAZIZZA

Minisita w'ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde bwe yatuukiriddwa yagambye nti obwavu buba busuubirwa mu biseera bino. Abamu si baavu nga bwe kyogerwa naye ebiseera by'emyezi gino kiba kisuubirwa. Abazadde baba baakazza abaana mu masomero. Ate tuba twakava mu nnaku enkulu ng'ensimbi abantu bennyini bazisibye mu kuzikuuma. Abamu bazikolamu ebibagasa mu maaso.

Ku ky'ensasula y'emisolo Kyambadde yagambye nti ekitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga kyakwatagana ne minisitule y'ebyobusuubuzi ne batereeza n'okugondeza abasuubuzi ensasula y'emisolo nga bakozesa TIN nnamba n'ebirala. wa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...