TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Oluguudo lwa Mpereerwe okutuuka e Buwambo lunatta abantu bameka okulukola!

Oluguudo lwa Mpereerwe okutuuka e Buwambo lunatta abantu bameka okulukola!

Added 6th June 2019

ABANTU abakozesa n’ababeera mu bitundu omuyita oluguudo lwa Mpereerwe - Nammere - Kiteezi - Lusanja - Ka­baga okutuuka e Buwambo beeyongedde okukaluubirizibwa olw’embeera embi oluguudo luno mwe luli.

 Emmotoka nga zikiibakiiba okwewala okugwa mu kinnya ekiri mu kkubo.

Emmotoka nga zikiibakiiba okwewala okugwa mu kinnya ekiri mu kkubo.

 ABANTU abakozesa n'ababeera mu bitundu omuyita oluguudo lwa Mpereerwe - Nammere - Kiteezi - Lusanja - Ka­baga okutuuka e Buwambo beeyongedde okukaluubirizibwa olw'embeera embi oluguudo luno mwe luli. Oluguudo luno luweza kkiromita 11 okuva e Mpereerwe Kuttaano okutuuka e Buwambo. Lujjudde ebinnya ku mabbali ne mu makkati gaalwo, abatuuze kye bagamba nti gye lukomye okufunda n'obubenje okweyongera. Kalondoozi wa Bukedde bino by'azudde. 

 ABATUUZE bakita­dde ku kitongole kya KCCA olw'okubakandaaliriza okud­daabiriza oluguudo lwabwe lwe bagamba nti mu kiseera kino lufuuse kattiro. Abantu okuva mu miruka okuli; Kawempe II n'e Mpereerwe bagambye nti oluguudo luno kwe kuyita em­motoka za KCCA n'eza kkampuni z'obwannannyini zonna ezikuh­haanya kasasiro mu Kampala okumutwala ku ttaka lya Gavu­menti mu Kiteezi.

Baagambye nti kyenkana oluguudo luno KCCA yalufula lwa kulirako ssente za muwi wa musolo kuba, okwandibadde ng'okuluddaabiriza, buli ki­tundu awajja ekinnya, abakozi b'ekitongole bakanya kukubawo biraka.

Ebitundu 80 ku luguudo luno biri mu disitulikiti ya Kampala (Nammere, Mugalu, Ssekanyonyi ne Ssekati Zooni) ate ebitundu 20 biri mu Wakiso (Lusanja, Kiteezi ne Buwambo) wabula bwe kituuka ku bizibu n'ebinuubule ng'ebinnya, enfuufu n'obubenje abantu babigabaana kyenkanyi.

Baagambye nti kkoolaasi aliko yateekebwako nga lukolebwa mu myaka gya 1990 ku mulembe gw'omugenzi Ssebaana Kizito bwe yali Meeya wa Kampala.

Joseph Kawooya Luswata mutuuze w'e Nammere, agamba nti mu 1998, KCCA yagenda oku­leeta pulojekiti y'okuyiwa kasa­siro mu Kiteezi ye yasangibwawo mu kitundu ekyo, n'agamba nti babadde bagumidde eki­vundu ebbanga lyonna naye ate obunkenke bubeeyongedde olw'obubenje obususse.

Yagasseeko nti balina n'ekizibu ky'ebbula ly'amazzi amayonjo mu kitundu kyabwe kuba nayikondo ze babadde basenako amazzi zaayonooneka n'asaba aku­lira KCCA, Ying. Andrew Kitaka okubasembereza amazzi.

 kinnya ekirala ekiri okumpi nkkanisa ya t tephens e pereerwe Ekinnya ekirala ekiri okumpi n'Ekkanisa ya St. Stephen's e Mpereerwe.

 

ABAKULEMBEZE BOOGEDDE

Charles Kyobe ssen­tebe Namere zooni; abantu bangi mu kitundu kyange bafunye obulemu olw'obubenje obuyitiridde ku luguudo luno.

Mu kisanja kya Jennifer Musisi eyali dayirekita wa KCCA, ab'ekitongole kino baayita abantu mu nkiiko ez'enjawulo ne babasuubi­zza okugaziya luguudo naffe kye twasanyukira era abantu bangi baali bakkirizza okuli­yirirwa nga beetegefu oku­waayo poloti zaabwe wabula twakoma ku munaabo kuba byakoma mu lukiiko.

Buli luvannyuma lwa my­ezi esatu bakkaanya kukuba biraka, kyokka buli enkuba lw'etonnya eng'ebiraka bita era nga babikuluggusa kye ndowooza nti, kuba kwonoona ssente za muwi wa musolo.

N'obumenyi bw'amateeka bungi ng'ababbi bakozesa obudde bw'akalipaggano k'ebidduka naddala ekiro ne banyakula ebintu ku bantu ababeera mu bidduka n'abo abatambulira ku mab­bali g'oluguudo luno."

Musa Kibirige ssentebe wa Ssekati Zooni mu muluka gw'e Mpereerwe; kumpi buli lunaku wateekwa okubaawo akabenje ku luguudo luno. Waliwo n'abaana b'essomero lya Faiha bana ekimotoka kya kasasiro kyabatomera omu n'akutuukako amagulu.

Ekizibu abantu be batu­weereza okukola oluguudo, baleeta vvu n'ekkolaasi omukadde bye bayiwa mu binnya, enkuba bw'etonnya, enkeera tusangawo binnya.

Gye buvuddeko twayise Town Clerk w'e Kawempe, Moses Otai nga tulowooza nti engeri gy'akulira olukiiko lw'ekikugu ku kitebe kya Munisipaali ayinza okubako ky'atuyamba naye yakoma mu kuwuliriza bizibu byaffe n'okutusaasira.

Oluguudo luno lwa mu­wendo kuba kasasiro ava mu disitulikiti ya Kampala yenna ayita kuno naye simanyi lwaki bakola enguudo ezis­inga ffe ne batuboola.

 Oluguudo luno okuteekebwako kkoolaasi ono aliko, abatuuze era bamala kw'egugunga kuba kyali kituluma ebimotoka bya kasasiro okutufumuulizanga enfuufu Oluvannyuma kkampuni ya Arab Contractors yaweebwa kontulakiti ne lukolebwa kati emyaka 20 egi­yise.

 ev ohn iyingi Rev. John Kiyingi

 

ABAKRISTAAYO BAKALUBIRIZIBWA OKUJJA KU KKANISA

Rev. John Kiyingi ow'Obusumba bw'e Mpereerwe agamba nti, "Nze nNaakalaba obubenje nga buna ku ebinnya ebinene ebiri okumpi n'Ekkanisa ya St. Stephen's ng'abamu Baakristaayo mu Kkanisa yaffe.

Abantu bangi bantuukiridde nga bambuuza oba ffe abakulem­beze b'Ekkanisa tulina kye tuyinza okukolawo ku mbeera y'oluguudo nabo batwegatteko ne mbagamba nti obuvunaanyizibwa ssi bwaffe. Mu kiseera kino Abakristaayo abalina emmotoka bakalu­ubirizibwa okujja mu Kkanisa naddala obudde bw'enkuba nga batya emmotoka zaabwe okufuna ebizibu.

Ekisinga okutweraliikiriza ebin­nya ebisinga okuba eby'obulabe birinaanye essomero lya KCCA erya Mpereerwe Primary School n'Ekkanisa nga tutya nti obudde bwonna wandigwawo akabenje akanene ku bayizi n'abaana ba Sunday School", Omusumba Kiyingi bwe yagambye.

EDDOBOOZI LY'ABAKULEMBEZE B'EBITUNDU TTONO

Samuel Kibuuka ssentebe w'e Lusanja yagambye nti; waliwo ebitundu ebimu ku luguudo luno ng'okuyitawo lutalo lwennyini kuba ebidduka okuli emmotoka z'akasasiro, ez'obuyonjo pikipiki, obugaali n'abeebigere bonna bavuganya okuyitako awalungi. "Ffe abakulembeze b'ebitundu, obuyinza obwaffe bwatuuka ne bukoma, tuwandiikidde KCCA, twogedde n'abakulembeze ku mitendera egitali gimu naye tewali kikoleddwa. Ng'abakulembeze b'ebyalo tetulina kye tuyinza ku­kola kubanga eddoboozi eryaffe ttono nnyo nga kati Gavumenti y'ebitundu y'erina okulaba nti ebi­zibu byaffe bikolwako", Kibuuka bwe yayongeddeko.

 rancis ugemwa yamenyeka okugulu mu ssaako Francis Lugemwa yamenyeka okugulu mu ssaako.

 

ABAFUNIDDEKO OBUZIBU BAWEERAKO

Francis Lugemwa omutuuze mu Nammere agamba nti, "Mu 2017, nafuna akabenje okumpi n'essomero lya Good Times ng'obuzibu buva ku bufunda bwa kkubo. Nali mabbali nga hhenda kusala kkubo, eno pikipiki ya bod­aboda gye yansanga n'entomera. Akabenje kano kafiiramu omuntu omu nze okugulu kwange okwa ddyo kwakutukamu ebiri ne nnumizibwa n'omutwe era namala emyezi munaana nga ndi ku ndiri.

Mu kiseera kino nafuuka mulema kuba nnina okugulu kumu n'ekitundu nsaba Gavu­menti ekole oluguudo luno kuba lufunda ate lukozesebwa emmo­toka nnyingi.

Gorret Nabbaka 42 nzaalibwa mu Mpereerwe era mwe nkulidde. Akabenje ka August 15, 2017, mwe nali nfiiridde kaali ka pikipiki.

Eyantomera yansanga mabbali ga kkubo, olw'ebinnya n'obufunda bw'ekkubo. Mu kitundu kyaffe emmotoka eyinza okugwa ne yeevulungula nga tetomeddwa.

Nze kati okuhhamba okusala oluguudo luno, ontuma omulambo e Kenya ku bigere kuba ndutya.

Nabakka ayongerako nti abantu bangi batomerwa naddala obudde bw'ekiro olumu basanga mirambo gy'abantu nga bafudde olw'okubulwako ayamba. 

 kisinziiro kya imbowa kyasalwako Ekisinziiro kya Kimbowa kyasalwako.

 

Eyatomerwa mmotoka ya KCCA eya kasasiro alojja 

 ISMAEL Kimbowa 18, mutuuze w'e Kanyanya mu Kikuubo Zooni. Yali muyizi ku ssomero lya Faiha Secondary School e Mpereerwe, akabenje n'akafuna mu 2017 alojja bati; "Nnali nva Nammere emmotoka ya KCCA eya kasasiro n'entomera.

Ddereeva wa mmotoka eno yadduka naye oluvannyuma ne bamukwata. Yatuwa obujjanjabi bwa ssente 600,000/- era kuno kwe yakoma.

Emmotoka yansalako ekis­inziiro ku kigere ekya kkono. Bantwala mu ddwaaliro e Mu­lago gye namala omwezi gumu nga nzijanjabibwa, eno twavaayo oluvannyuma lw'abasawo okugamba bazadde bange nti ekigere kyali kya kusalwako bazadde bange kye bakiwa­kanya era ne bagaana okuteeka omukono ku bbaluwa abasawo gye baali babaleetedde.

S.4 nagitudde mwaka gu­wedde ku Faiha Secondary naye nagikoledde ku bugubi kubanga nalinga sisobola kukeera ate nga nnina kutambulira ku boda­boda naye ekirungi mukama yannyamba ne ngiyita.

Saasobodde kweyongerayo mu S.5 kubanga bazadde bange Sofia Kayaga ne Yunusu Muganga ssente ezisinga obungi baazi­malidde mu bujjanjabi,nga buli lunaku nnina okumira empeke bbiri nga ssente 10,000/-!

Singa nfuna omukisa nandya­gadde okusoma ebyemikono naye nga si bya maanyi kuba sikyalina maanyi mu magulu.

Omusango gw'akabenje ke nafuna guli ku poliisi e Wandegeya ku fariro nnamba: TAR :020/2017. Mu kiseera kino nnumizibwa kuba ennyama gye banteeka ku kisinziiro nnafu nnyo, ekigere kigira ekiseera ne kyabika. Nsaba ekitongole kya KCCA okunfunira ku buyambi kuba nkyali mu bweetavu. 

 

 MEEYA W'E KAWEMPE NE KCCA BAGUMIZA ABANTU 

 Dr. Emmanuel Sserun­jogi Meeya w'e Kawempe, yagambye nti kituufu olugu­udo luno luli mu mbeera mbi era naye ng'omukulembeze ky'ekimu ku bizibu bya Kawempe ebimusuza nga teyeebase.

Oluguudo we lukolebwa lulwawo okuddibwamu lwon­na wabula tuzze tuddaabiriza ebitundu ebyonoonese.

Mu nguudo ezikoleddwa mu mwaka gw'ebyensimbi 2018/2019, olw'e Nammere - Kiteezi lwandibaddemu naye engeri gye kiri nti lwetaaga okugaziyizibwa, wabaddewo bingi eby'okwekenneenya omuli; okuliyirira abatuuze ne kkampuni za ba bakontulakita abanaalukola.

"Nsaba abantu babeere ba­gumiikiriza kubanga oluguudo lugenda kukolebwa", bwe yagambye.

Peter Kaujju omwogezi w'ekitongole kya KCCA, agamba nti, bali mu nteekateka okuddamu ba­zimbe oluguudo luno lwonna okuva e Mpereerwe okutuuka e buwambo naye ekimu ku bibalemesezza ssente ezitali­iwo naye bwe ziteekebwa mu bajeti nalwo lwa kuddaabi­rizibwa.

Mu kiseera kino tukuba ebiraka byokka n'okuteereza awayonoonese kubanga ssente eziriwo kye zitu­sobozesa okukola. "Nsaba nsaba Bannayuganda babeere baguumu nti tubalowoozaako era tetubeerabidde", Kaujju bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...