TOP
  • Home
  • Mzee Zedde
  • MZEE ZEDDE: Yewuunya Omusumba bw'akala amaaso n'amansa entungo nga teyeesiseemuyadde akatono

MZEE ZEDDE: Yewuunya Omusumba bw'akala amaaso n'amansa entungo nga teyeesiseemuyadde akatono

Added 22nd July 2019

Kabona osuubirwa okuba mu kyambalo ekitaliiko bbala wadde olufunyiro anti ne Yesu bwe yali ava ku nsi yakikkaatiriza nti, alidda okukima Ekkanisa etaliiko bbala wadde olufunyiro. Naye weewuunye ggwe wafunye dda ebbala noolwekyo weekube mu kifuba olabe.

MZEE Zedde yeewuunya Omusumba Bugingo okugwa eddalu ekkankada n'atandika okumansa entungo! Nazzikuno nga wano ewaffe eby'omunju tebitottolwa naddala eby'omu kisenge. Ssebo wange mukulu Bugingo watandise ddi okuba n'ebbeetu okutottola eby'omunju?

Mukulu wagenze wala bwe watuuse n'okubala emirundi gye wanoga ebisoobooza. Si ggwe wagambye nti gyali 100 gyokka! Ye abange ka mbuuze, olwo egiragibwa mu mateeka gyo giba emeka? Ekizibu ky'olina mukulu Bugingo olina ekifo ekitali kya bulijjo kubanga oli kabona.

Mukyala wo kyandibadde kya bbeeyi nnyo naddala mu mulimu gw'obusumba gwemulimu. Naye kyannaku okulaba nga mutuuse mu mbeera y'okwanika obuziina n'oggulawo ekisenge buli omu ne yeerolera.

Ggwe teebereza ebigambo by'ozze oyogerera mukazi wo engeri gye bimutadde ebiwundu ku mutima kyokka ye azze akiraga lunye nti ye akyakwagala era ebibatabula bintu bitono nnyo ebyandibadde tebyawula bantu bafumbo abalina zadde nga bamaze mu bufumbo emyaka 29.

Nawulidde ennaku ku mukolo kwe baakutikkiriridde dipulooma y'obuweereza ne hhamba nti laba essanyu eryandibadde awo nga mukyala wo bwe muzze mutambula mu lugendo lwammwe olujjudde ebisirikko n'obuyiringito nga yali awo ku lusegerelwo n'abaana bammwe naye kya nnaku tewali n'omu ku baana yabaddewo kulaba ku ssanyu lya kitaabwe.

Embeera eyandituusizza abafumbo nga balina obuweereza bwa Katgonda okwawukanira mu kkooti eteekeddwa okubeera nga tegumiikirizika kuba bw'obeera omuweereza obeera ttaala eyakira abagoberezi bo naye weewuunye ettaala esuubirwa okuvaamu ekitangaala ate bw'evaamu ekizikiza!

Gye buvuddeko nga muli wamu ne mukyala wo mwebaza Katonda okumuwonya nti era okuwona ekirwadde ekyo kyali kyamagero okuva eri Katonda kati ekyewuunyisa, mumala mutya okufuna obuwanguzi nga buno mu kifo kye mwandibadde mujaguza ate ne mwawukana!

Kyabuvunaanyizibwa ku ludda lwo okukukuuma ekitiibwa kya famire yo erimu omukazi n'abaana era ogatteko ne famire ennene Katonda gye yakukwasa nga ky'ekisibo ky'olunda ku lulwe, abantu abali mu mikono gyo baleme okukosebwa mu birowoozo olw'ebintu ebigenda mu maaso wakatiiwo ne mukyalawo.

Ggwe kubisaamu akafaananyi eri omugobereziwo alina embeera gy'ayitamu eyeefanaanyirizaako n'eyiyo ayinza okujja gy'oli omuyambe agiyitemu nga ggwe omulyoyi we ow'omwoyo? Wano wabaawo okusoomoozebwa kubanga nawe gy'azze, akusanga mu mbeera yemu olwo ne wabulawo ayamba munne.

Abasumba b'Abalokole mu ggwanga wano we bafunidde okusoomoozebwa okunene nga tebasobola kugonjoola kizibu nga kino ekiba kigudde ku omu ku bo kubanga baalemwa okubeera mu kibiina ekimu ekibagatta ekiyinza okukangavvula Omusumba yenna avudde ku mulamwa.

Abasumba bangi bw'obeetegereza abaliko ebikyamu bye bakoze tebalina kibiina kyonna mwe bagwa n'olwekyo ne bw'asobya okumukangavvula kubeera kuzibu kubanga awoza kimu nti si ggwe anninako obuvunaanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...