TOP

Paasita apasudde omukazi omufumbo

Added 28th October 2019

ABAASOOSE mu kwanjula kw’omuyimbi w’ennyimba z’eddiini Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake baasoose kwekanga okwerinda okw’amaanyi okwabaddewo.

 Angel Kisaakye Paasita Zaake nga basanyufu oluvannyuma lw’okugattibwa.

Angel Kisaakye Paasita Zaake nga basanyufu oluvannyuma lw’okugattibwa.

Bya STEVEN MUSOKE NE PAUL WAISWA

ABAASOOSE mu kwanjula kw'omuyimbi w'ennyimba z'eddiini Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake baasoose kwekanga okwerinda okw'amaanyi okwabaddewo.

Ate bwe gwatuuse ku mbaga nga Paasita Zaake eyatandikawo ekkanisa ya World Processor' ey'e Namasuba ng'agattibwa ne kabiite we, abaagoberedde omukolo ne beewunya engeri gye baapanze ne gusooka gulabika ng'ogutaabeerewo kyokka ku ssaawa envannyuma abagenyi ne baweerezebwa obubaka ku masimu nga babalaga okugatta gye kunaabeera ne gye banaabasembereza ebyassava.

Okussaawo ebyokwerinda ebiri ggulugulu n'okubuzaabuza ku mukolo gye gulina okubeera kwabadde kwetangira eyali bba wa Angel Kisaakye okuleeta akacankalano osanga ekyandivuddeko emikolo gyombi okuyiika.

 ngeri ngel isaakye gyali muyimbi yayimbidde aasita aake ku mbaga nga basembeza abagenyi baabwe Engeri Angel Kisaakye gyali muyimbi, yayimbidde Paasita Zaake ku mbaga nga basembeza abagenyi baabwe.

 

Emikolo gy'okwanjula kwa Kisaakye gyaliwo wiiki eyaggwa ku Lwomukaaga e Kireka wakati mu kwerinda okw'amaanyi ng'abateesiteesi batya nti eyali bba wa Kisaakye ng'ono aweereza ku leediyo emu mu kibuga, Alex Kasozi eyakazibwako Kapyata ayinza okuteekawo embeera esaza mu ssanyu lwabwe.

Okwanjula kwali kwa bagenyi bayite bokka era abakubi b'ebifaananyi baali babale ate ate ng'abo bokka abaweereddwa olukusa. Bannamawulire baabagobera ku miryango.

Ku Lwomukaaga oluwedde Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake lwe baagattiddwa ku Global Gospel Healing Ministries. Baagattiddwa paasita Charles Kaloli amanyiddwa nga Komando wa Yesu. Oluvannyuma abagenyi baabasemberezza ku wooteeri ya Nanjing eri e Nakasero wakati mu kusanyusibwa abayimbi b'ennyimba z'eddiini nga n'omugole yennyini yayimbye era n'asala ne ddansi ne bba Paasita Zaake.

Abayimbi abalala abaayimbye kwabaddeko Gladys Mirembe, Catherine "Simon' Mirembe, Joy Tendo n'abalala.

Kigambibwa nti Angel ne Paasita Zaake bamaze emyaka etaano nga bali bonna era okugwa mu mukwano yali agenze kumusabira nga Angel tekyakwatagana ne Alex Kasozi.

 ngel isaakye ne aasita aake nga beeraga amapenzi ku kwanjula kwabwe Angel Kisaakye ne Paasita Zaake nga beeraga amapenzi ku kwanjula kwabwe.

 

Kigambibwa nti Zaake nga tannasisinkana Angel, yalina omukyala eyategeerekeseeko erya Beatrice gw'alinamu abaana bana.

Omukwano gwa Angel ne Alex bwe gwajjamu amakuuli, omukyala yadduka mu kkanisa ya Christian Life Center eya Paasita Jackson Ssenyonga mwe baali basabira ne yeegatta ku ya Paasita Zaake eya World Processors Church ng'eno gye baatandika okulabaganira.

Okwasooka okubeera okusabira obufumbo bwa Alex ne Angel ate kwalalambala, Paasita Zaake n'atengula Angel omutima.

Ng'oggyeeko obutakkaanya Alex bwe yafunanga ne Angel ku bintu bye yamusabanga okumukolera n'ebirala, kigambibwa nti n'embuto omukyala ze yafunanga nga zivaamu era zino zaawera essatu. 

 ngel isaakye ne lex asozi ku mukolo gwabwe Angel Kisaakye ne Alex Kasozi ku mukolo gwabwe.

 

Omusajja eyasooka ku Angel ayogedde ebyaliwo

ALEX Kasozi Kisaakye agamba nti yali mu bufumbo ne Angel okumala emyaka 6 naye emyaka 4 baagimala nga bali ku bugubi.

Agamba nti Angel yasooka kumusaba kumuzimbira nnyumba era n'akituukiriza.

Ennyumba olwagiyingira ate n'amusaba okukyala mu bakadde era baagenda wa Nnalongo Dinah Nangobi mu Disitulikiti y'e Kaliro.

‘Nnali ndowooza nti agenda kukkakkana, naye waayita akaseera katono n'ansaba okumugulira emmotoka ng'akooye okulinnya takisi.

Wabula nnali nkyanoonya ssente embeera n'eyongera okubiggya. Twagezaako okubuulirirwa bapaasita ab'enjawulo kyokka byonna ne bigwa butaka. Kye saamanya nti ate gye twaddukira we wali eyapasula mukyala wange,'' Kasozi Kisaakye agamba nti awulira obusungu bwe yategeezezza.

Kasozi agamba nti yagezaako n'okuddukira ewa maama wa Angel e Namasuba kyokka byonna ne bigwa butaka. Baayawukana tebalina mwana n'omu.                                                                                                                                                     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...