TOP
  • Home
  • Emboozi
  • WORLD POPULATION DAY: Abantu bangi naye abakola batono ddala

WORLD POPULATION DAY: Abantu bangi naye abakola batono ddala

Added 12th July 2020

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu abantu 45,741,007 (UN) ku ttaka eriweza sikweya mayiro 77, 147 kitegeeza ku buli sikweya mayiro kuliko abantu 583. Abantu abasinga mu Uganda bali mu myaka mito.

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

Bya Rosemary Nakaliri






Wadde okuba n'abantu abangi kirungi kubanga kigaziya akatale k'ebyamaguzi n'okuba n'abantu abasobola okukola emirimu egitali gimu naye era kulina n'obuzibu naddala bw'odda mu maka abantu bano abangi nga n'abasinga baana gye babeera.

Tunuulira Hussein Aligo, n namukadde ow'emyaka 85 alina abazzukulu 12  b'alabirira ku myaka gye gino egy'obukadde Mutuuze we Kyebando mu kisenyi zooni mu ggombolola y'e Kawempe.

Aligo yazaala abaana 10 kyokka kati bonna baafa ne bamulekera abazzukulu bano 12. Agamba bonna baafa mukenenya era ekisinga omunakuwaza nti abamu ku bazzukulu b'atoba nabo baali  ba baana bawala wabula bawala be olwamala okufa teyaddamu kulaba ku bakitaabe b'abaana bano, bonna baabamulekera.

Amaanyi gampedde era mpulira omugugu gunnyinze obuzito, abatuuze  ku kyalo babadde batuddukirira ku kyokulya  nga twafuuka buvunanyizibwa bwa buli muntu  naye olw'embeera enzibu eyatuuka ku buli muntu obuyambi tetukyabufuna.

Aligo agamba akayumba ke basulamu muzirakisa ye yabasenza wabula kagenda kubagwira  era mu biseera by'enkuba basula batunula. Buli omu  alina akadeeya kwe yeebaka.

Aligo agamba mu kiseera kino alina endwadde ezimubala embirizi okuli ssukaali, puleesa , omutima, n'amagulu nga takyasobola kutambula ekyongera okumweraliikiriza bazzukulu be bwe banaasigala ng'avudde ku nsi.

Ssentebe we kitundu Charles Ssekiranda asaba minsitule ekola ku nsonga z'abaana okuvaayo edduukirire Aligo ne bazzukulu be  nti abatuuze kye bakozeeko kimala kubanga nabo bali bubi.

Ebizibu bya Aligo bye bimu ku bizibu ebituukawo omuwendo gw'abantu bwe guyitirira. Ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bikaluba n'embeera y'ebyobulamu nayo n'ekkira ddala.

MINISITULE EYOGEDDE KUMUWENDO GW'ABANTU ABABEERA MU MAKA  

Angella Nabukalu

Minisita w'ebyensimbi n'okuteekerateekera abantu mu gavumenti Matia Kasaija alabudde Bannayuganda ku kuzaala ennyo abaana be batasobola kulabirira ky'agambye nti kino kikontana n'ekiragiro kya gavumenti ku ngeri omuntu gyalina okuzaalamu abaana

Yategeezezza nti gavumenti newankubadde teyassawo muwendo gwa baana omuntu b'alina okukomako okuzaala naye erambika bulungi nti omuntu ateekeddwa kuzaala baana b'asobola okulabirira.

 

Agamba nti Uganda erimu abantu bangi abasukka obusobozi gavumenti bw'erina okubalabirira agamba nti embeera eno asinze kugyetegereza nnyo oluvannyuma lwokubalukawo obulwadde bwa Ssennyiga omukambwe abantu ne bateekebwa mu kkalantiini okwewala okukwatibwa nga  gavumenti tali erowooza eneesobola  okutuusa obuyambi ku buli muntu nga okubawa emmere wabula kyagikaluubirira  n'esalawo okusaba bannansi buli asobola aweeyo ky'alina okusobola okwongera ku buyambi  naye ng'embeera eno yonna eva ku bungi bwa bantu ate nga Uganda ekula bukuzi mu byenfuna.

Agamba nti abantu bangi kyokka abakola batono. 

Yasabye abakazi okujjumbira enkola y'okugereka abaana n'okwepimira abaana be basobola okulabirira.

ABANTU KYE BOOGERA

Angela Nabukalu: 

Ekisinga okunakuwaza nti abantu abatalina busoboozi be bakyasinze okuzaala abangi kyokka ne babalema okulabirira era nga kino kye kisibye Uganda mu bwavu nti erina abantu bangi gavumenti b'etasobola kuteekerateekera nga bwekiri munsi endala.

Charles Mulindwa

Simon Bukenya:

Kyandibadde kirungi buli muntu n'akolera obukadde bwe okwewala okuyita mu mbeera enzibu ennyo nga Aligo gy'ayitamu era abavubuuka mukole nnyo nga mukyalina amaanyi.

Lazarius Nabwami:

Nsaba gavumenti eteekewo amateeka amakakali ku muwendo gw'abaana omuntu b'alina okuzaala nga bwe kiri e China era singa omuntu azaala b'atasobola kulabilira aweebwe ekibonerezo eggwanga lisobole okumukkakkanako mu byenfuna naye abantu bangi kyokka abakola batano y'ensonga lwaki obutemu n'obubbi biri waggulu nnyo.

Charles Mulindwa: 

Nneebaza ssentebe wamu n'abatuuze abasobodde okubererawo omukadde oyo ne bazzukulu be n'abakulembeze abalala mulabire kwekyo, omubaka atwala ekitundu ekyo naawe vaayo oyambe omukadde kuba be bantu ababatuusa mu palamenti kyokka bwe mumala okutuukayo ne mubeerabira 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...