Emboozi

Ebibuza amabeere by’olina okwewala

OKUYONSA kwa mugaso eri maama n’omwana. Omwezi guno gwonna gwa kaweefube w’okusaasaanya enjiri ku birungi ebiri mu kuyonsa abaana kuba kibayamba okukula obulungi. Kyokka oluusi abaana abamu basubwa omukisa guno nga bamaama tebalina mabeere.

Ebibuza amabeere by’olina okwewala
By: Ruth Nazziwa, Journalist @New Vision

Eyiyinza okubuza amabeere

Situleesi ebuza amabeere :

Dr. Margaret Nakakeeto, eyeebuuzibwako mu kujjanjaba abaana abawere agamba nti, situleesi ebuza amabeere kubanga obwongo bubeera mu birowoozo era y’ensonga lwaki maama yeetaaga amuyambako ku mirimu n’okumusitulirako omwana kimusobozese okuwummulamu.

Maama ng'ayonsa omwana we

Maama ng'ayonsa omwana we

 

Omwana nga tasobola kuyonka: Amabeere bwe gabeera mangi naye ng’omwana tagayonse, kitegeeza nti, omubiri tegujja kukola malala kuba gy’okoma okuyonsa n’amabeere gye gakoma okujja.

Ate buli lw’oyonsa omwana olina okukakasa nti, ebbere eryo omwana aliyonka ne liggwaamu n’omuzza ku lyokubiri.  Bw’akkutira ku bbeere limu ng’ate eryokubiri lijjudde waakiri eryokubiri likamule.

Oluusi gayinza okuba mangi ng’omwana tasobola kugamalamu oba ng’omwana tayonse naddala nga mulwadde.

Omwana bw'aba tasobola kuyonka mukamulire amabeere ogatereke bulungi

Omwana bw'aba tasobola kuyonka mukamulire amabeere ogatereke bulungi

 Maama okubirizibwa okugakamula n’agatereka mu firiigi oba n’omuweerako ku kagiiko. Kubanga bw’otogakama ebbeere lirwala ne lifuna ebbanyi oba okukamiza amabeere ne gaggweeremu ddala ng’omwana takyasobola kufuna ky’ayonka.

Amabeere agakamulibwa gateeke mu kikopo ekiyonjo ogatereke mu firiigi. Bw’otuuuka okugabirira omwana, gateeke mu mazzi agabuguma gabugume olyoke omugabirire. 

Obutamanya kuyonsa:

Bamaama naddala nga gwe mulundi gwe ogusooka okuyonsa, balina ebbeere eribanguyira okuyonsa nga lyokka ly’ateekako omwana ekireetera amabeere okubula mu Lyokubiri ne gabulira ddala mu mbeera eno, amabeere gombi gayonse kyenkanyi galeme kubula.

Tags:
Emboozi