Amabeere gabadde gakyalimu naye okuva bwe nafuna olubuto, amabeere ne gatandika okunuma, kye kisinze okumpaliriza okumuggyako.
Okumuggya ku bbeere tekimbeeredde kyangu. Nasooka ne mmusiigirako ekigagi ,bwe yayonka n’awulira nga bikaawa n’asooka n’alivaako, n’addako ne mmulekako okumala ebbaga lya wiiki ssatu.
Kati agya natuula natuula ku mubiri nakwata ebbere nalizanyisa naye ng’olaba nti alyagala kuba bw’olimuwa era taligaana .
Grace Rukanda omusawo omukugu mu byendiisa okuva mu kitongole kya Lutheran World Federation agamba nti tekyandibade kirungi kuggya mwana ku mabeere nga tannaweza myaka ebiri kubanga omwana abeera akyetaaga amabeere okusobola okukula obulungi.
Olina okuba ngomuwa emmere emala.
Omwana bw’aweza emyezi mukaaga okweyngerayo amabeere gaba tegamumala kubanga abeera akula. Ekitegeeza nti bwoba omugya ku mabeere,olina okumuwa emmere emala nalya nakuta bulungi okusinziira ku myaka gyalina kuba omwana tasobola kuva ku bbere nga tafuna mmere emala .
Okumuzanyiikiriza;
Omwana bw’aba akkuse bulungi, teekawo embeera emuyamba okubeerako ne by’akola okumwerabiza ebbeere ,oyinza okumuzannyiikiriza kimuyambako okutwaliriza ku budde nga tasabye bbere .
Kendeeza ku budde bw’omala naye ate bw’akaabira ebbere osobola okumuwa amata oba obuugi n’ebirala.