Emboozi

Ddagala ki lye nsobola okukozesa okulwanyisa ebiwuka mu kasooli?

SOLOMON Seruwo omukugu mu by’eddagala agamba nti; Waliwo ebintu eby’enjawulo ebirumbaga kasooli okuli ebiwuka, obusolo, emiddo, obuwuka obusirikitu okuli; Fango, bakitiriya ne vayiraasi.

Ddagala ki lye nsobola okukozesa okulwanyisa ebiwuka mu kasooli?
By: Herbert Musoke, Journalists @New Vision

Olw’ensonga eno, buli mbeera erumbye kasooli wo, ebeera n’eddagala erikozesebwa okugirwanyisa. Ebiwuka ebisinga okutawaanya kasooli kuliko; ebisaanyi, enzige, enkuyege, ndiwulira n’ebirala.

Kasooli ku musiri

Kasooli ku musiri

Erimu ku ddagala erikozesebwa kuliko; Dudu fenos, Striker oba Nimbecidine okusinziira ku kisuka.

Okulwanyisa omuddo sooka olwanyise omuddo ogw’amaanyi nga tonnaba kusimba ng’okozesa eddagala lya Weedmaster, okulwanyisa omuddo okumera ng’okozesa Butanil-S ate bwe gubeera gumeze kozesa Metrazin. Kakasa nti ennimiro ya kasooli egikuuma nga teriimu muddo naddala omwezi ogusooka.

Tags:
Emboozi
Kulima
bulimi