Leero mu musomo gwa Harvest Money Master Class, abakugu mu kulunda embizzi baakusomesa abalunzi n’abaagala okulunda n'enzimba y’ekiyumba ky’embizzi entuufu okuwa ensolo zo obulamu obulungi.
Joshua Kato omusunsuzi w’akatabo ka Harvest Money akafulumira mu lupapula lwa New Vision era akwataganya omusomo guno ku lwa Vision Group yategeezezza nti omulunzi n'oyo ayagala okutandika okulunda embizzi nga bizinensi tasaanidde kusubwa musomo guno.