“Okukendeeza ku bungi bw’omubisi ogusangibwa mu kkooko tekyonoona mutindo wabula ate kyanguya okumubikka n’okuggya amangu.
Wano kozesa ekyuma ekya sitiiru atatalagga (Stainless steel), eky’omutindo ogukozesebwa mu by’okulya okukamula omubisi nga tuggyamu ebitundu 20 ku 100 eby’obuzito bw’ensigo eziteekeddwamu. Okugeza ssinga ossaamu kkiro 60 oggyamu liita 12”, bw’annyonnyola.

Kkooko ng'akyali mubisi
Okufuna omubisi gw’omutindo olina kukozesa kkooko eyaakanogebwa nga mulamu bulungi ate n’okakasa nti omukubira mu kifo ekiyonjo olwo n’omubisi n’ofuna omuyonjo. Omubisi guno osobola okugukozesa okukola wayini wa kkooko, okugutunda eri abagunywa nga bwe guli, okufumba walagi n’ebirala.
Omubisi guno osobola okugutunda ne gunywebwa butereevu oba okugweyambisa okukola wayini ng’okuyita mu mitendera ekiyitibwamu okukola wayini.

Wayini gwe bakoze mu kkooko bw'afaanana